Jump to content

Michael Kintu

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Mikayiri Kintu ( Yazaalibwa mu  1900 – n'afa 1964) yali munnayuganda munnabyabufuzi eyaweereza nga ( Katikkiro ) w'obwakabaka obwa Buganda okuva mu 1955 okutuusa 1964

Nga tannafuuka Katikkiro ye kennyini, Kintu yali "aweerezzako emyaka egisukka mu makumi abiri ng'omwami mu bukulembeze omuli n'okukola nga Mukwenda (omuwabuzi omukulu) eri Katikkiro Paulo Kavuma, gweyali ow'okuddira mu bigere oluvanyuma. N'era yali omu ku basikawutu abakulu ab'ekibiina kya Uganda eky'abasikawutu nga Uganda tebannaba kufuna bwetwaze. Era yakubiriza akakiiko ka Kintu, akaatandikibwawo mu Mwezi ogwekkuminebiri 1954 okuwabula olukiiko lwa Buganda ku ky’okukkiriza ebiteeso bya Namirembe. Ku nkomerero, akakiiko ka Kintu kaawagira ebiteeso, n’ennongoosereza eziwerako ezaateesebwako: okwongezaayo ennongoosereza mu gavumenti z’ebitundu nenkyukakyuka mu busika, n’okusaba okulonda obutereevu eri olukiiko. Alipoota y'Akakiiko ka Kintu yayisibwa olukiiko nga 9 Omwezi ogwokutaano 1955 n'obululu 77 ku 8 nomuntu omu 1 ataakiika.

Okulondebwa kwa Kintu nga Katikkiro mu Mwezi ogwomunaana 1955, okwaddirira okudda kwa kabaka mu buwanganguse okuva mu buwanganguse, kwavuganyizibwako nnyo, nga Kintu awangula Matayo Mugwanya n'obululu 42-41. Mu gavumenti, Kintu yavumirira nnyo gavumenti y'abamatwale enkuumi era n'awagira ekya Uganda okwefuga. Okwawukana ku Kavuma, Kintu mu kusooka yali awagira eky'eggwanga lya Uganda erimu .Wabula okwolesebwa kwe okw'eggwanga eriri ku federo (Ne Buganda nga yeetongodde) kwaleeta Buganda mu ntalo ne gavumenti y'Abangereza ekyayanguya okutondawo eggwanga eriri ku nfuga ya yunitale (Unitary state).

Kino kyavaamu Buganda okuzira okulonda kwa 1958 okw'olukiiko lw'eggwanga olwa (LEGICO ) mu kimanyiddwa ng'okumenya endagaano 1955 era ku nkomerero mu kiwandiiko nga 24 Omwezi ogwomwenda 1960 ekyasalawo nti Buganda egende yokka okusinga okweyongerayo mu Uganda eyawamu abangereza gye baayagala. Obutakkiriziganya buno bwatondawo obutabanguko bw'ebyobufuzi mu Buganda obwavaamu Buganda okuzira okulonda kwabona okwategekebwa nga 23 Omwezi ogwokusatu 1961. Wabula obuwanguzi bw'ekibiina ky'abakatuliki ekya Democratic party bwawaliriza Kintu eyali abiwumudde okuddamu mu lutalo lw'okwefuga era Buganda mu bujjuvu yeenyigira mu ttabamiruka wa ssemateeka eyategekebwa oluvannyuma mu 1961.

Ttabamiruka yakkiriza nti obukiise bwa Buganda ku lukiiko lwa LEGICO bujja kufunibwa simubutereevu okuyita mu lukiiko.

Kintu mubujjuvu yawagira ekibiina kya Kabaka Yekka, ekibiina ekyakolebwa okukuuma ennono mu Buganda era naafuuka ssentebe waakyo mu 1962


Okulekulira kwa Kintu nga Katikkiro mu Mwezi ogwekkuminoogumu 1964 kyaddirira okukuba akalulu k'okumuggyamu obwesige mu lukiiko lwa Buganda, ng'abakiise bavumirira engeri obukulembeze bwe gyebwakwatamu okulonda okwa 1964 okwasalawo ku masaza agaabula . Yasikizibwa Jeoash Mayanja Nkangi eyawangula Sepiriya Kisawuzi Masembe-Kabali K-Y gweyawagira

Kintu yawasa omu ku bawala ba Sir Apollo Kaggwa .Yali mupolotesitante "ow'obuyigirize obutono"

  1. "Buganda Gets Cabinet". The New York Times. 4 September 1955.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]