Michael Ondoga
Major General Michael Ondoga (yazaalibwa 1960) omu kubannamagye abakulu mu ggye lya Uganda People's Defence Force (UPDF). Mu kiseera kino akola nga avunaanyizibwa ku byekijaasi ku kitebe kya Uganda mu Bwakabaka bwa Saudi Arabia. Yalondebwa ku kifo ekyo mu July 2019. [1]
Obuvo bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Michael Ondoga yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Moyo [2] nga mu mwaka gwa 1960. [1]
Emirimu mu magye
[kyusa | kolera mu edit source]Yakola ng’omuduumizi w’ekibinja kya UPDF e Somalia mu mugye g'omukago gwa African Union Mission to Somalia ( AMISOM ). Ekifo kino yakiweerezaamu okuva mu 2012 okutuuka mu 2013. Ondoga yayitibwa okudda mu Kampala mu Gwekkumi 2013, oluvannyuma lwoluvuvuuma nti obuli bwenguzi bwali busensedde amagye ga Uganda mu Somalia era nga googerwako mu okubba emmere, okutunda emmundu mu ngeri emenya amateeka, n'Obubbi bw'amafuta. [3]
Oluvannyuma lw’okwegyeerezebwa emisango gyonna mu Gwokutaano 2015, yamala emyezi emirala 10 nga tali mu buweereza. Mu Gwokusatu 2016, yasindikibwa mu kitongole kya National Enterprise Corporation ng’omumyuka wa ssenkulu avunaanyizibwa ku ntekateeka ya Kyoga Project evunaanyizibwa ku kukola eby'okulwanyisa ebibwatuka e Nakasongola . Ondoga yali amyuuka Major General James Mugira . [1]
Kkooti y’amagye
[kyusa | kolera mu edit source]Mu Gwekkuminoogumu 2013, Ondoga yakwatibwa ne ba ofiisa abalala babiri bwebaakolanga emirimu mu Somalia. Yavunaanibwa emisango egisukka mu 30 omuli n'okulemererwa okukola emirimu gye. Yasimbibwa mu kooti yamagye mu biro ebyo eyali ekubirizibwa Brigadier Moses Ddiba Ssentongo . [4] Bwe yali mu kkomera, oluvannyuma lw’okumibwa omukisa okweyimirirwa emirundi egiwera, yalongoosebwa mu ddwaaliro ly’amagye e Bombo mu Gwokutaano 2014. [5] Mu Gwokutaano 2015, yaggyibwako emisango gyonna kkooti y’amagye, eyakubirizibwa Major General Levi Karuhanga, era n’ayimbulwa okuva mu kaduukulu. [6] [7]
Obulamu bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Major General Michael Odonga mufumbo era muzadde. [8]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 Butagira, Tabu (22 March 2016). "Brigadiers Ondoga, Ssentongo named NEC bosses". Retrieved 22 March 2016.
- ↑ Administrator (12 May 2014). "Brigadier Ondoga's Relatives Unhappy with His Trial". Retrieved 22 March 2016.
- ↑ Obore, Chris (20 October 2013). "Our bosses sold guns, soldiers tell Museveni". Archived from the original on 12 March 2016. Retrieved 22 March 2016.
- ↑ Kasozi, Ephraim (1 November 2013). "Brigadier Ondoga, two other officers remanded over Somalia food theft".
- ↑ Kwesiga, Pascal (5 May 2014). "Brig. Ondoga undergoes operation". Retrieved 22 March 2016.
- ↑ Juliet Kigongo, Eriasa Sserunjogi Mukiibi (9 May 2015). "Brigadier Ondoga cleared on all Somalia cases". Retrieved 22 March 2016.
- ↑ Vision Reporter (8 May 2015). "Brigadier Michael Ondoga finally freed by General Court Martial". Retrieved 22 March 2016.
- ↑ Ssenyonga, Andrew (29 October 2014). "Brigadier Ondoga's wife upset by continued trial delays". Retrieved 22 March 2016.