Micheal Etyang
Michael Etiang muvuzi wa nnyonyi za kampuni ya Uganda ey'ennyonyi era omukungu w'ebyobusuubuzi, eyaweereza ng’omuvuzi w'ennyonyi omukulu ow'ekitongole kya Uganda ekyennyonyi , ekitongole ky'eggwanga eky'ennyonyi ekyazibwa obuggya okuva Omwezi ogwokuna 019. [1] okutuuka mu November 2022. [2] Mu kiseera kye kimu aweereza nga avunaanyizibwa kukubuusa ennyonyi ku kitongole ky'eggwanga eky'ennyonyi, ku nnyonyi zombi eya CRJ900-ER [3] ne A330-841. [4]
Obuvo bwe n'okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Etiang yazaalibwa mu disitulikiti y'e Tororo . Kitaawe omugenzi, Paul Orono Etiang (1938—2020), yali mukozi wa gavumenti, omukungu, era omukulembeze w’ekitundu. [5] Etiang yasomera ku Bentham Grammar School, mu Bungereza. [6] Yafuna ddiguli esooka mu mateeka n'ebyobufuzi okuva mu bbanguliro ly'emisomo egissa essira ku nnimi, obuwangwa, amadiini n'abantu b'ebitundu ( Orient studies ) n'emisomo gy'ekifirika mu yunivasite y'e London . [7]
Mu 1993, Etiang yaweebwa ekifo ku ttendekero eriyigiriza okuvuga ennyonyi erya East African Civil Aviation Academy, mu Soroti mu Uganda, gye yafunira ebbaluwa / layisinsi ye emukkiriza okusaabaza abantu mu nnyonyi. Oluvannyuma, yafuna ebbaluwa oba layisinsi ey'ekitongole ekitwala entambula z'ennyonyi mu nsi yonna .Okumala emyaka, abuusiza ennyonyi eziwerako ez'awano mu gwanga n'ez'ebitongole by'ennyonyi wabweru w'eggwanga omuli Eagle Air Uganda , ZanAir, DAS Air Cargo, Virgin Nigeria, JetLink Express, Rwandair, Fly540 (today Fastjet) ne Garuda Indonesia [3] Omwezi ogwokuna 2018 wegwatuukira, Etiang yalina obumanyirivu obw'emyaka egisoba mu kkumi n'omunaana mu kubuusa ennyonyi (over 18 years expernce), n'essaawa ezisoba mu mutwalo ogumu mwenkumi bbiri (12,000 hours) ez’okubuusa ku likodi ye. [7]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Mu kiseera we weyaweebwa omulimu guno, yali aweereza nga atendeka (ku nnyonyi ya CRJ Aircraft) ku nnyonyi ya Rwandair, gy’abadde akolera okuva mu 2012. N'era aweerezaako nga omubuusi w'ennyonyo (Captain) atendeka ku nnyonyi za Fly450 ne Jetlink, nga zombi ziri ku muliraano e Kenya . Yakola omulimu gwe gumu ku kkampuni y'ennyonyi eya Garuda Indonesia ekitongole ky'ennyonyi eky'eggwanga lya Indonesia . [7] 2019 wegwatuukira yali aweezeza emyaka egisoba mu makumu abiri mu mirimu gye, egy'okuvuga ennyonyi. [8]
Mu kifo kye ekipya ng'omuvuzi w'ennyonyi omukulu ku kkampuni y'eggwanga ey'ennyonyi, avunaanyizibwa ku kukakasa nti ng’abavuzi b’ennyonyi bonna batendekeddwa era nga batuukana n'omulembe mu byebasobola okukola nobukodyo oba obukugu. [6] Era akulira abakozi b’ennyonyi abookuttaka n'abatambulira ku nnyonyi ebuuse, ategeka embuuka z'ennyonyi n’okukwasaganya okuddaabiriza ennyonyi. [9] Aweereza nga mmemba ku ttiimu y’abakulu abaddukanya kampuni y'enyoni[10]
Yali kitundu ku abavuzi b’ennyonyi bannayuganda abana, abaavuga ennyonyi ebbiri eza CRJ-900 ezaasooka okugulibwa kkampuni y'egwanaga lya Uganda ey'ennyonyi okuva e Mirabel, Quebec, Canada, okutuuka e Entebbe, Uganda, mu Mwezi ogwokuna 2019. [6]
Mu 2020, yagenda mu kwongera okutendekebwa n’afuna ebisaanyizo ng'omuvuzi abuusa ennyonyi eya kiraasi Airbus 330. Nga 22 Omwezi ogw'ekkumineebiri 2020, Etiang yakulemberamu ekibinja ky'abavuzi b'ennyonyi abaabuusa ennyonyi ya A330-800 eyasooka okwegatta ku nnyonyi za kkampuni ya ey'ennyonyi Uganda Airlines. Ennyonyi ekika kya 5X-NIL eaytuumibwa Mount Elgon, yabuuka okuva mu Toulese, Bufalansa okutuuka Entebbe, Uganda, nga olubuuka UR404. [11] [12] [13]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- Job Bwire (8 April 2019). "First Uganda Airlines Bombardier jetliner arrive two weeks from now". Daily Monitor. Kampala, Uganda. Retrieved 17 October 2023.
- The Independent Uganda (22 November 2023). "URA boss leaving for Uganda Airlines". The Independent (Uganda). Kampala, Uganda. Retrieved 17 October 2023.
- The Independent Uganda (22 December 2020). "New Uganda Airlines plane takes off from France". The Independent (Uganda). Kampala, Uganda. Retrieved 17 October 2023.
- The Independent Uganda (22 December 2020). "New Uganda Airlines plane takes off from France". The Independent (Uganda). Kampala, Uganda. Retrieved 17 October 2023.
- Joseph Omollo (1 January 2021). "Former Uganda's Premier Paul Orono succumbs to Covid-19". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 1 January 2021.
- Tracy Gwambe and Apollo Mubiru (29 April 2019). "Meet The Uganda Airlines Pilots". New Vision. Kampala, Uganda. Retrieved 17 October 2023.
- Max Patrick Ocaido (4 April 2019). "Meet Captain Michael Etiang: The New Chief Pilot of Uganda Airlines". The Kampala Post. Archived from the original on 8 April 2019. Retrieved 8 April 2019.
- Ivan Mubiru (4 April 2019). "Uganda Airlines names Michael Etiang as Chief Pilot". Kampala: Watch Dog Uganda. Retrieved 27 April 2020.
- Kyatusiimire, Sharon (4 April 2019). "Michael Etyang Named Uganda Airlines Chief Pilot". Kampala: ChimpReports Uganda. Retrieved 8 April 2019.
- Job Bwire (8 April 2019). "First Uganda Airlines Bombardier jetliner arrive two weeks from now". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 9 April 2019.
- The Independent (22 December 2020). "A330-800neo first commercial flight scheduled for end of January 2021". The Independent (Uganda). Kampala. Retrieved 24 December 2020.
- Tony Ofungi (24 December 2020). "First Uganda Airlines Airbus 330-800 touches down in Entebbe". ETurboNews.com. Retrieved 24 December 2020.
- Eddie Ssejjoba (26 December 2020). "New Uganda Airlines Jet Environmentally Friendly - Airbus Official". New Vision. Kampala. Retrieved 28 December 2020.
- ↑ Job Bwire (8 April 2019). "First Uganda Airlines Bombardier jetliner arrive two weeks from now". Daily Monitor. Retrieved 17 October 2023.
- ↑ The Independent Uganda (22 November 2023). "URA boss leaving for Uganda Airlines". The Independent (Uganda). Retrieved 17 October 2023.
- 1 2 Solomon Oleny (2020). "Personality of the Month: Capt. Etiang, Chief Pilot Of Uganda Airlines". Ngaali Inflight Magazine. Retrieved 17 October 2023.
- ↑ The Independent Uganda (22 December 2020). "New Uganda Airlines plane takes off from France". The Independent (Uganda). Retrieved 17 October 2023.
- ↑ Joseph Omollo (1 January 2021). "Former Uganda's Premier Paul Orono succumbs to Covid-19". Retrieved 1 January 2021.
- 1 2 3 Tracy Gwambe and Apollo Mubiru (29 April 2019). "Meet The Uganda Airlines Pilots". New Vision. Retrieved 17 October 2023.
- 1 2 3 Max Patrick Ocaido (4 April 2019). "Meet Captain Michael Etiang: The New Chief Pilot of Uganda Airlines". The Kampala Post. Archived from the original on 8 April 2019. Retrieved 8 April 2019.
- ↑ Ivan Mubiru (4 April 2019). "Uganda Airlines names Michael Etiang as Chief Pilot". Watch Dog Uganda. Retrieved 27 April 2020.
- ↑ Kyatusiimire, Sharon (4 April 2019). "Michael Etyang Named Uganda Airlines Chief Pilot". ChimpReports Uganda. Retrieved 8 April 2019.
- ↑ Job Bwire (8 April 2019). "First Uganda Airlines Bombardier jetliner arrive two weeks from now". Retrieved 9 April 2019.
- ↑ The Independent (22 December 2020). "A330-800neo first commercial flight scheduled for end of January 2021". Retrieved 24 December 2020.
- ↑ Tony Ofungi (24 December 2020). "First Uganda Airlines Airbus 330-800 touches down in Entebbe". ETurboNews.com. Retrieved 24 December 2020.
- ↑ Eddie Ssejjoba (26 December 2020). "New Uganda Airlines Jet Environmentally Friendly - Airbus Official". Retrieved 28 December 2020.