Jump to content

Micheal Kasaija

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Michael Kasajja Munnayuganda muzannyi wa firimu, mwolesi wa ngoye, muyiiya w'amazina era muzinyi. [1] Yasooka nga omuzannyi omukulu mu firimu ya Bala Bala Sese eya 2015 ng'ali wamu ne eyali muganzi Natasha Sinayobye . [2]

Obuto bwe n'emisomo gye

[kyusa | kolera mu edit source]

Kasajja yakulira mu Kampala Uganda era yasomera mu Busoga College Mwiri ne mu Caltec Academy. Ku Ssettendekero wa Makerere, yakola diguli mu by’obusuubuzi wamu n'okuyiiya amazina agakozesebwa mu mpaka z’eby'emizannyo ne mu ndaga ez'enjawulo.

Steve Jean y'apangisa nga Kasajja ng’ava ku ssomero okubeera omuzinnyi we asinga, endabika ez'amusobozesa okutuuka ku Pamela Basasirwaki gwe yaganza. Ng’omu ku mmemba b'ekibiina ky'abazinnyi ekya The Obsessions Dance Group, Pamela yamwanjula mu kibiina kino era n’ayingizibwa mbagirawo. Awo ne wajjawo omuzinyi omulala n’ekibiina kino, Natasha Sinayobye eyagyawo Pamela nga takyali mu kifaananyi kyokka ababiri bano ne bava mu kibiina kino mu 2005 ne batandikawo ekibiina kyabwe eky’amazina ekya KOMBAT Entertainment Ltd. [3] Wansi wa Kombat, Yatuuka omukisa okulabikirako ku omukulu ogw’amaanyi gw’okuggulawo olukung’aana lwa CHOGM 52 heads of states conference mu Uganda 2007. Michael gye buvuddeko yewangulira omulimu gw'obwa maneja wa Ekibiina kya katemba ekya Ebonies mu mizannyo Trials and Tribulations of Love, ekitundu eky’omwenda mu muzannyo gw’ekibiina kino ogwa Romantic Night. [4] Era yali omu ku balamuzi ba pulogulaamu ya NTV's Talent Xp wamu n'abayimbi, Isiah Katumwa, Jackie Chandiru ne Bebe Cool . [5]

Ebimukwatako eby'omunda

[kyusa | kolera mu edit source]

Kasajja alina omutabani ayitibwa Sean Mario.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Michael Kasaija at IMDb