Jump to content

Micheal Wawuyo Jr.

Bisangiddwa ku Wikipedia

Michael Wawuyo Jr. (yazaalibwa 17 Ogwekkumineebiri 1987) Munnayuganda munnakatemba era omuzannyi wa firimu. Ono yasooka kumanyika mu muzannyo gwa ttivvi ogwa The Hostel (season 1) ku NTV mweyazannyira nga Brother John . [1] Ebiyiiye ebirala byakutteko mulimu firimu okuli Beneath The Lies - The Series , Yat Madit, [2] [3] [4] Kyenvu, Nsiwe, Girl in the yellow jumper kwossa ne sixteen rounds .

Mutabani wa munnakatemba era omuteesiteesi wa firimu Wawuyo Michael . Wawuyo Jr yasomera mu Lohana Academy ne Makerere College School . Yazannya nga Yesu mu Lohana Academy ate bwe yali mu Makerere College School yaddamu nazannya nga Njoroge, okuva mu muzannyo gwa Ngugi wa Thiong’o ne Ngugi wa Mirii oguyitibwa I Will Marry When I Want . Yasoma emisomo gya information science ku Uganda Christian University . Wawuyo Jr. yazannyako wamu ne kitaawe mu firimu nga The Right to Life, Stone Cold ne The Bullion . [5]

Omwaka Erinnya lya Firimu Yazannya nga; Ebirala
2023. 2023 African Folktales, Reimagined Omar Ekitundu 1
2016 Yat Madit Opio
2014 Beneath The Lies - The Series Shaban Ebitundu 4
2011 The Hoste Brother John
Omwaka Erinnya Ekitundu kyeyazannya Ettuluba
2014 Bullion Obumenyi bw’amateeka / Katemba

Ng’ali wamu ne Carol Agudo

2015 A Dog Story Bongwat Firimu nyimpi
2016 Rain Kalule muzannyo
Funeral Scene Gabby muzannyo omumpi
2017 Love Faces Burglar Omuzannyo / Omukwano / Thriller
2018 27 Guns Joram Mugume Kikomando / Lugero / Ebikwata ku bulamu bw'omuntu
Kyenvu Him Firimu ennyimpi
The Mercy of the Jungle refugee Obumenyi bw’amateeka / Katemba / Olutalo
2019 Bed of Thornes Robert Akazannyo
N.s.i.w.e Jordan
2020 The Girl in the Yellow Jumper Jim Akena
Kafa Coh Mule
2021 The Blind Date Sam/Jeff Firimu ennyimpi eya Loukman Ali
16 rounds Cpt. Damba
2023 Ubuntu Uppercut The Dad Kikomando

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. http://www.talenteastafrica.com/2015/07/michael-wawuyo-jr.html
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2024-02-25. Retrieved 2025-09-03.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. http://uganda.spla.pro/en/file.person.michael-wawuyo.39386.html
  4. http://www.doenculture.com/5066/en/a-workshop-so-beneficial-i-want-to-create-change
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2014-10-05. Retrieved 2025-09-03.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)