Mike Mukula
| ekikula | musajja |
|---|---|
| ensi y’obutuuze | Yuganda |
| erinnya eriweereddwa | Mike |
| olunaku lw’amazaalibwa | 27 Gwamunaana(Muwakanya) 1956 |
| gy'azaalwa | Yuganda |
| ennimi z'amanyi | Lungereza |
| omulimu | munnabyabufuzi, aircraft pilot |
| ekifo ky'alimu | Omubaka wa Palamenti ya Uganda |
| Gyeyasomera | Nkumba University |
| gyabeera | Bugoloobi |
| ebbanga ly'akoledde (okutandika) | 1986 |
| mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuzi | Ekibiina kya National Resistance Movement |
George Michael Mukula amanyiddwa ennyo nga Mike Mukula musuubuzi Munnayuganda, munnabyabufuzi era muvuzi wa nnyonyi omukugu. Yakiikirira Munisipaali y'e Soroti okuva mu 1996 okutuuka mu 2016 mu paalamenti ya Uganda . Alina ekibiina ekigatta amakampuni 28 wansi w’ekibiina kya Mukula Group of Companies.[1] Mmemba w’ekibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement era mu kiseera kino ali mu kifo ky’omumyuka wa Ssentebe (Ekitundu ky’Ebuvanjuba) mu kibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement mu Uganda.[2]
Obuto bwe n’okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Mukula yazaalibwa Soroti, Teso sub-region mu kitundu ky’Ebuvanjuba bwa Uganda nga 27 Ogwoomunaana 1956. Yasomera mu masomero g’omu kitundu nga tannayingizibwa mu Kenya School of Flying ku kisaawe ky’ennyonyi Wilson e Nairobi, Kenya. Yamaliriza emisomo gye egy'okuvuga ennyonyi mu Amerika era n'agenda mu matendekero g'amagye ga IDF okuva mu 2000 okutuuka mu 2001 n'atikkirwa mu Kulwanyisa obutujju. Yasomerako ne ku Harvard Kennedy School mu kibiina kya 2004-2005, gye yakugukira mu nnongoosereza mu by'obufuzi n’ebyenfuna mu gavumenti.[3] Mu 2005, yaweebwa diguli eyookubiri mu by'obusuubuzi okuva mu Yunivasite y'e Nkumba. Mu 2009, yafuna diguli eyookusatu ey’ekitiibwa okuva mu Latin University of Theology, esangibwa mu Torrance, California, Amerika.[1][4]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Mukula yakyuka okuva mu by’ennyonyi n’adda mu byobufuzi mu makkati g’emyaka gya 1990. Yavuganya bulungi ku kifo kya paalamenti ekya Munisipaali ya Soroti mu 1996 era n’addamu okulondebwa mu 2001, 2006, ne 201.[5] Okuva mu 2001 okutuuka mu 2006, yaweereza nga minisita w’eggwanga ow’ebyobulamu.[6] Yalangirira nti yawummula ebyobufuzi eby’okulonda mu May 2015, okutandika ne March 2016, kyokka akyagenda mu maaso n’okuweereza ng’omumyuka wa Ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement ow'ekitundu ky’obuvanjuba.[5][7]
Obulamu bwe ng'omuntu
[kyusa | kolera mu edit source]Mufumbo era taata w’abaana bana. Ono wa kibiina kya byabufuzi ekya National Resistance Movement.[5]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 POU (2011). "Profile of Mukula George Michael, Member of Parliament for Soroti Municipality, Soroti District". Parliament of Uganda (POU). Archived from the original on 24 September 2015. Retrieved 19 February 2015.
- ↑ "Our Leaders | National Resistance Movement". www.nrm.ug. Retrieved 2025-07-17.
- ↑ "Captain Mukula quits politics | Monitor". Archived from the original on 2024-05-24. Retrieved 2025-07-17.
- ↑ Newvision Archive (15 January 2010). "Doctor Captain Mike Mukula". New Vision. Kampala. Archived from the original on 19 February 2015. Retrieved 19 February 2015.
- 1 2 3 Godfrey Ojore, and Samuel Ouga (10 May 2015). "Captain Mike Mukula To Quit Politics". New Vision. Kampala. Retrieved 7 August 2015.
- ↑ Henry Mukasa, and Felix Osike (23 May 2006). "President Museveni Nominates 69 To Cabinet". New Vision. Kampala. Archived from the original on 6 February 2015. Retrieved 19 February 2015.
- ↑ Emwamu, Simon Peter (11 May 2015). "Captain Mukula Quits Politics". Daily Monitor Mobile. Kampala. Archived from the original on 18 May 2015. Retrieved 11 May 2015.