Milka Irene
Milka Irene Soobya munnakatemba era munnabyabufuzi omunnayuganda asinga kumanyibwa olw'okuzannya nga Monica mu muzannyo ku NTV Uganda ogwa Deception ne Fifi Aripa mu Power of Legacy Yavuganya ku kifo ky’omubaka wa palamenti omukyala ow’e Jinja oluvannyuma lwa Jinja okufuulibwa ekibuga. [1] [2]
Omulimu
[kyusa | kolera mu edit source]Okuzannya katemba
[kyusa | kolera mu edit source]Omulimu gwa Soobya ogwasooka ogw’ekikugu kwali kuzannya mu kifo ekitonotono mu muzannyo gwa bannakenya ogw'obutundutundu oguyitibwa Makutano Junction ogwayanjulwa Philip Luswata omu ku bawandiisi b'omuzannyo guno. Wabula yafuna obuganzi bwe yasunsulwa naweebwa ekifo ekikulu nga Monica mu muzannyo ku NTV Uganda ogwa Deception okuva mu mwaka gwa 2013 okutuuka mu mwaka gwa 2016. [3] [4] Oluvannyuma yakola ku firimu eyalungamizibwa Akpor Otebele eyitibwa The Rungu Girls, Honeymoon is Exaggerated, Christmas in Kampala ne Taxi 24 . Mu mwaka gwa 2018, yasunsulwa naweebwa ekifo mu muzannyo gwa Power of Legacy nga Fifi Aripa, a freeloader ne Rachael's (Tania Shakira Kankindi) nosy best friend. [5]
Ebyobufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Mu mwaka gwa 2020, Soobya yeegatta ku byobufuzi bwe yavuganya ku kifo ky’omubaka wa palamenti omukyala mu kibuga Jinja wansi wa bendera ya National Resistance Movement oluvannyuma lwa Jinja okulangirirwa ng’ekibuga. [6]
Olukalala lwa firimu zakozeeko
[kyusa | kolera mu edit source]| Omwaka | Firimu/emizannyo gy'obutundutundu ku ttivvi | Ebifo byeyazannya | Ebiwandiiko |
|---|---|---|---|
| 2013 -2016 | Deception | Monica | Omulimu gw’okukulembera |
| 2016 | Christmas in Kampala | Firimu ya Ssekukkulu | |
| The Rungu Girls | |||
| Honeymoon is so Exaggerated | Obumpi | ||
| Taxie 24 ug | Milka | Omuzannyo ogw'obutundu ku ttivvi | |
| 2016 - okutuusa kati | Family Affairs | Omuweereza ow'okubiri ku pulogulaamu ya Herself | Pulogulaamu ku Spark TV |
| 2018 | Power of Legacy | Fifi
Arripa |
Omuzannyo gw'obutundu ku ttivvi, olukalala lw'abazannyi olukululu |
| 2019 | November Tear | Maama Anenda | Akazannyo |
Obulamu bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Soobya yazaalibwa Jinja mu maka ga Lt. Colonel Samuel Kafude Ngobi ne Capt. Namutebi Agnes Mbuga bombi bajaasi ba UPDF.Yasomera ku Mbogo High School ku ddaala lya O, Mariam High School ku ddaala lya A ne Kyambogo University gye yatikkirwa diguli mu by’okugula n’okutambuza ebintu. [7]
Ebiwandiiko ebikozesebwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Milka on being Monica in 'Deception'". The Independent. Retrieved 26 August 2020.
- ↑ Baike, Prisca. "Deception's Irene Milka tithes faithfully". The Observer. Archived from the original on 2 November 2020. Retrieved 26 August 2020.
- ↑ Batte, Edgar. "Irene Milka: Deception's leading lady". Sqoop. Retrieved 26 August 2020.
- ↑ Male, Marvin. "God's word will bring a turn-around in your life, says actress Irene Milka". Uganda Christian News. Archived from the original on 31 October 2020. Retrieved 26 August 2020.
- ↑ Gachie. "Irene Milka Biography, Music, Family and Awards". Africa Mania. Retrieved 26 August 2020.
- ↑ Kazungu, Daniel. "RACE TO 2021 POLLS: Who will be Jinja city's first Women representative?". PML Daily. Retrieved 26 August 2020.
- ↑ "Deception TV Series Star Milka Irene (Monica) Graduates From Campus". Big Eye. Retrieved 26 August 2020.
Ebiyungo eby’ebweru
[kyusa | kolera mu edit source]- Milka Irene ku IMDb