Jump to content

Milly Babalanda

Bisangiddwa ku Wikipedia

 


Owek. Babirye Milly Babalanda yazaalibwa nga 5 Ogwekumineebiri mu 1970 [1] [2] munnabyabufuzi Omunnayuganda. Yafuuka Minisita w’Obwapulezidenti akubiriza enkiiko za pulezidenti mu kabineeti ya Uganda wansi wa Pulezidenti Yoweri Museveni mu Gwomukaaka 2021.[3] Kigambibwa y’omu ku baminisita ba pulezidenti abasinga okubeera n'obuyinza.[4] Mu Gwomwenda 2023, yafuna awaadi okuva mu kitongole ky’Amawanga Amagatte eky’awamu ekimannyikiddwa nga UNAIDS olw’omulimu gwe yakola mu kulwanyisa Siriimu n'akawuka akaleeta obulwadde buno mu Uganda. [5]

Obuvo n’okusoma

[kyusa | kolera mu edit source]

Milly Babalanda yazaalibwa nga 5 Ogwokumineebiri mu 1970 ku kyalo Nalinaibi mu disitulikiti y’e Kamuli, nga kitaawe yeeyali Sosani Magunda ne nnyina Namuwaya Ruth. [2] [6] Yatuula ebigezo bye ebya P7 mu 1985 ne yeegatta ku Busoga High School okusoma siniya. Oluvannyuma lw'okumaliriza Siniya 4 mu 1989 gy'atakolera bulungi, n'afuuka akunga abantu ku kyalo mu by'obufuzi ku lw'abanabyabufuzi okuva mu ggombolola nga Rt Honorable Rebecca Kadaga.[1] Yaddayo ku somero n’addamu okutuula Siniya 4 mu 2017 era oluvannyuma n’atuula ku ne Siniya 6 mu 2019 olw’obwetaavu bw’ebisaanyizo by’okusoma okubeera Akulira Abawabuzi ba Pulezidenti.[7][8]

Emirimu gy’eby'obufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Milly Babalanda yalondebwa Pulezidenti wa Uganda okubeera omumyuuka w'Omubaka wa Pulezideenti e Busia mu 2014. Oluvannyuma yafuuka Omumyuuka w'Akulira Ofiisi y'Ekibiina kya NRM mu ggwanga e Mbuya ekyali kikulemberwa Honorable Molly Nawe Kamukama . Oluvannyuma lw'okulonda kw'eggwanga mu 2016,Pulezidenti yamulonda okubeera omuwabuzi wa Pulezidenti omukulu ku nsonga z'Eby'obufuzi era Akulira ofiisi ya Ssentebe w'ekibiina kya NRM gy'aweereza okutuuka mu kifo ky'alimu kati.[1]

Babalanda y'omu kubali munzikiriza y'eddini y'Abadiveenti wamu ne bba we Samuel Babalanda omusumba.[2][6] Balina abaana babiri abazaalibwa. [6]

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 "Who Is Milly Babalanda? From Humble Village Girl To Minister, New Minister For Presidency Narrates Her Journey…". Grapevine News (in American English). June 10, 2021. Archived from the original on December 5, 2021. Retrieved December 5, 2021.
  2. 1 2 3 "KAGEYI LUKKA: Count Down 2026: Budiope West, your daughter Milly Babalanda is ready". Watchdog Uganda. Retrieved June 10, 2024.
  3. Admin, NP (June 15, 2021). "Parliament finally clears Milly Babalanda as new Minister for Presidency". Nile Post (in American English). Retrieved December 5, 2021.
  4. Reporter, Pearl Times (July 12, 2021). "Here's what makes Milly Babirye Babalanda one of the most powerful, influential Museveni ministers". The Pearl Times (in American English). Archived from the original on December 5, 2021. Retrieved December 5, 2021.
  5. "Minister Babalanda receives medal for championing HIV/AIDS fight in Uganda". The Independent. September 17, 2023. Retrieved November 1, 2023.
  6. 1 2 3 Reporter, Express (July 10, 2021). "Who Is Milly Babalanda? Here is the Biography of New Minister For Presidency". Daily Express (in American English). Retrieved June 9, 2024.
  7. Writer, Secondopinion (June 13, 2021). "Milly Babirye Babalanda! Minister For Presidency At A Glance". THE SECOND OPINION (in American English). Retrieved April 1, 2024.
  8. "Museveni secretary explains inconsistencies in appointed minister Babalanda's names". Monitor (in Lungereza). June 15, 2021. Retrieved April 1, 2024.