Minero (Minerals)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Minero

     (Minerals)

Minero (minerals) teziva mu nsolo oba ebimera . Ziva mu bitali biramu . Buli kika kya mmere kibaamu minero ezetaagisa(essential minerals). Kino kiba kitegeeza nti minero ezisinga nnyangu okufuna mu bunji obwetaagisa omubiri , okujjako ayani(iron) mu baana abali wansi w’emyaaka ena n’abawala abali mu myaka gya kavubuka(adolescent girls ) n’abakazi mu myaka egizaala. Bano betaaga ayani munjiko okusinga abeera mu dayati eya bulijjo. Ayani ayamba okuzimba obutaffaali bw’omusaayi obumyufu (red blood cerls) awamu n’okuyamba omusaayi okutambuza wokisijeni okuva mu mawuggwe okudda mu buli kataffaali ka mubiri .

Ayani ayinza okujjibwa mu bunji mu nnyama, naddala ekibumba, enjuba y’eggi , n’enva endiirwa ezakiragala omukwaafu.

Buli muntu yetaaga ne kalisiyaamu(calcium) buli bbanga. Minero eya kalisiyaamu ezimba amannyo n’amagumba ate era yetaagisa omusaayi okukaliiririra(blood clotting). Kairisiyaamu ava mu mmere nga amata, kiiizi akaluba(hard cheese) , ebikoola ebyakiragala , ebinyeebwa, n’obwennyanja obutono nga sadiiniya(sardines) obulina amagumba agayinza okumeketebwa.

Minero endala ye posifalaasi(phosphorus) ekolagana ne kalisiyaamu okukola amaanyo n’amagumba amagumu. Dayati evaamu ebizimbamubiri ne kalisiyaamu eby’amaanyi era evaamu posifalaasi amala. Minero endala mulimu sodiyaamu, potasiyaamu, ayodiini, maginesiyaamu, zinki ne kkopa.

Bivudde mu kitabo "Essomabiramu"(Biology) , ekya Muwanga