Minisitule Evunaanyizibwa Kunsonga z'Ebweru w'Eggwanga lya Uganda
Minisitule y'ensonga z'ebweru (MOFA) minisitule ya gavumenti ku mutendera gwa kabineti evunaanyizibwa ku kusa mu nkola n'okuddukanya enkola ya Uganda ey'ensonga z'ebweru n'emirimu gy'ensi yonna. [1]
W'esinganibwa
[kyusa | kolera mu edit source]Ekitebe kya minisitule eno ekikulu kisingaanibwa ku 2A Colville Street, ku lusozi Nakasero, mu Divizoni eyawakati eya Kampala, ekibuga ekikulu era ekisinga obunene mu Uganda. [2] Endagiriro y'ekitebe kino ekikulu ziri: 0°18'55.0"N, 32°35'06.0"E (Latitude:0.315267; Longitude:32.584990). [3]
Entambuza y'emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Ebikwata ku minisitule eno byatandika nga Uganda yaakafuna okwetwaaze nga 9 Ogwekumi 1962. Mu kusooka, mu by’okudukanyizibwa, yali wansi wa Oofiisi ya Ssaabaminisita . Mu 1971, yafuuka minisitule eyali yeetegenredde. [4] Mu 1966, ekifo kya Minisita w’Eggwanga Omubeezi Ow’ensonga z’Ensi yonna kyatondebwawo, era mu 1988 ekifo kya Minisita w’Eggwanga Omubeezi Ow’ensonga z’Ebitundu kyayongerwako. [1]
Obukulembeze mu by'obufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Wetwatukira mu Gwekumineebiri mu 2016, Sam Kutesa yeeyali minisita w’ensonga z’ebweru w'eggwanga. Ekifo kino akibaddemu okuviira ddala mu 2005. Minisita w’eggwanga omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z’ensi yonna abadde Henry Oryem Okello okuva mu 2005. Okuva nga 1 Ogwokusatu 2015, Philemon Mateke abadde minisita w’eggwanga omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z’ebitundu. [1] [5] [6]
Ensengeka y'ekikula ky’ekitongole kino
[kyusa | kolera mu edit source]Mu by’okuddukanya emirimu, minisitule eno egabanyizibwamu ekitongole ekivunaanyizibwa ku nkolagana y’ensi yonna n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku nkolagana y’ebitundu. [7]
Era erina ebitongole bino wammanga:
- Ekitongole ky’eby'ensimbi n’enzirukanya y’emirimu, ekivunaanyizibwa ku nsonga z’eby'ensimbi n’enzirukanya y’emirimu. [8]
- Ekitongole ky’okubala ebitabo by’omunda, ekivunaanyizibwa ku kwekeneenya akabi n’okukola enteekateeka z’okukendeeza ku kabi. Ekitongole kino "kivunaanyizibwa okulaba ng'enkola zonna, okufuga, ebiragiro n'emitendera bimala era bikola bulungi". [9]
- Ewaterekebwa ebiwandiiko, ekivunaanyizibwa ku mpuliziganya, enkolagana n’abantu n’emikutu gy’amawulire, ensonga za tekinologiya w’amawulire n’empuliziganya, okutendeka n’okugoberera enkiiko za baminisita n’ababaka, n’ensonga ezikwatagana nabyo. [10]
- Ekitongole ky’omukago gwa Afrika, ekivunaanyizibwa ku kutegeka, okusa mu nkola, n’okukwasaganya okutuukiriza enkola y’eggwanga eri omukago gwa Afrika . [11]
- Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuweereza banaansi abali mu mawanga ag'enjawulo okwetoloola ensi yonna, evunaanyizibwa ku kukulaakulanya, okusa mu nkola, n’okulondoola enkola ezikosa Bannayuganda ababeera n’abakola ebweru w’eggwanga. Yatondebwaawo mu 2007. [12]
- Ekitongole ky'ebitundu bya Asia ne Pacific, ekivunaanyizibwa ku kulakulanya, okusa mu nkola, n’okukwasaganya enkola ne pulogulaamu ezikwata ku nkolagana n’amawanga g'okusemazinga wa Asia, Pacific Rim, ne Pacific Ocean. [13]
- Ekitongole ekirimu amwanga G'omubuvanjuba bwa Afrika n'ekitongole kya Ring States, ekivunaanyizibwa ku kulaakulanya, okusa mu nkola, n’okukwasaganya enkola ne pulogulaamu za gavumenti eri amawanga g’omukago gwa East African Community, Olukungaana lw’ensi yonna ku Kitundu ky’Ennyanja ennene, n’ekitongole kya gavumenti ez’enjawulo ku nkulaakulana . [14]
- Ekitongole ekivunaanyizibwa ku nkolagana ne Bulaaya, ekivunaanyizibwa ku kuteekawo, okusa mu nkola, n’okukwasaganya enkolagana ya Uganda n’amawanga ga Bulaaya. [15]
Ebitekebwaako esira ebirabibwaako
[kyusa | kolera mu edit source]Mu kwekalakaasa okwaliwo mu Hong Kong mu 2019-2020, Uganda gegamu ku mawanga ga Afrika agaalaga obuwagizi eri enkola ya China. [16]:41 Mu Gwekumi 2019, minisitule y'Ensonga z'Ebweru yafulumya ekiwandiiko nti Uganda "ewagira nnyo enkola y'ensi emu, enkola bbiri ey'ensi ya People's Republic of China ku nsonga ya Hong Kong n'ebitundu ebirala" era nti "ensonga za Hong Kong, nsonga za China ez'omunda mu ggwanga." [16] : 41
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijulizidwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 MOFA (21 October 2016). "Ministry of Foreign Affairs (Uganda): About Us". Uganda Ministry of Foreign Affairs (MOFA). Archived from the original on 14 August 2020. Retrieved 21 October 2016.
- ↑ MOFA (21 October 2016). "Ministry of Foreign Affairs (Uganda): Location". Uganda Ministry of Foreign Affairs (MOFA). Archived from the original on 22 August 2020. Retrieved 21 October 2016.
- ↑ Template:Google maps
- ↑ Rulers (21 October 2016). "List of Foreign Ministers of Uganda since 1962". Rulers.org (Rulers). Retrieved 21 October 2016.
- ↑ Uganda State House (6 June 2016). "Museveni's new cabinet list At 6 June 2016" (PDF). Archived from the original (PDF) on 31 March 2019. Retrieved 21 October 2016.
- ↑ Uganda State House (1 March 2015). "Full Cabinet List As At 1 March 2015" (PDF). Archived from the original (PDF) on 9 July 2017. Retrieved 21 October 2016.
- ↑ MOFA (21 October 2016). "Ministry of Foreign Affairs (Uganda): Directorates". Uganda Ministry of Foreign Affairs (MOFA). Archived from the original on 10 August 2020. Retrieved 21 October 2016.
- ↑ MOFA (21 October 2016). "Ministry of Foreign Affairs (Uganda): Department of Finance and Administration". Uganda Ministry of Foreign Affairs (MOFA). Archived from the original on 15 August 2020. Retrieved 21 October 2016.
- ↑ MOFA (21 October 2016). "Ministry of Foreign Affairs (Uganda): Department of Internal Audit". Uganda Ministry of Foreign Affairs (MOFA). Archived from the original on 10 August 2020. Retrieved 21 October 2016.
- ↑ MOFA (21 October 2016). "Ministry of Foreign Affairs (Uganda): Resource Centre". Uganda Ministry of Foreign Affairs (MOFA). Archived from the original on 20 November 2017. Retrieved 21 October 2016.
- ↑ MOFA (21 October 2016). "Ministry of Foreign Affairs (Uganda): Department of the African Union". Uganda Ministry of Foreign Affairs (MOFA). Archived from the original on 19 July 2017. Retrieved 21 October 2016.
- ↑ MOFA (21 October 2016). "Ministry of Foreign Affairs (Uganda): Department of Diaspora Services". Uganda Ministry of Foreign Affairs (MOFA). Archived from the original on 4 August 2020. Retrieved 21 October 2016.
- ↑ MOFA (21 October 2016). "Ministry of Foreign Affairs (Uganda): Department of Asia and Pacific Region". Uganda Ministry of Foreign Affairs (MOFA). Archived from the original on 19 July 2017. Retrieved 21 October 2016.
- ↑ MOFA (21 October 2016). "Ministry of Foreign Affairs (Uganda): Department of EAC and Ring States". Uganda Ministry of Foreign Affairs (MOFA). Archived from the original on 19 July 2017. Retrieved 21 October 2016.
- ↑ MOFA (21 October 2016). "Ministry of Foreign Affairs (Uganda): Department of European Relations". Uganda Ministry of Foreign Affairs (MOFA). Archived from the original on 2 October 2017. Retrieved 21 October 2016.
- 1 2 Shinn, David H.; Eisenman, Joshua (2023). China's Relations with Africa: a New Era of Strategic Engagement. New York: Columbia University Press. ISBN 978-0-231-21001-0.