Minisitule evunaanyizibwa ku by'Ekikula Ky'abantu, Emirimu N'enkulakulanya y'Embeera z'Abantu mu Uganda
Minisitule evunaanyizibwa ku by’Ekikula ky’Abantu, Emirimu n’Enkulaakulana y’Embeera z’Abantu minisitule ya gavumenti eya Uganda eri ku mutendera gwa kabineeti . Ekirubirirwa kya minisitule eno kya kuwa banaansi kakisa k'okutumbuula obusobozi bwabwe obw’omuntu sekinoomu nga bakulaakulanya obukugu bwabwe, okwongera ku bakozi b'emirimu n’okugaziwa ku mu by'obuwangwa okusobola okutuuka ku nkulaakulanya ey’olubeerera era ekwata ku kikula ky’abantu. [1] Minisitule eno ekulemberwa minisita wa kabineeti, Betty Amongi Akena. [2]
Weesinganibwa
[kyusa | kolera mu edit source]Ekitebe kyayo ekikulu kisinganibwa ku George Street ku lusozi Nakasero mu Central Division ya Kampala ekibuga kya Uganda ekikulu era ekisinga obunene. [3] Endagirieo y'ekitebe kya minisitule eno ekikulu ng'okozesa bibalo zeezino 0°19'00.0"N, 32°34'43.0"E (Latitude:0.316677; Longitude:32.578611). [4]
Abakikulembera
[kyusa | kolera mu edit source]Minisitule eno eyawulwaamu ebitundu bino wamanga nga byebigudukanya: [5]
- Abakozi, Emirimu n'Obukuumi mu nga bw'okumirimu Okukuuma embeera z’Abantu
- Enkulaakulana y'Ekikula ky'Abantu n'Ebitundu
Obukulembeze
[kyusa | kolera mu edit source]Minisita wa kabineeti ayambibwaako baminisita ababeezi bamirundi etaano. [6]
- Minisita Omubeezi Ow'ekikula ky'Abantu n'Eby'obuwangwa - Peace Mutuuzo
- Minisita Omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z'Abavubuka n'Abaana - Hon. Nyirabashitsi Sarah Mateke
- Minisita Omubeezi Ow'ensonga z'Abakadde - Hon. Dominik Mafwabi Gidudu
- Minisita Omubeezi Ow’Ensonga z’Abaliko obulemu ku Mibiri- Hon. Asamo Hellen Ekisa kyaffe
- Minisita Omubeezi avunaanyizibwa ku By'abakazi, Emirimu n’Ensonga Z'amakolero - Col. Rtd Okello P. Charles Engola
Olukalala lwa baminisita
[kyusa | kolera mu edit source]Minisita w’Ekikula ky’Abantu, Abakozi n’Enkulaakulana y’Embeera z’Abantu
[kyusa | kolera mu edit source]- Betty Amongi Okuva nga 8 Ogwomukaaga mu 2021 okutuuka kati) [7]
- Frank Tumwebaze okuva nga 14 Ogwekumineebiri mu 2019 okutuusa nga 8 Ogwomukaaga mu 202 [8]
- Janat Mukwaya Okuva nga 6 Ogwomukaaga mu 2016 okutuusa nga 14 Ogwekumineebiri mu 2019 [9]
Minisita avunaanyizibwa ku By’ensonga z’Ekikula ky’Abantu n’Embeera z’Abantu
[kyusa | kolera mu edit source]- Wilson Muruli Mukasa okuva nga 1 Ogwokusatu 2015, okutuusa 6 Ogwomukaaga mu 2016 [10]
- Mary Karooro Okurut okuva nga 23 Ogwokutaano 2013 okutuuka nga 1 Ogwokusatu 2015 [11]
- Syda Bbumba okuva nga 27 Ogwokutaano 2011 okutuusa nga 16 Ogwokubiri 2012 [12] [13]
Minisita avunaanyizibwa ku By’ekikula ky’Abantu, Abakozi n’Enkulaakulana y’Embeera z’Abantu
[kyusa | kolera mu edit source]- Gabriel Opio okuva nga 16 Ogwokubiri 2009 okutuuka nga 27 Ogwokubiri 2011[14]
- Syda Bbumba okuva nga 1 Ogwomukaaga 2006 okutuusa nga 16 Ogwokubiri 2009 [15]
- Zoe Bakoko Bakoru okuva mu 2001 okutuusa nga 1 Ogwomukaaga 2006 [16]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ MGLSD (22 September 2016). "Ministry of Gender, Labour and Social Development (Uganda): About Us - Mandate". Ministry of Gender, Labour and Social Development (Zambia) (MGLSD). Archived from the original on 23 September 2016. Retrieved 22 September 2016.
- ↑ "NEW CABINET: Museveni drops Kutesa, 10 ministers". The Independent.
- ↑ MGLSD (22 September 2016). "Ministry of Gender, Labour and Social Development (Uganda): Our Contacts". Ministry of Gender, Labour and Social Development (Uganda) (MGLSD). Archived from the original on 23 September 2016. Retrieved 22 September 2016.
- ↑ Template:Google maps
- ↑ MGLSD (22 September 2016). "Ministry of Gender, Labour and Social Development (Uganda): Directorates". Ministry of Gender, Labour and Social Development (Uganda) (MGLSD). Archived from the original on 23 September 2016. Retrieved 22 September 2016.
- ↑ Uganda State House (6 June 2016). "Museveni's new cabinet list At 6 June 2016" (PDF). Archived from the original (PDF) on 31 March 2019. Retrieved 22 September 2016.
- ↑ "NEW CABINET: Museveni drops Kutesa, 10 ministers". The Independent. Archived from the original on 9 June 2021.
- ↑ "CABINET RESHUFFLE 2019". Uganda Media Centre. 14 December 2019. Archived from the original on 28 August 2022. Retrieved 28 August 2022.
- ↑ "Museveni appoints his wife to key ministry in new cabinet". Africanews (in Lungereza). 7 June 2016. Retrieved 28 August 2022.
- ↑ "Muruli Mukasa appointed acting Minister of Justice". The Independent Uganda. 19 January 2022. Retrieved 28 August 2022.
- ↑ "Cabinet". Uganda High Commission in Canada. Archived from the original on 12 August 2022. Retrieved 28 August 2022.
- ↑ Mukasa, Henry (28 Gwakutaano(Muzigo) 2011). "Museveni Names New Cabinet". Archived from the original on 11 Gwakkuminebiri(Ntenvu) 2014. Retrieved 30 Gwamunaana(Muwakanya) 2022.
- ↑ Sheila Naturinda, and Yasiin Mugerwa (17 February 2012). "Makubuya, Bbumba Resign From Cabinet". Archived from the original on 14 August 2014. Retrieved 11 February 2015.
- ↑ "Full Cabinet List As At 18 February 2009". 18 February 2009. Archived from the original on 13 February 2015. Retrieved 30 August 2022.
- ↑ Mukasa, Henry (2 June 2006). "Ministries Allocated". Archived from the original (Archived from the original on 11 December 2014) on 11 December 2014. Retrieved 18 April 2019.
- ↑ "Ex minister Bakoko Bakoru returns from exile on Friday". The Observer (in British English). 8 February 2016. Archived from the original on 30 August 2022. Retrieved 30 August 2022.