Miraj Barot
Miraj Harshad Barot mukungu mu by'obusuubuzi. Yazaalibwa mu Buyindi era yasengukira mu Uganda n’ab’omu maka ge ng’alina emyaka mukaaga egy’obukulu. Mu kiseera kino ye ssenkulu addukanya era omukulembeze owokuntikko ow'ekibinja ky'amakampuni gaTirupati mu Uganda. Ekibinja ky'amakampuni kisiga ensimbi mu kuzimba ebizimbe by'amaduuka, okuzimba amayumba nebizimbe eby'okupangisa nokutunda, emizigo, ebibo omukolerwa bbizinensi n’amalwaliro.
Obuto bwe n’okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Miraj Barot yazaalibwa mu Buyindi mu 1988. Kitaawe ye Harshad Barot, omutandisi era ssentebe w'amakampuni ageegatira mu Tirupati Group Limited. Abomumakaage baasengukira mu Uganda, mu 1994, Miraj bwe yali akyali bbujje. Yasomera mu masomero g'e Uganda naye n’ava mu ssomero nga bukyali. Yatandika okwetaba mu kuddukanya obwakabaka bwa bizinensi z’amaka gaabwe, mu 2003, ku myaka kkumi neena egy’obukulu (14 years of ase). [1]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Okutandikira mu 2006, Miraj abadde yeenyigira nnyo mu kuddukanya bizinensi z’amaka. Kkampuni ya Tirupati (TGL) bwe yatandikibwawo mu 2006, yasiga obumu ku bugagga bwe ng'omuntu mu kkampuni eno era n’aweereza ng'omukulu waayo eyasooka addukanya eby'obwa kitunzi . [2] [3] Oluvannyuma, yaweereza ng'omukulemebeze owookuntikko omulala mu kkampuni ya TGL. [4] [5] Mu mwezi ogwekkuminoogumu 2013, omulimu gwe gwafuuka gwa mukulemebeze owookuntiko ku Tirupati n'amakampuni abbiri (Two other companies) mu kugaziya bbizinensi z'amaka . Virat Alloys Limited kkampuni ekola ebyuma bya ssitiilu n'okuuzimba obuyumba mu byuma ng'esala, eweta n'okupanga ebyuma oluvannyuma lwokufuna eby'obugagga n'emigabo ebyali ebya kkampuni eyali ekola ebintu bya ssitiilu eya Sembule. Miraj Barot yeeyali omukulu addukanya emirimu era omukulemebze owookuntikko owa kkampuni zomb ebbiri. [6]
Amaka
[kyusa | kolera mu edit source]Miraj Barot yawasa Kruti Bharat Rao. Embaga yaliwo nga 11 Omweziogwekkunin'ebiri 2013 mu Buyindi . Abaagalana bano bwe baddayo e Uganda, baasembeza abageny baabwe ku ku mukolo ogw'ekigagga l, nga 10 Omwezi ogusooka 2014, eri mikwano gyabwe ne bebakolagana nabo ab'ebbeyi. [7]
Engule z'awangudde
[kyusa | kolera mu edit source]- Ebirabo by’omusigansimbi w’omwaka ebiweebwa ekitongole kya Uganda Investment Authority mu 2009 olw’okuleeta ekitabo ekipya n’ekintu ekivuganya mu bitundu by’obuvanjuba bwa Afrika.
- Omusigansimbi w’omwaka awereddwa ekitongole kya Uganda Investment Authority mu 2010 olw’ekirowoozo ekiyiiya eky’ekkolero lya kasasiro w’eddagala eryasooka mu Uganda.
- Omutendesi w’omwaka oguwereddwa ekitongole kya Uganda Investment Authority mu 2012 nga omuvubuka omusuubuzi w’omwaka.
- Omuwanguzi w'engule y'obukulembeze bwa Afrika mu 2014.
- Engule ya Glory of Gujarat eyaweebwa Gavana wa Gujarat Honorable Om Prakash Kohli mu 2015.
- Okutuuma oluguudo mu Kampala Uganda MIRAJ CLOSE olw’okuyambako mu kukulaakulanya ekitundu ne Uganda okutwaliza awamu mu 2020.
- Business trendsetter Award 2023 ku Sheraton Hotel Kampala efunye okuva ewa Permanent Secretary & Secretary to The Treasury mu Minisitule y’ebyensimbi, okuteekateeka n’enkulaakulana y’ebyenfuna, Ramathan Ggoobi.
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- Bwire, Stephen (14 January 2012). "Miraj Barot Also Known As Tirupati". The Independent (Uganda). Archived from the original on 9 November 2014. Retrieved 26 November 2014.
- Musinguzi, John (10 February 2010). "Tirupati: The Regional Leader In Novelty". The Observer (Uganda). Retrieved 26 November 2014.
- Musinguzi, John (10 February 2010). "Tirupati: The Regional Leader In Novelty". The Observer (Uganda). Retrieved 26 November 2014.
- Emorut, Francis (11 June 2014). "Government Earmarks USh10 Billion for Masaka Hospital". New Vision (Kampala). Retrieved 26 November 2014.
- Kaggwa, Andrew (16 June 2014). "Masaka Hospital To Get 800-Bed Block". The Observer (Uganda). Retrieved 26 November 2014.
- Nyambura, Silvia (15 November 2013). "Miraj Barot: The Tirupati CEO Talks About Filling His Father's Shoes And Being His Own Man". The Ceo Magazine (Uganda). Retrieved 27 November 2014.
- Mulumba, Abu-Baker (12 January 2014). "Tirupati's Miraj Barot Splurges On Wedding". The Observer (Uganda). Retrieved 2 December 2014.
- ↑ Bwire, Stephen (14 January 2012). "Miraj Barot Also Known As Tirupati". Archived from the original on 9 November 2014. Retrieved 26 November 2014.
- ↑ "An Interview With Mr. Miraj Barot, Tirupati's Director of Marketing". The Promota Magazine (London). 31 December 2010. Archived from the original on 12 July 2015. Retrieved 26 November 2014.
- ↑ Musinguzi, John (10 February 2010). "Tirupati: The Regional Leader In Novelty". Retrieved 26 November 2014.
- ↑ Emorut, Francis (11 June 2014). "Government Earmarks USh10 Billion for Masaka Hospital". Retrieved 26 November 2014.
- ↑ Kaggwa, Andrew (16 June 2014). "Masaka Hospital To Get 800-Bed Block". Retrieved 26 November 2014.
- ↑ Nyambura, Silvia (15 November 2013). "Miraj Barot: The Tirupati CEO Talks About Filling His Father's Shoes And Being His Own Man". The Ceo Magazine (Uganda). Retrieved 27 November 2014.
- ↑ Mulumba, Abu-Baker (12 January 2014). "Tirupati's Miraj Barot Splurges On Wedding". Retrieved 2 December 2014.
e