Jump to content

Misi Kabanda

Bisangiddwa ku Wikipedia

Minsa Kabanda, oluusi amanyiddwa nga Hajjat Minsa Kabanda, ye minisita wa Kampala. [1] [2] [3] [4] [5] [6] [7] [8] [9] [10] Y'omu kuba Minisita abamaliriza pulaani y'okukola n'okupanga emmotoka ekika kya baasi okwanguyiza ku ntabula mu kibuga Kampala (GKMA) nga bayita mu kitongole kya gavumenti ekya Kampala Capital City Authority n'ekolero lya baasi erya METU. [11] Kyokka Pulezidenti Museveni yagaana okwewola okusobola okuyingiza baasi mu Ggwanga. [11]

Emirimu gye egy'ebyobufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Nga Minisita wa Kampala, Misi Kabanda akulembera minisitule evunaanyizibwa ku kukwasaganya obukulembeze bw'e Kampala, okuteekateeka ebizimbe, obuweereza mu bitundu n’ennongoosereza mu Kampala . Mu kifo kino akolagana n’abakungu nga Meeya, omumyuka wa meeya n’abakulira divizoni ettaano ezikola Kampala. [12]

Emirimu gye yetabyemu

[kyusa | kolera mu edit source]

Misi Kabanda abadde y'enyigira nnyo mu nteekateeka ezitunuulidde abantu b’omukitundu n’abavubuka;

  • Abavubuka n'okutumbula obukugu ; Awagidde mu lujjudde enteekateeka z’obukugu ezigenderera okukendeeza ku bumenyi bw’amateeka ng’awa abavubuka mu Kampala obukugu mu by’emikono, ekileetawo enkola ennungi mu bantu b’omu kitundu. [13]
  • Obuwagizi mu bizinensi n'okutandikawo emirimu ; Mu bukulembeze bwe ne KCCA, yayambako okutongoza ebifo eby’obusuubuzi nga mu divizoni y’e Makindye okuwa abavubuka abasuuliddwa ku mabbali obukugu mu by’obusuubuzi n’okwetegekera emirimu, emirundi mingi ng’akolagana ne ba patana ab'enjawulo nga Voluteer Services Overseas (VSO) ne Standard Chartered Foundation. Ebifo bino biwagira okutendekebwa mu byuma bikalimagezi oba giyite kompyuta, okulungamya ku by'emirimu n’okuwa abaganyulwa ebikozesebwa mu kutandikawo emirimu. [14]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://statehouse.go.ug/minister-kabanda-lauds-presidential-skilling-project-for-reducing-crime/
  2. https://www.kcca.go.ug/news/644/minister-kabanda-launches-business-hub-to-equip-youths
  3. https://hicginewsagency.com/2021/06/23/kcca-welcomes-new-kampala-ministers/
  4. https://voiceofbugerere.com/m7-to-be-surrounded-by-bootylicius-ladies-he-names-new-cabinet/
  5. https://www.bukedde.co.ug/articledetails/105779
  6. https://kawa.ac.ug/2021/06/08/new-cabinet-list-jessica-new-vice-president/
  7. https://frontnewsonline.com/cabinet-list-2021/
  8. https://pearltimes.co.ug/full-list-here-are-the-33-new-faces-on-musevenis-new-cabinet/
  9. https://www.dispatch.ug/2021/06/08/president-museveni-releases-full-cabinet-list-whos-in-and-whos-out/
  10. https://nbs.ug/2021/06/56838/
  11. 1 2 "President rejects Loans for Importation of Buses | Uganda Media Centre". www.mediacentre.go.ug. Retrieved 2022-03-19.
  12. https://statehouse.go.ug/minister-kabanda-lauds-presidential-skilling-project-for-reducing-crime/
  13. https://statehouse.go.ug/minister-kabanda-lauds-presidential-skilling-project-for-reducing-crime/
  14. https://www.kcca.go.ug/news/644/minister-kabanda-launches-business-hub-to-equip-youths

 

Ebijuliziddwamu w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]