Jump to content

Irfan Afridi

Bisangiddwa ku Wikipedia
(Oleetedwa wano okuva ku Mohammed Irfan)

Mohammed Irfan Afridi (yazaalibwa nga 24 Ogwokusatu 1985) enzaalwa y'e Pakistan Munnayuganda omuzannyi wa cricket azannyira ttiimu y'eggwanga eya Uganda.[1][2] Yazaalibwa mu kibuga Karachi, Pakistan,[1] era kizibwe w'eyali omuzannyi wa cricket ow'ensi yonna mu Pakistan Shahid Afridi.[3] Yasooka kuzannya mu nsi yonna mu Uganda mu gwomwenda gwa 2016 nga battunka ne Qatar.[4]

Mu gwokutaano 2017, yazannya mu mpaka za ICC World Cricket League Division Three eza 2017 mu Uganda.[5] Mu mupiira Uganda gwe yazannya ne Malaysia, yateeba 108 nga tafulumye era n'alondebwa ng'omuzannyi asinga.[6]

Mu gwokuna 2018, yalondebwa mu ttiimu ya Uganda mu mpaka za ICC World Cricket League Division Four eza 2018 e Malaysia.[7] Yalondebwa ng’omuzannyi ow’okutunuulira mu ttiimu nga beetegekera empaka zino.[8] Mu mupiira Uganda ogw'okubiri mu mpaka zino, ne Bermuda, yakwata wicket mukaaga ku mipiira 23 era n'alondebwa ng'omusajja w'omupiira.[9][10][11] Mu mupiira Uganda ogwaddako, ne Vanuatu, yateeba emipiira 51 n’akwata wicket ssatu, era n’addamu okulondebwa ng’omusajja asinga.[12][13][14] Yamalira ng'omuteebi asinga okutwala wicket mu mpaka zino, ng'agobwa kkumi na bataano mu mipiira mukaaga.[15]

Mu Ogwomusanvu wa 2018, yali mu ttiimu ya Uganda mu kibinja ky’ebitundu by’obuvanjuba mu mpaka za ICC World Twenty20 Africa Qualifier eza 2018–19.[16] Mu mupiira gwa Uganda ogw'okusatu mu mpaka zino, ne Rwanda, yakwala wicket ttaano ku mipiira kkumi n'ebiri era n'alondebwa ng'omuzanyi asinga[17][18] Yamaliraza ng'omuzannyi asinga wickets mu kibinja ekyali kisunsuddwaamu, nawangulwa emirundi kkumi na ssatu mu mumizannyo mukaaga.[19][20] Mu Ogwomwenda wa 2018, yalondebwa mu ttiimu ya Uganda mu mpaka za Africa T20 Cup eza 2018.[21][22]

Mu Ogwekkumi wa 2018, yalondebwa mu ttiimu ya Uganda mu mpaka za ICC World Cricket League Division Three eza 2018 e Oman.[23] Mu mupiira gwa Uganda ogw'okubiri mu mpaka zino, ne Amerika, Afridi yakubye over emu yokka,[24] anti ekikolwa kye eky'okukuba bowling kyatunuulirwa ng'ekiteeberezebwa omulamuzi, era kapiteeni wa Uganda Roger Mukasa n'ategeeza nti Afridi yandibadde no-balled singa agenda mu maaso.[25] Nga wayise ennaku bbiri, olukiiko lw’ensi yonna olwa Cricket Council (ICC) yalowooza nti ekikolwa kye kyali waggulu w’emitendera gy’okugumiikiriza egyakkirizibwa, ne kisalawo nti ekikolwa kye kyali kimenya mateeka https://en.wikipedia.org/wiki/Throwing_(cricket) era n’ayimirizibwa okukuba bowling mu mipiira gy’ensi yonna.[26]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 "Mohammed Irfan". ESPN Cricinfo. Retrieved 2 May 2018.
  2. "Who are the players that will represent Uganda at the Division III World Cricket League?". Kawowo. 9 May 2017. Retrieved 1 November 2018.
  3. Uganda: Irfan Century Keeps Uganda Believing, 29 May 2017
  4. "The Afridi bowling Uganda to a brighter tomorrow". ESPN Cricinfo. Retrieved 9 November 2018.
  5. "Uganda Squad". ESPN Cricinfo. Retrieved 2 May 2018.
  6. "ICC World Cricket League Division Three at Kampala, May 27 2017". ESPN Cricinfo. Retrieved 2 May 2018.
  7. "Karashani has faith in Malaysian charge". Daily Monitor. 20 April 2018. Retrieved 20 April 2018.
  8. "Groundwork for 2023 World Cup begins at WCL Division Four". ESPN Cricinfo. Retrieved 2 May 2018.
  9. "6th match, ICC World Cricket League Division Four at Bangi, Apr 30 2018". ESPN Cricinfo. Retrieved 2 May 2018.
  10. "Malaysia and Denmark win two out of two at ICC World Cricket League Division 4". International Cricket Council. Retrieved 2 May 2018.
  11. "Cricket: Uganda Defeat Bermuda By 189 Runs". Bernews. 30 April 2018. Retrieved 2 May 2018.
  12. "8th match, ICC World Cricket League Division Four at Kuala Lumpur, May 2 2018". ESPN Cricinfo. Retrieved 2 May 2018.
  13. "Denmark beat Malaysia in top-of-the-table clash". International Cricket Council. Retrieved 2 May 2018.
  14. "Irfan stars in thumping Uganda win". ESPN Cricinfo. Retrieved 2 May 2018.
  15. "ICC World Cricket League Division Four, 2018: Most wickets". ESPN Cricinfo. Retrieved 6 May 2018.
  16. "Uganda Squad: Players". ESPN Cricinfo. Retrieved 9 July 2018.
  17. "6th Match, ICC World Twenty20 Africa Region Qualifier B at Kigali City, Jul 10 2018". ESPN Cricinfo. Retrieved 10 July 2018.
  18. "Big wins for Kenya and Uganda on day 3". International Cricket Council. Retrieved 11 July 2018.
  19. "ICC World Twenty20 Africa Region Qualifier B, 2018: Most wickets". ESPN Cricinfo. Retrieved 14 July 2018.
  20. "Nakrani century ends WT20 Africa B Qualifier in style". International Cricket Council. Retrieved 14 July 2018.
  21. "Uganda Cricket names Africa T20 squad". Kawowo Sports. 5 September 2018. Retrieved 5 September 2018.
  22. "Team Uganda preview". Cricket South Africa. Archived from the original on 13 September 2018. Retrieved 13 September 2018.
  23. "Otwani gets nod ahead of Achelam on final 14 for Division 3 Qualifiers". Kawowo. 18 October 2018. Retrieved 19 October 2018.
  24. "Monank ton guides USA home after Afridi no-ball threat". ESPN Cricinfo. Retrieved 10 November 2018.
  25. "Irfan Afridi the focus of alleged chucking controversy". ESPN Cricinfo. Retrieved 11 November 2018.
  26. "Bowling action of Uganda's Irfan found to be illegal". International Cricket Council. Retrieved 13 November 2018.

Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]