Jump to content

Mondo Kagonyera

Bisangiddwa ku Wikipedia

George Mondo Kagonyera, nga era ayitibwa Mondo Kagonyera, Munnayuganda omusawo w'ebisolo, munnabyabufuzi, omusomesa, era omuddukanya w'emirimu ku yunivasite. Ono ye Mukulu wa Makerere University, eyaakavaako nga eno ye yunivasite esinga obukadde n’obunene mu Uganda. Ekifo ekyo yakilondebwamu Pulezidenti Yoweri Museveni mu 2007. [1] Oluvannyuma lw'okuweereza ekisanja ekijjuvu eky'emyaka ena, yaddamu okulondebwa ekisanja ekirala mu 2011, [2] [3] era n'addamu okutuuzibwako mu Gwolubereberye gwa 2012. [4]

Obuto n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Kagonyera yazaalibwa ku kyalo Kabuga mu Disitulikiti y’e Rukungiri, mu Ttundutundu ly'obugwanjuba bwa of Uganda, okuliraana 1941, nga bazadde ye Zakaria Kagonyera ne Elizabeth Kirihura. Yasomerako mu Kigezi College Butobere okusoma Siniya Eyookuna, bwe yali tannaweebwa kifo mu Royal College Nairobi kusoma Siniya Eyoomukaaga. Yasomerako mu Yunivasite ya Nairobi, n’afuna diguli esooka eya Bachelor of Veterinary Medicine ku ntandikwa y’emyaka gya 1960. Oluvannyuma, yagenda mu maaso n’afuna diguli eyookubiri eya Sayansi mu by’obusawo bw’ebisolo, okuva mu Yunivasite y’e California Davis, n’eddirirwa diguli ya Doctor of Philosophy okuva mu ttendekero lye limu. [2] [3] [5]

Obumanyirivu bwe ku mirimu

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 1967, yakola nga Omukungu avunaanyizibwa ku by'obusawo bw'ebisolo ku Disitulikiti owa disitulikiti y’e Masaka okumala emyezi nga etaano, omulimu gwe yamala navaako okugenda okweyongerayo okusoma. Mu 1971, oluvannyuma lw’okutikkirwa diguli ye eya Master of Science mu yunivasite y’e California, Kagonyera yeegatta ku yunivasite y’e Makerere ng’omusomesa. Yakola kinene mu kutandikawo ekitongole ky’obusawo bw’ebisolo, okuva olwo ekyakyuka ne kifuuka College of Veterinary Medicine, Animal Resources & BioSecurity. Era yaliko ssentebe w’olukiiko olulonda abayizi mu yunivasite okuva mu 1993 okutuuka mu 1999. Yava ku yunivasite n’agenda okwegatta ku byobufuzi bya Uganda mu 1998. Nga munnabyabufuzi, yakola nga mmemba wa Palamenti ow'ekitundu kya Rubabo mu Disitulikiti y’e Rukungiri era nga minisita avunaanyizibwa ku guno na guli mu ofiisi ya ssaabaminisita. [2] [3] Era yaliko omumyuka wa maneja w'ekitongole kya Uganda National Social Security Fund okuva mu 2006 okutuuka mu 2008. [6]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Emmeeza y’okusikira obwa chancellor bwa yunivasite y’e Makerere

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:S-start Template:Succession box Template:S-end

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. http://allafrica.com/stories/200712310378.html
  2. 1 2 3 http://www.campustimesug.com/profile-of-prof-mondo-kagonyera-makerere-university-chencellor/
  3. 1 2 3 https://web.archive.org/web/20150715222530/http://www.newvision.co.ug/mobile/Detail.aspx?NewsID=628247&CatID=6
  4. https://web.archive.org/web/20150208230234/http://vc.mak.ac.ug/events/171-prof-george-mondo-kagonyera-installed-as-makerere-chancellor.html
  5. https://en.wikipedia.org/wiki/The_Observer_(Uganda)
  6. https://web.archive.org/web/20150208220024/http://independent.co.ug/news/news-analysis/403-kagonyera-most-bruised-in-surprise-nssf-sacking