Jump to content

Monica Chibita

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Monica Balya Chibita (yazaalibwa 1963) [1] munnayuganda omukugu mu by'amawulire, asomesa ku matendekero agawaggulu n'okuddukanya beyensoma /ebyenjigiriza. Pulofeesa mu kitongole ky’ebyamawulire, emikutu gy’amawulire n’empuliziganya ku yunivasite ya Uganda Christian University. [2]

Obuvo bwe o n’okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Chibita yazaalibwa mu Uganda mu 1963. [2] Alina ddiguli esooka mu busomesa bw'amasomo ag'embeera z'abantu (Arts), eyamuweebwa Yunivasite y’e Makerere.Ddiguli ye eyokubiri mu mawulire yamuweebwa yunivasite y'e Iowa. N'era yafuna ddiguli eyokusatu ey'ebiwandiik n'e firosofe mu by'empuliziganya mu by'empuliziganya okuva mu yunivasite y'e South Africa mu Pretoria [3]

Chibita yeegatta ku yunivasite ya Uganda Christian University (UCU) mu 2012 ng'ava mu kitongole ky’amawulire, emikutu gy’amawulire n’empuliziganya mu yunivasite y’e Makerere ng'ali ku ddaala ly'anaatera okufuuka pulofeesa. Yalondeddwa ku bukulu bw'ekitongole ky’empuliziganya ez'abangi ku UCU. [2] [3] Mu myaka omukaaga egyaddirira, yalera n'akuza ekitongole kino n'akifuula ebbanguliro ly'amawulire,emikutu gy’amawulire n’empuliziganya ( Faculty of Journalism,Media and Communication-FJMC ). [4]

Mu lugendo lw'okukuza ekitongole okufuuka ebbanguliro,enkyukakyuka zino wammanga zakolebwa: (a) okuddamu okutuuma ekitongole ky’empuliziganya ez'abangi okufuuka ekitongole ky’amawulire n'emisomo egy'emikutu gy'amawulire (b) okutondawo ekitongole ekipya eky’empuliziganya (c) okupangisa abakozi abapya, omuli abasomesa bataano abali ku ddaala lya ddiguli eyokusatu (PhD). [4]

Mu Mwezi ogwokutaano 2019, yunivasite ya UCU yakuza Chibita okutuuka ku ddaala lya pulofeesa omujjuvu, ng’esiima emirimu gye. [5]

Mu Mwezi ogwokutaano 2020, olukiiko lwa Bungerezi olufuzi olwa bannamawulire olwokuntikko lwalonda Chibita okubeera ekitundu ku lukiiko luno n’afuuka omukazi omuddugavu owookubiri okutuula ku luliiko luno. N'era ye Pulofeesa owookubiri ow'eby’amawulire mu Uganda, oluvannyuma lwa pulofeesa Goretti Linda Nassanga owa yunivasite y’e Makerere.

Yalondebwa okuba omukugu akoze obulungi mu kunoonyeraza,okusoma ,nokugabana n'abalala byanoonyereza mukisaawe kye (Fellow) ow'ettendekero lya Uganda National Academy of Sciences mu 2022. [6]

Chibita yafumbirwa omulamuzi Mike J. Chibita omulamuzi wa Kkooti ya Uganda ensukkulumu. [2] [7] Bombi awamu, bazadde b’abaana bataano, abawala babiri [8] n’abatabani basatu. [2]

Ebirala eby'okulowoozaako

[kyusa | kolera mu edit source]

Chibita ye Ssentebe w’olukiiko olufuzi olwa kkampuni ya New vision ekuba n'okufulumya ebiwandiiko, efulumya New Vision, olupapulal lwa Uganda olw'olulimu olungereza, the African Center for Media Excellence ne World Vision Uganda. [3] [5]

Mu Mwezi ogw'ekkumineebiri 2015, yalondebwa ku lukiiko olufuzi olwa World Vision International ng’akiikirira Uganda, Kenya, Tanzania, Rwanda, Somalia, Burundi, Sudan ne South Sudan. [9]

Obuwandiisi mu by’ensoma

[kyusa | kolera mu edit source]

Ngayita mu lugendo lwe olw'ebyenjigiriza atadde ettoffaali ddene nnyo ku kisaawe ky’empuliziganya naddala eby’amawulire ng’ayita mu kunoonyereza kwe era wansi gyegimu ku mirimu gye ;

  • .[10]
  • Leediyo mu Afirika: Abantu, obuwangwa, ebitundu. Kino kitabo kye yawandiika ne banne era nga kirimu emboozi ezikwata ku mirimu egy’enjawulo egya leediyo mu nsi za Afirika ezoogera olungereza , olupotigo n’olufaransa. Emboozi ezimu zittaanya ebyafaayo bya leediyo n’omulimu gwayo mu buwangwa n’ebyobufuzi by’amawanga nga Angola ne South Africa. [11]
  • Obulwanirizi obw'engeri endigito mu Uganda. Eno ssuula ya kitabo mu kitabo ekiyitibwa Obulwanirizi obw'engeri endigito mu mikutu eminyumiza wala era erondoola enkulaakulana y’ebyafaayo mu nkola endigito mu Uganda ng’essira liteekeddwa ku biseera bisatu eby’ebyafaayo ebikwata ku nfuga y’eggwanga.
  • Ebyobufuzi by’okuweereza ku mpewo, enkola y’olulimi ne demokulasiya mu Uganda. Kino kiwandiiko mu katabo ak'emisomo gy'emikutu gya Afirika ekikebera akakwate akaliwo wakati w’ebyafaayo by’ebyobufuzi n’embeera z’abantu, enkola n’okulungamya ku mpewo, n’okwenyigira mu byobufuzi. [12]
  • Ennyanjula Okupoliisiza emikutu gy’amawulire egy’ettutumu mu Afrika ssuula ya kitabo eyafulumizibwa kkampuni ya Routledge era eyogera ku kifo ky’emikutu gy’amawulire mu kutumbula demokulasiya. [13]
  • Enyanjula: olulimi, ensengeka n’ekitongole: okulongoosa enjawulo y’emikutu gy’amawulire mu Afrika nga tukozesa ennimi enzaaliranwa. Eno ssuula ya kitabo Yeekenneenya omulimu olulimi gwe lukola mu mikutu gy’amawulire ng’ekintu ekikulu ennyo eky’olukale okutuuka ku ddaala ennimi abantu ze bakozesa mu mikutu gy’amawulire gye zisalawo emikisa gyabwe egy’okuwulirwa.
  • Emikutu gy’amawulire egy’olulimi enzaalwa n’eddembe ly’okwogera mu Uganda. Eno ssuula ya kitabo ennyonnyola okukula okw’amaanyi mu bunene bwa pulogulaamu mu nnimi enzaaliranwa nga bayita mu nkola y’okuweereza ku mpewo nga bannannyini mikutu gy’amawulire abasinga bakimanyi nti kyetaagisa okuba eky’amaanyi eri abalabi b’omu kitundu.
  • Okwekenenya obutuufu bw’amawanga amangi obw’Alipoota y’Omuntu ey’Okukwata empuliziganya (PRCA-24). ekiwandiiko kino kyogera ku nsonga ssatu ez’enkola eziriwo mu kunoonyereza kungi ku mpuliziganya okuva mu buwangwa nga kino kwe kubulwa enjawulo mu bitundu, okwesigika, n’obutuufu. [14]
  • Ensonda z’abavubuka ba Uganda, okutaputa n’okwekenneenya ebirimu eby’okwegatta mu pulogulaamu z'emikutu gy’amawulire egy’amasanyu. Omusomu guno gwagenderera okuzuula emikutu gy’amawulire ani ku bayizi ba Uganda aba siniya abaayita mu kulaba ebikwata ku by’okwegatta, engeri gye babitegeera n’okwekenneenya ebirimu ebyo n’engeri gye bageraageranyaamu obuyinza bwabyo n’obw’abazadde, amasomero n’amatendekero g’eddiini. [15]
  • Okubikka ku kusenguka —mu Afrika ne Bulaaya: ebivudde mu kwekenneenya okugeraageranya amawanga 11. Kino kyali kunoonyereza kwa kugezesa nti out to de-westernize the discussion nga twekenneenya n’okwenkanankana amawulire agafulumizibwa mu nsi ababundabunda gye bagenda n’amawanga mwe basibuka. Okunoonyereza kuno essira lyabadde ku mikutu gy’amawulire okuwandiika ku bantu abasenguka okuva mu Afrika okudda e Bulaaya. [16]
  • Enkolagana wakati w’okutabaganya kw’abazadde ku nkozesa y’emikutu gy’amawulire mu bavubuka n’endowooza n’enneeyisa y’abavubuka mu Uganda mu by’okwegatta. [17]
  • Akakwate akaliwo wakati w'endaba y'abaana ba Uganda abaakavubuka ey'ebika bya ttivvi ebitongole n’enzikiriza n’enneeyisa ezikwatagana n’okwegatta. [18]
  • Okwekenenya obutuufu bw’amawanga amangi okw’ekipimo ky’obusobozi bw’empuliziganya obw’okwetegeera. [19]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Profile of Professor Monica Balya Chibita: Dean, Faculty of Journalism, Media and Communication at Uganda Christian University". Education News Uganda (in American English). 2020-05-01. Archived from the original on 2020-07-02. Retrieved 2020-05-20.
  2. "UCU promotes Dr. Monica Chibita to rank of full professor". The Independent. Kampala. 24 May 2019. Retrieved 24 May 2019.
  3. "Profile of Professor Monica Balya Chibita: Dean, Faculty of Journalism, Media and Communication at Uganda Christian University". Mukono, Uganda: Uganda Christian University. 2019. Archived from the original on 24 May 2019. Retrieved 24 May 2019.
  4. Dorcus Murungi (30 July 2018). "UCU Faculty of Journalism to emphasise practical skills". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 24 May 2019.
  5. Semakula, John (24 May 2019). "UCU Promotes Chibita To Full Professor". New Vision. kampala. Retrieved 24 May 2019.
  6. "Monica Balya Chibita". INCHE | International Network for Christian Higher Education (in American English). Retrieved 2025-03-05.
  7. Anthony Wesaka (15 August 2013). "Who is Chibita, The New DPP?". Daily Monitor Mobile. Kampala. Archived from the original on 24 May 2019. Retrieved 24 May 2019.
  8. Campus Bee (6 April 2016). "Meet the brilliant, enterprising Maria Chibita from UCU". Kampala: Campus Bee Uganda. Retrieved 24 May 2019.
  9. World Vision (26 November 2015). "Dr. Monica Chibita joins the World Vision international board". Nairobi: World Vision. Retrieved 24 May 2019.
  10. Gunner, Liz; Ligaga, Dina; Moyo, Dumisani; Bosch, Tanja; Chibita, Monica B.; Coplan, David B. (2012). Radio in Africa: Publics, cultures, communities. Wits University Press. ISBN 978-1-86814-705-2.
  11. Chibita, Monica B. (2016), Mutsvairo, Bruce (ed.), "Digital Activism in Uganda", Digital Activism in the Social Media Era: Critical Reflections on Emerging Trends in Sub-Saharan Africa (in Lungereza), Cham: Springer International Publishing, pp. 69–93, doi:10.1007/978-3-319-40949-8_4, ISBN 978-3-319-40949-8, retrieved 2023-01-26
  12. Chibita, Monica B. (2009-05-01). "The politics of broadcasting, language policy and democracy in Uganda". Journal of African Media Studies (in Lungereza). 1 (2): 295–307. doi:10.1386/jams.1.2.295_1. ISSN 2040-199X.
  13. MONICA B. CHIBITA (2010-10-04). "Policing popular media in Africa". In Wasserman, Herman (ed.). Popular Media, Democracy and Development in Africa (in Lungereza). pp. 285–297. doi:10.4324/9780203843260. ISBN 9781136911613.
  14. Chibita, Monica B.; Salawu, Abiodun (2016), Salawu, Abiodun; Chibita, Monica B. (eds.), "Introduction: Language, Structure and Agency: Optimising Media Diversity in Africa Using the Indigenous Languages", Indigenous Language Media, Language Politics and Democracy in Africa (in Lungereza), London: Palgrave Macmillan UK, pp. 1–9, doi:10.1057/9781137547309_1, ISBN 978-1-137-54730-9, retrieved 2023-01-26
  15. Chibita, Monica B. (2016), Salawu, Abiodun; Chibita, Monica B. (eds.), "Indigenous Language Media and Freedom of Expression in Uganda", Indigenous Language Media, Language Politics and Democracy in Africa (in Lungereza), London: Palgrave Macmillan UK, pp. 28–56, doi:10.1057/9781137547309_3, ISBN 978-1-137-54730-9, retrieved 2023-01-26
  16. Croucher, Stephen M.; Kelly, Stephanie; Rahmani, Diyako; Jackson, Kelsea; Galy-Badenas, Flora; Lando, Agnes; Chibita, Monica; Nyiranasbimana, Venantie; Turdubaeva, Elira; Eskiçorapçı, Nadirabegim; Condon, Shawn Michael; Stanalieva, Gulzada; Orunbekov, Bakyt (2019-07-03). "A multi-national validity analysis of the Personal Report of Communication Apprehension (PRCA-24)". Annals of the International Communication Association. 43 (3): 193–209. doi:10.1080/23808985.2019.1602783. ISSN 2380-8985. S2CID 150515836.
  17. Miller, Ann Neville; Nalugya, Evangeline; Gabolya, Charles; Lagot, Sarah; Mulwanya, Richard; Kiva, Joseph; Nabasaaka, Grace; Chibita, Monica (2016-11-01). "Ugandan adolescents' sources, interpretation and evaluation of sexual content in entertainment media programming". Sex Education. 16 (6): 707–720. doi:10.1080/14681811.2016.1217840. ISSN 1468-1811. S2CID 147878074.
  18. Fengler, Susanne; Bastian, Mariella; Brinkmann, Janis; Zappe, Anna Carina; Tatah, Veye; Andindilile, Michael; Assefa, Emrakeb; Chibita, Monica; Mbaine, Adolf; Obonyo, Levi; Quashigah, Timothy; Skleparis, Dimitris; Splendore, Sergio; Tadesse, Mathewos; Lengauer, Monika (2022-01-02). "Covering Migration—in Africa and Europe: Results from a Comparative Analysis of 11 Countries". Journalism Practice. 16 (1): 140–160. doi:10.1080/17512786.2020.1792333. ISSN 1751-2786. S2CID 225625310.
  19. Miller, Ann Neville; Gabolya, Charles; Mulwanya, Richard; Nabaseke, Grace; Kiva, Joseph; Nalugya, Evangeline; Lagot, Sarah; Chibita, Monica (2018-04-03). "The Relationship Between Parental Mediation of Adolescent Media Use and Ugandan Adolescents' Sexual Attitudes and Behavior". Howard Journal of Communications. 29 (2): 165–178. doi:10.1080/10646175.2017.1354788. ISSN 1064-6175. S2CID 149138522.
  20. Miller, Ann Neville; Nalugya, Evangeline; Gabolya, Charles; Lagot, Sarah; Mulwanya, Richard; Kiva, Joseph; Nabaasaka, Grace; Chibita, Monica (2016-04-02). "The association between Ugandan adolescents' viewing of specific television genres and sex-related normative beliefs and behaviours". Communicatio. 42 (2): 221–237. doi:10.1080/02500167.2016.1187187. ISSN 0250-0167. S2CID 147971452.
  21. Croucher, Stephen M.; Kelly, Stephanie; Rahmani, Diyako; Burkey, Mark; Subanaliev, Talgat; Galy-Badenas, Flora; Lando, Agnes Lucy; Chibita, Monica; Nyiransabimana, Venantie; Turdubaeva, Elira; Eskiçorapçı, Nadirabegim; Jackson, Kelsea (2020-01-02). "A multi-national validity analysis of the self-perceived communication competence scale". Journal of International and Intercultural Communication. 13 (1): 1–12. doi:10.1080/17513057.2019.1569250. ISSN 1751-3057. S2CID 150453280.
  1. "Profile of Professor Monica Balya Chibita: Dean, Faculty of Journalism, Media and Communication at Uganda Christian University". Education News Uganda (in American English). 2020-05-01. Archived from the original on 2020-07-02. Retrieved 2020-05-20.
  2. 1 2 3 4 5 "UCU promotes Dr. Monica Chibita to rank of full professor". 24 May 2019. Retrieved 24 May 2019.
  3. 1 2 3 "Profile of Professor Monica Balya Chibita: Dean, Faculty of Journalism, Media and Communication at Uganda Christian University". Uganda Christian University. 2019. Archived from the original on 24 May 2019. Retrieved 24 May 2019.
  4. 1 2 Dorcus Murungi (30 July 2018). "UCU Faculty of Journalism to emphasise practical skills". Retrieved 24 May 2019.
  5. 1 2 Semakula, John (24 May 2019). "UCU Promotes Chibita To Full Professor". Retrieved 24 May 2019.
  6. "Monica Balya Chibita". INCHE | International Network for Christian Higher Education (in American English). Retrieved 2025-03-05.
  7. Anthony Wesaka (15 August 2013). "Who is Chibita, The New DPP?". Archived from the original on 24 May 2019. Retrieved 24 May 2019.
  8. Campus Bee (6 April 2016). "Meet the brilliant, enterprising Maria Chibita from UCU". Campus Bee Uganda. Retrieved 24 May 2019.
  9. World Vision (26 November 2015). "Dr. Monica Chibita joins the World Vision international board". World Vision. Retrieved 24 May 2019.
  10. Gunner, Liz; Ligaga, Dina; Moyo, Dumisani; Bosch, Tanja; Chibita, Monica B.; Coplan, David B. (2012). Radio in Africa: Publics, cultures, communities. Wits University Press. ISBN 978-1-86814-705-2.
  11. Gunner, Liz; Ligaga, Dina; Moyo, Dumisani; Bosch, Tanja; Chibita, Monica B.; Coplan, David B. (2012). Radio in Africa: Publics, cultures, communities. Wits University Press. ISBN 978-1-86814-705-2.
  12. Chibita, Monica B. (2009-05-01). "The politics of broadcasting, language policy and democracy in Uganda". Journal of African Media Studies (in Lungereza). 1 (2): 295–307. doi:10.1386/jams.1.2.295_1. ISSN 2040-199X.
  13. MONICA B. CHIBITA (2010-10-04). "Policing popular media in Africa". In Wasserman, Herman (ed.). Popular Media, Democracy and Development in Africa (in Lungereza). pp. 285–297. doi:10.4324/9780203843260. ISBN 9781136911613.
  14. Croucher, Stephen M.; Kelly, Stephanie; Rahmani, Diyako; Jackson, Kelsea; Galy-Badenas, Flora; Lando, Agnes; Chibita, Monica; Nyiranasbimana, Venantie; Turdubaeva, Elira; Eskiçorapçı, Nadirabegim; Condon, Shawn Michael; Stanalieva, Gulzada; Orunbekov, Bakyt (2019-07-03). "A multi-national validity analysis of the Personal Report of Communication Apprehension (PRCA-24)". Annals of the International Communication Association. 43 (3): 193–209. doi:10.1080/23808985.2019.1602783. ISSN 2380-8985. S2CID 150515836.
  15. Miller, Ann Neville; Nalugya, Evangeline; Gabolya, Charles; Lagot, Sarah; Mulwanya, Richard; Kiva, Joseph; Nabasaaka, Grace; Chibita, Monica (2016-11-01). "Ugandan adolescents' sources, interpretation and evaluation of sexual content in entertainment media programming". Sex Education. 16 (6): 707–720. doi:10.1080/14681811.2016.1217840. ISSN 1468-1811. S2CID 147878074.
  16. Fengler, Susanne; Bastian, Mariella; Brinkmann, Janis; Zappe, Anna Carina; Tatah, Veye; Andindilile, Michael; Assefa, Emrakeb; Chibita, Monica; Mbaine, Adolf; Obonyo, Levi; Quashigah, Timothy; Skleparis, Dimitris; Splendore, Sergio; Tadesse, Mathewos; Lengauer, Monika (2022-01-02). "Covering Migration—in Africa and Europe: Results from a Comparative Analysis of 11 Countries". Journalism Practice. 16 (1): 140–160. doi:10.1080/17512786.2020.1792333. ISSN 1751-2786. S2CID 225625310.
  17. Miller, Ann Neville; Gabolya, Charles; Mulwanya, Richard; Nabaseke, Grace; Kiva, Joseph; Nalugya, Evangeline; Lagot, Sarah; Chibita, Monica (2018-04-03). "The Relationship Between Parental Mediation of Adolescent Media Use and Ugandan Adolescents' Sexual Attitudes and Behavior". Howard Journal of Communications. 29 (2): 165–178. doi:10.1080/10646175.2017.1354788. ISSN 1064-6175. S2CID 149138522.
  18. Miller, Ann Neville; Nalugya, Evangeline; Gabolya, Charles; Lagot, Sarah; Mulwanya, Richard; Kiva, Joseph; Nabaasaka, Grace; Chibita, Monica (2016-04-02). "The association between Ugandan adolescents' viewing of specific television genres and sex-related normative beliefs and behaviours". Communicatio. 42 (2): 221–237. doi:10.1080/02500167.2016.1187187. ISSN 0250-0167. S2CID 147971452.
  19. Croucher, Stephen M.; Kelly, Stephanie; Rahmani, Diyako; Burkey, Mark; Subanaliev, Talgat; Galy-Badenas, Flora; Lando, Agnes Lucy; Chibita, Monica; Nyiransabimana, Venantie; Turdubaeva, Elira; Eskiçorapçı, Nadirabegim; Jackson, Kelsea (2020-01-02). "A multi-national validity analysis of the self-perceived communication competence scale". Journal of International and Intercultural Communication. 13 (1): 1–12. doi:10.1080/17513057.2019.1569250. ISSN 1751-3057. S2CID 150453280.

Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]