Jump to content

Moses Kamya

Bisangiddwa ku Wikipedia

Moses R Kamya,Munnayuganda omusawo , Munnabyanjigiriza, munoonyereza era omuddukanya mu by'ensoma, akola nga Pulofeesa era Ssentebe w'ekitongole ky'abusawo mu Makerere University School of Medicine, ekitundu ku Makerere University College of Health Sciences . [1] [2]

Obuto bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Kamya yakkirizibwa mu Makerere University School of Medicine mu 1980, n’atikkirwa mu 1985, n’afuna diguli esooka mu by’eddagala n'okulongoosa abantu . Mu 1988, yaddayo mu ttendekero lino okusoma pulogulaamu ya Diguli eyookubiri mu By'eddagala. Yatikkirwa mu 1991 n'afunadiguli eyokubiri mu byeddagala eya MMed in Internal Medicine . Era alina diguli eyookubiri endala eya Master of Public Health mu Epidemiology, gyeyaweebwa mu 1995, okuva mu Yunivasite y’eCalifornia, Berkeley School of Public Health . Diguli ye eyookusatu eya PhD mu Biomedical Sciences yagiggya mu Yunivasite y’eAntwerp mu 2007. [1]

Okunoonyereza n’okusomesa kwa Pulofeesa Kamya ku ndwadde ezisiigibwa kwatwala ebbanga eryasukka mu myaka 20. Okusingira ddala alina obwagazi obw'enjawulo ku nkolagana wakati w'omusujja gw'ensiri ne siriimu . Akola nga Pulofeesa era Ssentebe (Akulira) ekitongole ky’obusawo mu Makerere University College of Health Sciences. Era ye munoonyereza omukulu era omuddukanya ensonga mu kujjanjaba mukenenya mu ddwaaliro lya Mulago National Referral Hospital, eddwaaliro erisomerwamu ab'ayunivasite eno, ne mu ttendekero eririraanyewo erya Makerere University Infectious Diseases Institute . [1] [2]

Okunoonyereza kwe kukwata ku siriimu, omusujja, akafuba, endwadde z’obukaba . Atendeka abayizi b’obusawo n’abatuuze nga asinziira ku kunoonyereza ku ndwadde ezisiigibwa. Mu buvunaanyizibwa bwe obungi, era akola ng’omukozi w'ennongoosereza mu biragiro ebikwata ku bujjanjabi bwa Uganda antiretroviral therapy (ART). Era ye ssentebe w’akakiiko akaddukanya eddagala ly’abantu abakulu mu minisitule y’ebyobulamu mu Uganda . Afulumizza nnyo mu bitabo bya banne era akoze kinene mu kuwandiika e bitabo ebiwerako ebikwata ku nsonga eno, [1] [2]

Okunoonyereza kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Nga munnabyanjigiriza nga kw’otadde n’okuba omunoonyereza ku by’eddagala, yeetabye mu misomo gy'obunoonyereza nga ebirbaamu bifulumizibwa mu by'enjigiriza ebiweebwa ekitiibwa wamu n'ebiwandiiko ebikwata ku ssaayansi. Nga ku bino kuliko; Outcomes of cryptococcal meningitis in Uganda nga tewannabaawo n'oluvannyuma lw'okufuna eddagala eriweweeza ku siriimu erikola ennyo . Okunoonyereza kuno kwazuula nti okufa okunene okukwatagana n’obulwadde bwa cryptococcal meningitis kukyagenda mu maaso, wadde nga baweebwa eddagala lya amphotericin B n’obujjanjabi bwa siriimu. [3] Ensimbi ezisoboka ezisaasaanyizibwa mu kukebera antigen mu musaayi (serum cryptococcal antigen screening) okuziyiza okufa mu bantu abalina akawuka ka siriimu nga balina omuwendo gw’obutoffaali bwa CD4 + ≤100 cells/μL abatandika obujjanjabi bwa siriimu mu bifo ebitono eby’obugagga . [4] Okukebera n'okujjanjaba akawuka ka siriimu nga bakozesa enkola y'ebyobulamu mu bantu ba bulijjo mu Afrika . [5] Abateebereza okulemererwa kw'akawuka okumala ebbanga eddene mu baana n'abantu abakulu mu Uganda abajjanjabwa n'eddagala eriweweeza ku kawuka . [6] Omusujja gw’ensiri mu Uganda: okusoomoozebwa okusangibwa mu kukeewala mu lugendo lw'okukamalawo: I. Epidemiology and current control efforts . [7] Dihydroartemisinin–piperaquine okuziyiza Omusujja gw'ensiri. [8] Okuteebereza omuwendo gw'okugema obuwuka buli mwaka obwa Plasmodium falciparum ezisiigibwa Anopheles gambiae sl nga tukozesa enkola ssatu ez'okutwala sampo mu bifo bisatu mu Uganda. Okunoonyereza kuno kwamaliriza kugamba nti okutega ensiri ku mataala kiwa enkola endala ey’okutwala sampo z’ensiri ezibeera mu mayumba munda okusinga ku nsiri ezikwatibwa mu ngeri eyo girina enkizo nti gikuuma abantu ssekinnoomu obutalumwa nga bakungaanya, gyangu okukozesa era tegikwatibwako kusosola mu bakungaanya. [9] Enkyukakyuka mu bungi bw'abayinza okuba abatabaganya abaziyiza Aminoquinoline, Antifolate, ne Artemisinin Mu Uganda yonna . [10] Novel serologic biomarkers ziwa okubalirira okutuufu okw’okukwatibwa Plasmodium falciparum gye buvuddeko eri abantu ssekinnoomu n’ebitundu. [11] Ensonga ezisalawo obutafaanagana bw’obungi bw’omusujja gw’ensiri mu baana mu Kampala, Uganda. [12] Artemether-Lumefantrine okusinziira ku Dihydroartemisinin-Piperaquine okujjanjaba omusujja: Okugezesebwa okutali kwa bulijjo. [13] COVID-19: Okumasamasa ekitangaala ku Africa. [14] Ensonda z’okusaasaana kw’omusujja okutambula obutasalako mu mbeera erimu okulwanyisa omusujja omulungi mu buvanjuba bwa Uganda: okunoonyereza okw’ekibinja okumala ebbanga eddene, okwetegereza.[15] n'okusiiga Malaria wamu n'ebifo ebisatu ebisinga okubeeramu obulwaddemu Uganda: ebyava mu kwewala malaria control. [16]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]