Jump to content

Moses Muhangi

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Moses Muhangi akulira omuzannyo gwebikonde mu Uganda

Moses Muhangi munna Uganda eyaliko omuzannyi w'ebikonde eby'ensimbi, musuubuzi era nga ye pulezidenti w’ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw'ebikonde mu Uganda ki Uganda Boxing Federation .[1] Muhangi era atuula ku lukiiko olutaba ebibiina ebiddukanya omuzannyo gw'ebikonde ku lukalu lwa Afirika olwa Africa Boxing Confederation.[2] Mu kibiina ekiddukanya ebikonde mu nsi yonna ki International Boxing Association (AIBA) atuula ku bukiiko obwenjawulo okuli akavunaanyizibwa ku kulondoola eby'okulonda, kwossa nako akavunaanyizibwa kukutunda n'okwagazisa abantu omuzannyo gwebikonde. [3]

Muhangi yamala emyaka 10 ngazannya ebikonde yawanguula n'omudaali mu mpaka z'abakyayiga zi National Open Amateur Boxing. Ono era yenyigira ne mu bizinensi y'okusuubula n'okutunda ettaka n'amayumba era nga yaddukanya n'essomero lya Gong Records, eritendeka DJ.

Ekibiina ekifuga ebikonde mu Uganda

[kyusa | kolera mu edit source]

Muhangi yalondebwa nga pulezidenti wa Uganda Boxing Federation ku ntandikwa ya 2018.[4] Okulondebwa kwa Muhangi kwawakanyibwa Kenneth Gimugu Muhangi gweyaddira mu bigere era natwala okusaba mu kkooti enkulu nga ayagala okulonda kusazibwemu kyokka Omulamuzi wa kkooti enkulu Lady Justice Lydia Mugambe mu nsala gyeyawa nga 2 March 2018 yakakasa nti Muhangi yali alondeddwa mu butuufu era namukakasa kubwa pulezidenti.[5] [6][7]Kyokka yadde kooti yakakasa Muhangi, kiraabu z’ebikonde nga Mutajjazi Boxing Club zaasigala zeemulugunya kubukulembeze bwe yadde nga ate kiraabu eno mu kujja yali emuwadde obuwagizieyali ku kifo kino.[8]

Mu myezi gye egyasooka mu ofiisi, Muhangi yaleeta enteekateeka ye gyeyesigamya ku miramwa emikulu etaano omwali okuwa embalirira n'ensasaanya; okuzimba ebitongole n'emirandira; Obwerufu; Okukwasisa empisa; kwossa n'okusaawo enkola esobozesa abazannyi okutendekerwako awalala wamu nabo abava mu mawanga amalala okujja e Uganda era nga emiramwa gino gyakyuusa nnyo ekibiina ekifuga omuzannyo gwebikonde.[9][10] Mu bukulembeze bwa Muhangi abakubi b'ebikonde abawandiise baava ku 110 okutuuka ku 481 era namasomero agavuganya ku mpaka z’ebikonde ne geeyongera okuva ku 10 okutuuka ku 27.[11][12] [13]

Muhangi azze yemulugunya eri Minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo ng’ayagala ssente z’embalirira y’ebyemizannyo zigabanyizibwe mu bwenkanya nga awakanya ekya FUFA okuweebwa nga omutemwa ogusinga obunene. Okugeza yawa ekyokulabirako ekyembalirira y'omwaka gw'ebyensimbi 2019/2020 FUFA kweyaweebwa siringi obuwumbi 10 ku mbalirira y’ebyemizannyo ey’obuwumbi 17 n’obukadde 400, olwo ebibiina ebirala ebitaba emizannyo emirala nebirekerwa okugabana obuwumbi buna bwokka anti obuwumbi busatu ne bwagenda mu kakiiko akavunaanyizibwa ku mizannyo aka National Council of Sports.[14]

Yazaalibwa nga 5 Ogwekuminogumu 1990, e Mulago mu kibuga Kampala nga bazadde be ye Mwami John Patrick Kapere n'omukyala Nakawuka Florence. Era Muhangu ye mwana asooka ku baana 7 .

Yasomera Uganda Martyrs Primary school e Mbarara, Kibuli Secondary School kumutendera ogusookerwako mu siniya, gyeyava okwegatta ku Kitante Hill School okusoma omutendera ogwawaggulu mu siniya. Yunivasite yajisomera Makerere gye yasoma diguli mu byebibalo.

Muhangi alina Dipulooma mu mateeka okuva ku Law Development Center, saatifikeeti ya international Technical Officer for Football Boxing (IBA- international boxing association) ne Satifikeeti mu byobufuzi okuva mu Kyankwanzi National training institute for the military and Political Science.[15][16]

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1474456/boxing-president-muhangi-vows-uplift-standards
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2019-09-07. Retrieved 2025-05-14.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://d152tffy3gbaeg.cloudfront.net/2018/11/Election-Bulletin-V5-2.pdf
  4. https://kawowo.com/2018/01/30/new-uganda-boxing-federation-executive-vows-uplift-standards-preaches-unity/
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2019-07-02. Retrieved 2025-05-14.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1472356/boxing-boss-muhangi-court-approval
  7. https://www.ntv.co.ug/news/sports/BOXING--Federation-boss-lays-out-plans-for-new-national-team/4522368-4913516-mdi9e4z/index.html
  8. "Archive copy". Archived from the original on 2019-07-08. Retrieved 2025-05-14.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  9. "Archive copy". Archived from the original on 2019-07-02. Retrieved 2025-05-14.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  10. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1470217/uganda-boxing-boss-muhangi-unveils-programme
  11. https://kawowo.com/2018/02/04/could-muhangi-be-the-biblical-moses-ugandan-boxing-has-been-waiting-for/
  12. "Archive copy". Archived from the original on 2022-08-31. Retrieved 2025-05-14.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  13. https://kawowo.com/2019/03/26/muhangi-revived-schools-boxing-championship-is-good-for-the-future/
  14. https://www.monitor.co.ug/Magazines/Score/Muhangi-vs-Fufa-Good-battle-but/689854-4995210-3k5k4/index.html
  15. https://www.youtube.com/watch?v=y6pBKIjCA_k
  16. https://www.watchdoguganda.com/sports/20200212/87341/profile-meet-moses-muhangi-a-youthful-businessman-giving-face-to-ugandas-boxing-sport.html