Mpologoma Clan

Ekika ky'e Mpologoma kiri mu bika ebiri mu bwakabaka bwa Buganda eya leero ebikkirizibwa okuba nga byajja ne kabaka Kintu [1]. Mpologoma kigambo mu Luganda ekitegeeza empologoma . Buli muganda alina ekika mwava nga kino kirina kuba kika kya taata we, nga buli kimu kirina omuziro[2] n'akabbiro bye batakkirizibwa kulya era emiziro gino gikuumibwa ng'akalira k'omwana. Kabaka wa Buganda era amanyiddwa nga "Mpologoma ya Buganda " [3]
Entandikwa y'ekika ky'empologoma
[kyusa | kolera mu edit source]Ekika kyatandika, Kabaka kintu bweyali mu lubiri lwe olw'e Lwadda empologoma neziwulugumira ku kasozi Kasalirwe akali okumpi n'akasozi Lwadda e Matugga mu ssaza ly'e Kyaddondo mu disitulikiti y'e Wakiso[4] leero mu Uganda. Abantu baali bawangaalira mu kutya olw'ensolo zino enkambwe era ne kabak kintu kkyamwenyamizanga .Kabaka Kintu bweyawulira okuwuluguma kwempologoma, yatumya mutabani omukulu ssebuganda eyali omuzizi w'ensolo kungwa agende azige empologoma ezo.
Bweyali agenda okusisinkana kitaawe eyali amuyise, Ssebuganda yayitira ku lubiri lwa kitaawe olw'e Kanyanya nanonayo nnyina eyali eyali olubuto ne bagenda bonna mu lubiri e Lwadda gye yasisinkanira Kabaka kintu .
Kigambibwa nti ne Kabaka Kintu omuyiggo yagwenyigiramu. Bwebaatuuka ku kyalo Nasse ku kasozi Kasalirwe omuyiggo kwe gwayindira , baatandika okusaggula n'okugoba enspolo zino era ensolo eyasooka okufubutuka okubalumba ,nga yonna esitudde ekikuzzi kyayo yali mpologoma nsajja era Ssebuganda naagiwuula omuggo gumu n'egwa wansi n'efa.Ng'amaze okutta eyo, nempologoma enkazi nayo yabalumba era nayo naagikuba omuggo neefa.
Kabaka kintu yamuleka ku ttale ng'abaaga empologoma naddayo mu lubiri. Bweyatuuka mu lubiri, yasanga mukyalawe akubyewo ezadde lya balongo.
Bwatyo kabaka Kintu yatuma mukodomi we Kawuuzumo era gweyali afudde omumbowa mu lubiri agende ku ttale mutabani we Ssebuganda gyeyali abaagira empologoma amutegeeze nga nnyina bweyali azadde abalongo nti era amuleetere ne ku nnyama y'empologoma n'omuggo gweyakozesa okutta empologoma.Ng'amaze okubaaga empologoma Ssebuganda nga bweyalagirwa kitaawe yakwata emu kunnyama n'omuggo gweyakozesa okutta empologoma naayolekera mu lubiri. Yasanga Kabaka Kintu ali mu lukiiko era naamuwa omuggo gweyattisa empologoma.Kabaka kintu olwamuwa omuggo yagukwata naagutunuulira n'amala naguteeka wansi.Ate naagujja wansi naddamu naagutunuulira era naaguzza wansi ..Yakola bwatyo emirundi egiwera era omulundi ogwasembayo yagukwta naddamu naagutunuulira nga bwagamba nti "wamma guno ssi muggo buggo, luwagga".
Ennyama y'empologoma gye yaleeta yafumbibwa, emu neeyokyebwa okuliibwa abantu abaali mu lukiiko ..Ssebuganda naye yatwalako ennyama ewuwe era emu neefumbibwa okuba eye'ekyeggulo ekiro ekyo n'emu neeyokyebwa. Ekyegulo nga kiyidde, batuula wansi nebeebaza jajja Ddungu[5] lubaale w'okuyigga mu Buganda ne balya. Oluvannyuma lw'okulya ku nnyama y'empologoma, abantu bonna mu lubiri lwa kabaka Kintu n'ewa Ssebuganda abaalya ku nnyama y'empologoma baafuna okukyankalana omwali embiro, okulumwa embuto era baasesema nnyo. Enkeera, kabaka Kintu yatuma omumbowawe Kawuuzuumo agende ategeeze mutabani we Ssebuganda Ssebuganda ku kukyankalana kwe baafuna n'ebizibu ebyabatuukako oluvannyuma lwokulya ennyama y'empologoma n'era amutegeeze nti omuggo gweyakozesa okutta empologome n'entebe gye yamusanga atuddemu ng'amuleetedde omuggo byali bifuuse amayinja. Mu ngeri y'emu Ssebuganda kyu makya okwo yasindika omubaka ategeeze kitaawe ekyali kimutuuseeko n'abeewuwe mu kiro bwe baalya ku nnyama y'empologoma, naye ababaka bano bombi baakozesa amakubo ganjawulo. Omumbowa Kawuuzuumo bweyatuuka ewa Ssebuganda nakitegeera nti n'ewa Ssebuganda baali bafunnye obuzibu bwe bumu oluvannyuma lw'okulya ku nnyama y'empologoma ng'abaali mu lubiri lwa Kabaka Kintu, teyeebuuza ku muntu yenna naye yakunganya bukunganya nnyama yonna eyali esigaddewo ewa Ssebuganda neyo eyali ku kyoto ku misito ng'eyokebwa nagenda nayo mu lubiri.Nera yakunganya ennyama yonna eyali esigaddewo mu lubiri obutaleka kifi kyonna mabega ,naagitwala yonna naagisuula mu mugga Nakiduduma.
Bweyalaba ekyali kimutuuseeko n'abantu be abaalya ku nnyama y'empologoma era ne bweyawulira ekyali kituuse ku ku bantu ewa mutabaniwe abaalya ku nnyama y'empologoma ,yalangirira ye kennyini ,abaana be n'abazukkulu obutaddamu kulya nnyama ya mpologoma ekyavaako ekika ky'empologoma okutandika. N'era kyakkirizibwa nti singa balya ennya\ma y'empologoma nate ,bandifuna okukyankalana okusingawo bwogeraageranya ne kwebaafuna[6][7].
Abeddira empologoma ebiseera ebimu bayitibwa balangira na bambejja kubanga ekika kyabwe kyava mu mutabani wa kabaka Kintu omukulu ate nga kabaka azaala balangira na bambejja .
Amasiga agakola ekika ky'empologoma
[kyusa | kolera mu edit source]Nga mu bika byonna ebya Buganda, ne mu kika ky'empologpoma bwova ku Ssebuganda Namuguzi omukulu w'ekika ku ntikko ng'odda wansi mu nsengeka y'ekika, kirina amasiga abiri mu munaana ( bwova ku w'akasolya ) era okusinzira ku buwangwa n'enonno za Buganda mu bika byonna ab'amasiga bano beebaba baali abaana ba jajja omukulu w'ekika ekyo eyasooka.Mu bika ebisinga ebya Buganda, obukulembeze mu masiga gano bwa nsikirano. Gano ge masiga abiri mwomwenda ag'ekika ky'empologoma wansi w'omukulu w'ekika Ssebuganda Namuguzi
- Tebwakedde
- Nnyalwa e Bbanda mu ssaza Buddu ( Mu disitulikiti y'e Masaka ennene eyawamu )
- Kiyuuka e Birongo mu ssaza Buddu ( Mu disoitulikiti y'e Masaka ennene eyawamu )
- Kimaka
- Masengere
- Lumeeme
- Mubbi Walutta e Bugiri Kkojja mu ssaza Kyaggwe ( Mu disitulikiti y'e Mukono )
- Katajjwa e Mitondo mu ssaza Buddu ( Mu disitulikiti y'e Masaka ennene eyawamu )
- Wassaggo e Lwadda mu ssaza Kyaddondo ( Mu disitulikiti y'e Wakiso )
- Ssembiro e Kkulambiro mu ssaza Kyaddondo ( Mu disitulikiti y'e Wakiso )
- Kirubaale e Ziroobwe mu ssaza Bulemeezi ( Mu disitulikiti y'e Luweero )
- Luguma
- Kabengwa e Bubengwa mu ssaza ly'e Bulemeezi ( Mu disitulikiti y'e Luweero )
- Kawemula e Buwemula mu ssaza ly'e Ggomba ( Mu disitulikiti y'e Ggomba )
- Kannajje e Kijujjusa mu ssaza ly'e Buddu ( Mu disitulikiti y'e Masaka ennene eyawamu )
- Ssegamwenge e Lwadda mu ssaza ly'e Kyaddondo ( Mu disitulikiti y'e Wakiso )
- Kasendwa e Kajuna mu ssaza ly'e Buddu ( Mu disitulikiti y'e Masaka ennene eyawamu )
- Lubanjwa e Lusiriba mu ssaza Mawokota (Mu disitulikiti y'e Mpigi)
- Makaayi e Namboole mu ssaza ly'e Kyaddondo ( Mu disitulikiti y'e Wakiso )
- Mpuuta Kakadde e Mpuku mu ssaza ly'e Kyaggwe ( Mu disitulikiti y'e Mukono )
- Ggolooba
- Lule e Mpaffe mu ssaza Mawokota ( Mu disitulikiti y'e Mpigi )
- Ssagala at Butenzi mu ssaza ly'e Buddu (Mu disoitulikiti y'e Masaka ennene eyawamu)
- Kyalongo
- Kkukumba e Kibindu mu ssaza ly'e Buddu (Mu disitulikiti y'e Masaka ennene eyawamu)
- Ggonjaagabwe
- Lubyayi e Kasaka mu ssaza ly'e Buddu (Mu disitulikiti y'e Masaka ennene eyawamu)
- Mululu e Kasumba Kasalirwe Kyaddondo ( mu disitulikiti y'e Wakiso)
- Kiroomu e Katalemwa mu ssaza ly'e Kyaddondo ( mu disitulikiti y'e Wakiso)
Amannya g’ekika
[kyusa | kolera mu edit source]Agamu ku mannya agatuumibwa mu kika ky'empologoma kuliko gano wammanga [8]
Amannya agatuumibwa abaana 'abalenzi
- Ggenza
- Jjuuko
- Kalema
- Kasagga
- Kasalirwe
- Kayemba
- Kayondo
- Kimbugwe
- Kiyimba
- Kisekka
- Kitowoolo
- Lubuulwa
- Luwaga
- Luwemba
- Makaayi
- Mululu
- Ntale
- Ssebuwufu
- Ssembwa
- Sserwadda
- Ssuuna
Amannya agatuumibwa abaana abawala
- Nabadda
- Nabisere
- Nabuwufu
- Naggenza
- Najjuuko
- Nakalema
- Nakasagga
- Nakayondo
- Nakibuule
- Nakimbugwe
- Nakisozi
- Nakitowoolo
- Nakisekka
- Nakiyimba
- Naluwaga
- Nalwadda
- Namazzi
- Nantale
- Nassiwa
- Nassolol
- Nassuuna
Obubaka obukwata ku kika.
[kyusa | kolera mu edit source]| Ekika | Obubaka |
|---|---|
| Omuziro | Mpologoma |
| Akabbiro | Ngo |
| Obutaka bw'ekika | Lwadda, Kyaddondo |
| Omubaka w'omukulu w'ekika e Bungereza | Margaret D Ntale, omuwandiisi w’ebitabo |
| Omukulu w'ekika (Omukulu ow'akasolya) | Ssebuganda Namuguzi |
| Omubala gw'ekika | Ssebuganda Namuguzi Omutaka ffe Lwadda kyagaba tasaba tasaaga.
Ssebuganda Namuguzi Omutaka ffe Lwadda bwaba anatabaala asaabira ku kyoto. Ssebuganda Namuguzi Omutaka ffe Lwadda akaabira Kasagga. Ssebuganda Namuguzi Omutaka ffe Lwadda atambula masajja. Ggwe mpagi gwe Luwaga. [9] |
| Omukulu w'ekika aliko okuva mu mwezi ogwomunaana 2024 | Erukaana Lukanga |
Agamu ku mannya g'ekika ky'empologoma n'ebigambo n'ensibuko yaago
[kyusa | kolera mu edit source]- Namuguzi
Erinnya Namuguzi lyatandikira ku Ssegamwenge, mutabani wa Ssebuganda eyawerekera omulangira Kalemeera okugenda e Bunyoro okukola .Ssegamwenge e Bunyoro yasuubulayo enkumbi nnyingi zeyaleeta naaziguza Abaganda ekyaviiraako okumutuuma Namuguzi nga bakiggya mu kigambo ky'oluganda okugula okutegeeza oyo agula enkumbi naaziguza Abaganda
Oluyimba lw'ekika ky'empologoma ( Mpologoma clan Anthem)
[kyusa | kolera mu edit source]
Empologoma ye ffe, ffe mpologoma
Ensolo zonna zitya empologoma
Ffe bazzukulu ba Ssebuganda Namuguzi
e Lwadda mu Kyaddondo gyali..
Omutanda atumanyi ffe ab'empologoma
era kitwesimisa bwobeera gwe?
Wulira omubala ogwaffe gwogera
"Ssebuganda Namuguzi kyagaba, tasaaga
omutaka Ssebuganda Namuguzi atambula masajja
bwaba anaatabaala asaabira ku kyoto.
Ssebuganda Namuguzi omutaka w'e Lwadda
akaabira Kasagga. Gwe mpagi gwe luwaga....gwe mpagi gwe luwaga""
Empologoma akabbiro y'engo
n'amasiga agaffe gali abiri mu munaana\
Omutaka Kireega ye katikkiro w'empologoma,
n'obwa Kireega bwa nsikirano
Ssegamwenge y'oyo ow'essiga
jajja Namuguzi mwava
alamula empologoma .
Wullira omubala ogwaffe gwogera
"Ssebuganda Namuguzi kyagaba ,tasaaga
omutaka Ssebuganda Namuguzi atambula masajja
bwaba anaatabaala asaabira ku kyoto....
Ssebuganda Namuguzi omutaka w'e Lwadda
akaabira Kasagga....
Gwe mpagi gwe luwagaa...
Gwe mpagi... gwe luwagaa.....""
Katajjwa, oyo wa ssiga, yaakomaga
olubugo olusumikirwa omutanda....
Lubyayi, mu Buddu eri e Kasaka
yakomaga olwa Nnaalinya lubuga....
Ab'empologoma kukola na kunnyweza
butaka ,e Lwadda jajja Namuguzi
gyali alinze.
Okuleega mujaguzo ogwo gwaffe,
era bwe bumu ku buweereza bwaffe
eri Kabaka.
Twenyumiriza okuleega
engoma zino mujaguzo
tetuva ku lusegere lw'omutanda...
Kale nno mujaguzo bwezivuga,
omutima ogwaffe gubuuka ffe ng'abempologoma.
Wulira omubala ogwaffe gwogera
"Ssebuganda Namuguzi kyagaba ,tasaaga
omutaka Ssebuganda Namuguzi atambula masajja
bwaba anaatabaala asaabira ku kyoto....
Ssebuganda Namuguzi omutaka w'e Lwadda
akaabira Kasagga....
Gwe mpagi gwe luwaga....
gwe mpagi gwe luwaga""
Empologoma kika kya kitiibwa
jajja Namuhuzi amuzaala
ye Kabaka Kintu
Ffe ab'empologoma
tuli bambejja n'abalangira abasibuka
mu kabaka Kintu.
Kino ekika kyaffe bakyegomba kuba
kya ttutumu, kwogatta ebyafaayo
lutotto
Empologoma nga ya kitiibwa
emanyi okweyiggira erina amanyi..
Bwendayira nnyinimu
kitegeeza mweri empologoma
twesiimye abeddira empologoma
Katonda jajjaffe amukuume
jajja Namuguzi, Obuganda
ne Mutaddwamu.
Wulira omubala ogwaffe gwogera
"Ssebuganda Namuguzi kyagaba ,tasaaga
omutaka Ssebuganda Namuguzi atambula masajja
bwaba anaatabaala asaabira ku kyoto....
Ssebuganda Namuguzi omutaka w'e Lwadda
akaabira Kasagga....
Gwe mpagi gwe luwaga....
gwe mpagi gwe luwaga ""
Emirimu gy'ekika ky'empologoma mu bwakabaka bwa Buganda
[kyusa | kolera mu edit source]- Ab'ekika ky'empologoma beebavunaanyizibwa ku kuleega engoma za mujaguzo mu bwakabaka bwa Buganda era omulimu guno gukulemberwamu omutaka mu kika ky'empologpoma ayitibwa Kasumba Kireega owokukasozi Kasalirwe era ngono nera ye katikkiro w'omukulu wekika era nga obuvunaanyizibwa buno bwa nsikirano.
- Ssebuganda Namuguzi omukulu w'ekika ky'empologoma yasooka okutema evvuunike wonna kabaka wabeera asiimye okukuba olubiri lwe..
- Ab'empologoma beebakomaga embugo za Kabaka n'abambejja
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa[10]
[kyusa | kolera mu edit source]- [11][12]"TOTEM Definition & Meaning | Dictionary.com". www.dictionary.com. Retrieved 2026-01-21.
- Makanga, Samuel (2015-06-24). "Mpologoma, more to the lion i thought i knew – Uganda safari news". Prime Uganda Safaris (in American English). Retrieved 2024-01-25.
- "Mpologoma History". www.obutaka.com. Archived from the original on 2024-01-24. Retrieved 2024-01-24.
- "Lion/ Mpologoma clan". Lion/ Mpologoma clan. Retrieved 2024-01-24.
- "Mpologoma". www.obutaka.com. Retrieved 2024-01-26.
- https://www.newvision.co.ug/category/amawulire/omukulu-wekika-kyempologoma-omuggya-ayanjuddw-BUK_150781
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/tracing-the-historic-journey-of-kabaka-s-coronation-5138976#story
- ↑ https://www.bugandauk.com/en/component/content/article/clans-of-buganda?catid=37&Itemid=395
- ↑ Makanga, Samuel (2015-06-24). "Mpologoma, more to the lion i thought i knew – Uganda safari news". Prime Uganda Safaris (in American English). Retrieved 2024-01-25.
- ↑ https://wakiso.go.ug/about-us/
- ↑ https://www.youtube.com/watch?v=T7jZq1KPFos
- ↑ "Mpologoma History". www.obutaka.com. Archived from the original on 2024-01-24. Retrieved 2024-01-24.
- ↑ Makanga, Samuel (2015-06-24). "Mpologoma, more to the lion i thought i knew – Uganda safari news". Prime Uganda Safaris (in American English). Retrieved 2024-01-25.
- ↑ https://www.bugandauk.com/en/component/content/article/clans-of-buganda?catid=37&Itemid=395
- ↑ https://www.bugandauk.com/en/component/content/article/clans-of-buganda?catid=37&Itemid=395
- ↑ https://www.newvision.co.ug/category/amawulire/omukulu-wekika-kyempologoma-omuggya-ayanjuddw-BUK_150781
- ↑ https://www.newvision.co.ug/category/amawulire/omukulu-wekika-kyempologoma-omuggya-ayanjuddw-BUK_150781
- ↑ https://www.youtube.com/watch?v=7BWQNjBY0b4&list=RD7BWQNjBY0b4&start_radio=1