Muddugavukwefaako(Blafricanism)
"Muddugavukwefaako"(Blafricanism) ndowooza ey'awamu eyetaagisa mu baddugavu bonna we bali, naddala abaddugavu abali mu Afirika, okwenyigira mu kawefube w'okwetaggulula ku buyivuwavu obw'esigamye ku nnimi engwira nga Olungerza, Olufalansa, Oluwalabu, olukyayina, n'endala mu kusomesa n'okuyiga okwa sayansi.Muddugavukwefaako ndowooza eteeka essira okukulaakulanya ennimi zaffe za kinnansi mu magezi aga sayansi n'ekibalangulo(essoamkubala), okunoonyereza okwa sayansi awamu ne tekinologiya.
Muddugavukwefaako ndowooza etategeeza nti ennimi engwiira tuziviireko ddala, wabula tukozese ennimi zaffe enzaaliranwa n'ezo engwira mu kusomesa, okuyiga n'okunoonyewreza okwa sayansi.Kino kyetaagisa kawefube okukulaakulanya ennini zaffe enzaaaliranwa okufuuka ennimni eza sayansi.
"Muddugavukwefaako" ye ayidologiya oba endowooza eyawamu , okusinziira ku Munnabyabufuna (Political economist) Muwanga Charles, eyetaagibwa okusoosowaza buli muddugavu ali mu Afirika okusobola okweyubula mu magezi aga sayansi. Muwanga agamba nti endowooza eyawamu eya "Muddugavukwefaako yekuusiza ku bwetaavu bwa kukunga baddugavu okukimanya nti balina "obusobozi bw'omulengera" (mental faculty) bwe bumu n'abazungu lwa kuba abaddugavu:
(i) besaasira nnyo n'okwekubagiza olw'ebikolobero ebizze bibabatuusibwako mu byafaayo era ne balobera mu kwekubagiza mu kifo ky'okugenda mu maaso.
(ii) tebaagala kutawaanya bwongo bwabwe , so ng'ate okusomooza obwongo nga twefumiitiriza ku butonde kye kivaamu okuvumbula okwa sayansi.Omudfdugavu Obutayagala kutawaanya bwongo bwe, okirabira ku butayagala kusoma bitabo ku bintu bya njawulo okujjako nga basoma lwa kuyita bigezo.Tebatera kukubaganya birowoozo ku miramwa gya sayansi nga bwe bakikola ku byobufuzi n'ebyokusamira.
(iii)baagala nnyo ebikolerere n'okwegyalabya mu kifo ky'okuteeka ebiseera n'ensimbi mu kuyiiya n'okuvumbula.
(iv) Tebaagala kuva kw'ekyo ekibaddewo okuva edda n'edda yadde ebivumbuddwa mu sayansi bikiwakanya
(vi) Bavumirira era ne bavuvuba abo ababa bavuddeyo n'endowooza empya ku butonde era baggulumiza nnyo endowooza za bajjajja abaaliwo mu mirembe egitaali gya sayansi nga buli kirwadde ekitamanyiddwa kikireeta okukiyita eddogo mu kifo ky'okukola kaweefube okunoonyereza ku kikireeta bakifunire eddagala.
(vii) Tebafaayo kunonooza bya magezi na buyiiya abo bakagezimunyu baffe abedda bye baavumbula n'okukola mu bisera byabwe eby'obulamu wabula badda mu kumala biseera nga babasamirira nga babayita balubaale.
(viii) Obutonde obubasukkulumyeko mu kumanya kwabwe batandika kubusinza nga amageege , emiti, n'ensozi ebyakula ne biwola. Omuzungu ye buli ekimusukkulumyeko mu kutegeera kwe ye takisamirira wabula ekikolako okunoonyereza okwa sayansi asobole okuzuula amateeka ga sayansi agali emabega waakyo.
(ix) Baagala nnyo ekyo ekyawamu (collectivism) okusinga kawefube n'okuyiiya okuva eri muntu kinnoomu(individualism) so ngaate baalugera nti ebyabasatu/ eby'abangi bisattuka.Bw'okola okuvumbula ekipya nga okinoonyerezzaako wekka bakubuuza lwaki wakivumbudde nga oli wekka so ng'ate by'ovumbudde bigenda kugasa bonna, abaana n'abazzukulu.
(x) bagattika eby'obuwangwa n'emize egiteesigamye ku sayansi nga okusaddaaka abantu, okutwala abalwadde b'obuwuka obusirikitu(micro organisms) nga ekilwadde ky'ettalo ku ndagu eziteesigamya nzijanjaba ku magezi ga sayansi, okunoonya obugagga mu mmandwa mu kifo ky'okukola okwejja mu bwavu.
(xi) Okukuliriza n'okusooosowaza enjawukana z'amawanga n'amadiini mu kifo ky'okwenyigira mu kawefube w'eby'enjigiriza, ebyokwerinda, ebyenfuna , awamu sayansi ne tekinologiya ebiyamba bonna awatali kuiva ku buwangwa na ddiini.