Jump to content

Mugoyo

Bisangiddwa ku Wikipedia

OMugoyo mmere ya kinnansi enkulu mu Uganda . Gugabulibwa mu bitundu ebisinga obungi mu Uganda era guyitibwai ekitabuddwa. Ebirungo ebikulu mu mmere eno ye Lumonde n'ebijanjaalo .

Omugoyo gumanyiddwa nnyo mu bitundu ebimu mu Uganda. Abateeso baguyita “Emugoyo”, Abasoga baguyita “Omugoyo” ate Abaganda baguyita Mugoyo oba Omugoyo ekitegeeza nti kitabuddwa.

Mu Busoga, Omugoyo guyinza okuba n’amakulu mu buwangwa nga Lumonde bwali emu ku mmere esinga okwettanirwa mu kitundu kino. emanyikiddwa ng'emmere enkulu.

Mu Busoga ne mu Buganda, omugoyo gwettanirwa nnyo abakyala abakaddiye kubanga kiteeberezebwa nti abakyala abakadde bokka be balina obugumiikiriza okuguteekateeka olw’enkola y’okugutegeka erwaawo.`

Ekisinga okugereesebwa ku Mugoyo mu Buganda kiri nti abaagalana ababiri tebalina kugwegabula. Kiteeberezebwa nti ekikolwa ng’ekyo kisobola okuzikiza omukwano gwabwe era kiyinza n’okuviirako omukwano okusaanawo. [1]

Enkola z’okuteekateeka

[kyusa | kolera mu edit source]

Ekuteekateeka Omugoyo kubaamu ebijanjaalo ebimyufu ebya Nambaale ne Lumonde.[2]

Enkola y’okufumba

[kyusa | kolera mu edit source]

Enkola y’okufumba etandikira n'okufumba ebijanjaalo ebikalu ebya Nambaale n’omunnyo okutuusa nga bigonze. Olwo Lumonde owa kakobe awaatibwa n'asaaniikibwa mu ndagala okutuusa lw'agonda. Oluvannyuma ebijanjaalo ne Lumonde bisottebwa wamu okukola emmere eno. [3]

Omugoyo guteekebwateekebwa ku kyoto ky'enku ng’omukka oguva mu nku gwongera obuwoomi obw’amaanyi mu Mugoyo mu kiseera ky’okufumba ekimanyiddwa ng'okuboobeeza. Mugoyo gusobola okugabula ne kaawa oba caayi ku ky’enkya. Omuntu asooka kugukalirira mu ndagala ku ssigiri y'abaganda ey’ekinnansi emanyiddwa n'ekyoto .

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. http://www.monitor.co.ug/artsculture/Dining---Recipes/The-marriage-of-sweet-potatoes-and-beans/-/691226/1464848/-/4ksq8bz/-/index.html
  2. http://www.monitor.co.ug/artsculture/Dining---Recipes/The-marriage-of-sweet-potatoes-and-beans/-/691226/1464848/-/4ksq8bz/-/index.html
  3. http://www.monitor.co.ug/artsculture/Dining---Recipes/The-marriage-of-sweet-potatoes-and-beans/-/691226/1464848/-/4ksq8bz/-/index.html