Jump to content

Muhammad Kirumira

Bisangiddwa ku Wikipedia

Muhammad Kirumira (Gwokutaano 20, 1983 – Gwomwenda 8, 2018) yali Munnayuganda omuduumizi wa poliisi omukulu, omusomesa omutendeke, [1] era nga mulwanirizi w’eddembe ly’obuntu, nga yattibwa amangu ddala nga amaze okulangirira mu lujjudde nti yali ava mu Poliisi ya Uganda olw’okukozesa obuyinza mu ngeri emenya amateeka okwali kususse. Mu 2017, yegaana emisango egyamuggulwako olw’ebigambibwa nti yali yeenyigira mu kutumbula enguzi, oluvannyuma ekyazuulibwa nti byali bya bulimba era bw’atyo n’asuubiza okwesasuza. [2] We yafiira, yali alangiridde okuvuganya ku kifo ky'ebyobufuzi ekitaamanyika mu kulonda kwa bonna okwa 2021.

Obulamu bwe n’obuvunaanyizibwa bwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Kirumira yazaalibwa mu Gwokutaano 20, 1983, nga bazadde be ye Hajji Abubaker Kawooya ne Sarah Namuddu. Yatikkirwa diguli esooka mu busomesa gye yayitira mu ddaala erisooka mu yunivasite y’eKyambogo . Ku myaka 22 mu Gwolubereberye 29, 2005, yayingira Poliisi. [3] Kyokka mu bbanga ttono yazzibwayo mu Kabalye Training School – Masindi okwongera okutendekebwa. Mu 2007, yasindikibwa mu Disitulikiti y’eKibaale ng’omuserikale ate mu 2008 n’asindikibwa mu Kampala nga mbega. Oluvanyuma lw’obutategeeragana ne bakama baabwe mu kiseera ekyo, yagenda mu Disitulikiti y’eKaliro mu 2009, naye nga mbega ku poliisi z’omu bitundu. Oluvannyuma yakuzibwa n’afuulibwa omumyuka w’omukulu w'okunoonyereza mu poliisi n’addayo okutendekebwa mu ttendekero lya Uganda Junior Staff College okumala emyezi mukaaga. Ku kumaliriza, mu 2015, yafuuka omunoonyereza wa poliisi . Nga wayise omwaka gumu (2016), yafuuka Assistant Superintendent of Police nga kwotadde n’omuduumizi wa poliisi mu Division ku Kampala Mukadde. [4] Yafuna ettutumu olw'obukodyo bwe obw'okulwanyisa ababbi obwalagibwa ku ttivvi. Wabula mu 2017,wajjawo ebyali bigambibwa nti yeenyigira mu kukkiriza enguzi naddala wakati wa 2013 ne 2014. Yatwalibwa mu kkooti wadde nga bannamawulire bagaanibwa okuyingira, [5] oluvannyuma kye yannyonnyola ng’okwagala okwonoona erinnya lye nga yali akissa ku baserikale banne ab’oku ntikko n’agaana okusasula engassi.

Nga wayise emyezi mitono bukya aweebwa omulimu gw’okuduumira disitulikiti y'eBuyende, Kirumira yalekulira emirimu gya Poliisi mu Gwokubiri 2018, era emirundi egiwerako, yayogeranga nti abaagala okumutemula. Yalaga obuwagizi era ne yeekubya ebifaananyi n'omukulembeze w'oludda oluvuganya gavumenti mu Uganda Robert Kyagulanyi aka Bobi Wine . [6] Yalangirira nti ayagala okuyingira ebyobufuzi. Ku ssaawa nga ssatu ezekiro nga 8 Ogwekkumi, 2018, bwe yali adda ewuwe e Bulenga, Kirumira yakubwa amasasi abazigu abaalina emmundu nga batambulira ku pikipiki. [7] Yaddusiddwa mu ddwaaliro e Rubaga n'afa nga bamutuusa. Okunoonyereza tekwakolebwa okutuusa nga wayise emyaka ena, mu 2022. [8] Amawulire gasaasaanyizibwa, nga gasibuka mu bantu ba Kirumira ab’oku lusegere nti waliwo omukono gwa mukama we gwe yamala naye emyaka 12 ng’aweereza, Gen. Kale Kayihura oluvannyuma eyaweebwa envumbo Amerika. Wabula poliisi yategeezezza nti omutemu, Abdul Kateregga 40, yafudde nga tannafulumya kizibiti kya mmundu eyatta. Muhammad Kirumira yaziikibwa Mpigi, n’aleka bannamwandu 8 okuli Mariam Kirumira n’abaana 25 abaalangirirwa oluvannyuma.[9]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]