Muhammadi Lubega Kisambira
| Ekikula | musajja | |
|---|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Uganda | |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza | |
| Omulimu | Doctor, religious leader | |
| Gyeyasomera | Karolinska Institutet, Ssettendekero wa Makerere | |
Muhammadi Lubega Kisambira Munnayuganda, musawo era munnaddiini akola nga Ssentebe w’olukiiko olutaba abasiraamu mu Uganda olwa Uganda Muslim Supreme Council (UMSC).[1][2][3][4][5][6][7][8]
Obuto bwe n’obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Kisambira yazaalibwa omugenzi Hajj Juma Luwangula e Namulanda, mu Disitulikiti y’e Luuka eya leero. Obusawo yabusomera mu Ssettendekero wa Makerere, gye yafunira diguli mu by’obusawo ne diguli mu kulongoosa eya Bachelor of Surgery (MBChB) ne Diguli ey'okubiri mu by'obujjanjabi eby'olukale eya Master of Public Health (MPH). Oluvannyuma yamaliriza PhD mu by’obulamu n’enkola ng’ayita mu pulogulaamu ey’awamu wakati wa Karolinska University e Stockholm,mu Sweden, ne Ssettendekero wa Makerere.[1][2][9]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Kisambira yakolako ng'omunoonyereza era omuwi w'amagezi mu kitongole ky'ebyobulamu mu nsi yonna ekya World Health Organisation, ekitongole ky'ebyobulamu mu Amerika ekya United States National Institutes of Health, n'ekitongole ky'amawanga amagatte ekivunaanyizibwa ku bungi bw'abantu ekya United Nations Population Fund. Ono ye mutandisi w’amattendekero ag'enjawulo omuli erya Lubega Institute of Nursing and Medical Sciences, Lubega School of Health Professionals, Lubega School of Vocational Studies n'essomero lya Lugazi Mixed Primary School.[10][1][2][9][11][12]
Emirimu gy’obukulembeze
[kyusa | kolera mu edit source]Kisambira yaliko ssentebe w’olukiiko olukulu olutaba abasiraamu mu Uganda olwa Uganda Muslim Supreme Council mu Disitulikiti y’e Luuka era yakulemberako n'ekibiina kya Muslim Professionals and Entrepreneurs. Ono ye mukulu w’abasawo mu Ssettendekero wa Makerere era nga ye muyambi w’ekibiina kya Luuka Patriotic Association (LUPA).[1][2][9][13][14]
Kisambira ye Ssentebe w’olukiiko olutaba abasiraamu mu Uganda olwa Uganda Muslim Supreme Council (UMSC) era akola nga omumyuka wa Ssaabaminisita asooka mu Bwakyabazinga bwa Busoga. Mu Gwokubiri 2025, yalondebwa okuba Omulangira Omukulu w’ekika kya Baise Igaga mu Bwakyabazinga bwa Busoga.[1][2][3][4][5][6][15][9]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]- Uganda Muslim Supreme Council
- Muhammad Galabuzi
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 4 5 Markson, Omagor (2022-12-08). "Factors that Favored Prof. Lubega's Candidature to UMSC Chairmanship". East News Uganda (in American English). Retrieved 2026-03-01.
- 1 2 3 4 5 Uganda, Watchdog (2022-12-08). "Factors that Favored Prof. Lubega's Candidature to UMSC Chairmanship". Watchdog Uganda (in British English). Retrieved 2026-03-01.
- 1 2 Kanyere, Hakim. "UMSC Chairman Elected as New Chief Prince of Baise Igaga Clan". Nilepost News (in Lungereza). Retrieved 2026-03-01.
- 1 2 "We Shall Not Lose Our Property-UMSC National Chairperson – Uganda Radio Network" (in American English). 2026-02-27. Retrieved 2026-03-01.
- 1 2 "Hon.Muhammad Ali Aluma Takes Over As UMSC Acting Secretary General". The Voice Uganda (in American English). 2023-05-06. Retrieved 2026-03-01.
- 1 2 Matovu, Muhamadi. "UMSC denounces alleged leadership change as fraudulent, reaffirms Mubaje's authority". Nilepost News (in Lungereza). Retrieved 2026-03-01.
- ↑ "Mufti Mubajje's tenure extended by five years amid controversy". Monitor (in Lungereza). 2025-03-13. Retrieved 2026-03-01.
- ↑ cfeditoren (2024-08-03). "UMSC Launches Shs700M Economic Transformation Project". Uganda (in American English). Retrieved 2026-03-01.
- 1 2 3 4 Musaasizi, Brian (2022-11-30). "Why Owek.Al-hajj Prof.Dr Muhamadi Lubega Should be Elected Chairperson UMSC". ONLINE (in American English). Retrieved 2026-03-01.
- ↑ Peter, Isabirye Simon (2023-11-24). "Over 1500 students commissioned for exams as Lubega Institute marks 7 years". Daily Express (in British English). Retrieved 2026-03-01.
- ↑ Peter, Isabirye Simon (2023-06-21). "UMSC boss donates sh10m to Uthman Institute, calls for unity among Muslims". Daily Express (in British English). Retrieved 2026-03-01.
- ↑ Peter, Isabirye Simon (2023-02-28). "UMSC Chairman condemns homosexuality as Lubega Institute excels in UNMEB exams". Daily Express (in British English). Retrieved 2026-03-01.
- ↑ Kanyere, Hakim. "Luuka Association Constructs Modern Staff Quarters at Kiyunga Health Centre". Nilepost News (in Lungereza). Retrieved 2026-03-01.
- ↑ Peter, Isabirye Simon (2026-01-01). "Politicians told to deliver results, not attack rivals". Daily Express (in British English). Retrieved 2026-03-01.
- ↑ Reporter, UG Diplomat (2025-06-30). "Museveni To Officiate National Muslim Youth Council Inauguration". UG Diplomat (in American English). Retrieved 2026-03-01.