Jump to content

Mulondo owa Buganda

Bisangiddwa ku Wikipedia

Template:Infobox monarchMulondo Sekajja yali Kabaka ow'omwenda mu Bwakabaka bwa Buganda eyalamula okuva mu 1555 okutuuka mu 1564.

Okutuuzibwa ku Nnamulondo

[kyusa | kolera mu edit source]

Yali mutabani wa Kabaka Nakibinge Kagali, Kabaka wa Buganda, eyalamula wakati wa 1524 ne 1554. Maama we yali Nabakyaala Namulondo, omukyala owokuna owa kitaawe era ng ye yali Naabagereka . Yalondebwa okudda mu bigere bya kitaawe oluvanyuma lwa kitaawe okuseerera (okufa) era oluvannyuma lw’obufuzi bwa nnyina omuto okuggwaako mu kuzaalibwa kwa muwala we mu 1555. Yatandikawo Olubiri lwe ku lusozi Mitw’ebiri.

Munnabyafaayo Semakula Kiwanuka akakasa nti obufuzi bwa Mulondo buyinza okuba nga kaali kabonero akalaga entandikwa y’olulyo olupya.   Mu bufuzi bwe, Mulondo yakulembera ebikwekweto ebiwerako ng'alumbagana Buddu nga mu kiseera ekyo yali ekyali kitundu ku bwakabaka bwa Bunyoro-Kitara.

Obulamu bwe obw’obufumbo

[kyusa | kolera mu edit source]

Yawasa mukyala we omu yekka, Nakku, muwala wa Naserenga, ow’ekika ky’e Ffumbe.

Ensonga endala

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaala abaana basatu ab’obulenzi, mu mukazi we, Nakku ow’ekika ky’e Ffumbe:

Emyaka gye egisembayo

[kyusa | kolera mu edit source]

Yaseererea (yafira) mu Lubiri e Kiryokyembi, e Mitw'ebiri.Yaterekebwa (yaziikiddwa) Gombe, mu Ssaza ly'eBulemeezi era akaba ke kaziikibwa mu Lubiri lwe. [1] Ensonda endala ziteeka ekifo we yaziikibwa e Bulondo Busiro. [2]

Engeri ba Kabaka gy'ebazze b'eddiringana

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:S-start Template:Succession box Template:S-end

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Kaggwa, Apollo; Kalibala, Ernest B. (1934). The Customs of the Baganda. p. 24.
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2013-06-15. Retrieved 2025-07-31.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]