Muntunsolo entabaganyi(homo sociologicus)
Gakuweebwa Charles Muwanga !!!Omuntu Nsolo Entabaganyi
Mu ntabaganyabantu zonna, omuntu kinnoomu alina obusobozi butono. Entabaganyabantu(human society) n’olwekyo eyamba omuntu kinnoomu mu biseera ebya kaasammeeme , okusobola okwang’anga obuzibu ebw’enjawulo.
Okuva edda n’edda nga omuntu bwe yetaaga obuyambi, gamba nga mu kaseera ak’okuzaala, okufa oba ebigwa bitalaze , abantu b’entababuvo ye(his community) beekunga okumuwa obuyambi . Na guno gujwa , entabaganya(bantu) y’eteekawo enkola ez’enjawulo omuli enkola z’ebyenfuna, amateeka n’ebiragiro okuyamba buli muntu n’entabaganyi ez’enjawulo okufuna obukuumi n’okubbulukuka mu mbeera z’ebyenfuna.
Omulamwa , “entabaganya”(Society) oba entabagbuvo(community ) gulaga okwegatta oba okukolagana mu bantu abali mu mbeera n’obusobozi ebw’enjawulo .
Okusobola okugunjula omwana okuba omutabaganyi , omuzadde alina okulaba nga omwana oyo amuyigiriza empisa ezisobozesa obutabaganyi, z’ogenda okusomako mu maaso mu katabo kano.
Waliwo abetwaala okuba abagunjufu naye nga bavuvuba abalala obutabawa kyagaanya kwennyonnyolako oba kuwa ndowooza zaabwe. Okuvuvuba abalala baleme okubaako kye boogera nakyo ssi kya bugunjufu.
Obutafaanana na bisolo, omuntu mulamu ayogeraganya ne muntu munne nga buli omu awa omulala ekyagaanya okwogera nga bw’amuwuliriza. Ebisolo byo bikola maloboozi naye tebyoogeraganya kuyita mu bigambo nga muntu.
Wano we wava obwetaavu bw’okusomesa empisa ey’okuwulizaganya n’okutegeeragana n’abantu abalala , omuli n’obutabambira mboozi y’abalala , awatali kusooka kubasaba kubaako ky’ogamba.
Abakulu oba abazadde balina okwegendereza obutaziiyiza busobozi bwa baana kuba banyumya, abagobansonga , abayinza okukubaganya ebirowoozo mu ngeri ey’ekitegeevu. Abakulu era balina okuyigiriza abaana okuba abateesa okuva nga bato nga babawuliriza nga babaddeko kye bateesa oba kye boogera awatali kubavuvuba. Okwo nakwo kusomesa bugunjufu.
Entabaganya y’Omuntu (human society), kiraga enkolagana y’abantu ey’ekuusiza ku kifo ky’omuntu mu ntabaganya (social status), obuvunaanyizibwa n’enkwanaganya y’entabaganyo ez’enjawulo eziri mu ntabaganya, okwetusaako ebyetaago eby’enjawulo okuyita mu kukoleganira awamu.
Mu ntabaganyabantu n’entabaganyo mwe mugunjulirwa abantu okubafuula ob’obuvunaanyizibwa, n’obusobozi obw’enjawulo. Okuyigiriza omwana obutabaganyi okuyita mu kumubangula , okumuyigiriza, okumutendeka, n’okumukugusa mu busobozi obw’enjawulo kye kimu ku bikola ekiyitibwa okugunjula . Obusobozi bw’afuna kye kimu ku bimuteeka mu mbeera ey’obutabaganyi .
Omuntu atalina ky’amanyi oba ky’asobola kukola mu bulamu bwe aba n’obutabaganyi butono era entabaganyo ye oba entabaganyabantu, okutwalira awamu emuganyulwamu kitono . Empisa, okukola n’okutondeka gwe musingi gw’obutabaganyi mu bantu.