Muntunsolo ey'ebyobufuzi(Homo politicus)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Gakuweebwa Charles Muwanga !!Omuntu nsolo ya Byabufuzi.

Ebyobufuzi birina akakwate akatasattululwa n’embeera y’ebyenfuna mu bantu, eby’obuwangwa, eddiini, eby’okwerinda, eby’obulamu , enkuuma n’enkozesa y’obutonde, awamu n’ebyenjigiriza. Obwetaavu buno bwonna bwe bukola ebyobufuzi era bino bye bifuula omuntu ensolo y’ebyobufuzi..

Ebyobufuzi nabyo biri mu nsolo eyitibwa muntu yokka. Byekuusiza ku ndowooza/ oba ayidologiya ya mwoyogwagwanga ebeera mu buli muntu mu “ntabaganya” (society). Ayidologiya kye kimu ku bifuula omuntu mwoyogwagwanga olw’ekigendererwa eky’ebyetaago by’obulamu , okutandika n’ obukuumi .

“Ayidiyologiya” kwolesebwa okwawamu (okufaanagana) okw’abantu ab’enjawulo ku bwetaavu obw’awamu oba ku kintu ekimu oba engeri ebintu gye birabibwamu mu kulowooza okwa bulijjo oba mu firosoofa oba ebirowoozo ebiteerebwawo abafuzi oba abanoonyereza ku byobufuzi.

Mu kukubaganya ebirowoozo mu bantu, ebirowoozo ebimu birabika okuba nga bivaayo nnyo okusinga ebirala era mu butuufu abantu ab’enjawulo batera okuba n’endowooza emu ku mulamwa. Abasoma enneeyisa y’abantu bannyonnyola kino nga bakozsa ekigambo “ayidologiya”.

Ekyokulabirako abantu ab’entabaganya emu batera okufuna endowooza emu ku nkulaakulana n’ebyokwerinda , ne kibaviiramu okwegatta n’okukulaakulanya eggwanga lyabwe nga bayita mu ayidologiya ya “Mwoyogwaggwanga” (nationalism) , lyabwe.

Waliwo ne Ayidologiya ya sitakange, eya nakalyakaani, ey’obufuzi obw’ensikirano , n’endala. Zino zonna “ayidologiya za byabufuzi”, omuntu omugunjufu z’alina okumanyaako yadde nga si mukenkufu. Ayidologia ya mwoyogwaggwanga kye kisumuluzo ky’obutebenkevu n’enkulaakulana y’entabaganyabantu kubanga eggwanga lye liteekawo enkola z’ebyenfuna n’ebyokwerinda okusobozesa abantu okukola ebibakulaakulanya.