Muyanja Mbabaali
Muyanja Mbabaali munnabyabufuzi Omunnayuganda era Adukanya emirimu gya gavumenti, ng'awereza ng'Omubaka wa Paalamenti owa Bukoto County South, mu Disitulikiti y’e Lwengo, oluvannyuma lw’okulonda kwa bonna okwa 2011 ..
Ebikwata ku buyigirize bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Ebikwata ku buyigirize bw'Owek. Muyanja mu by’enjigiriza mulimu Doctorate causa mu Bukulembeze n’Okuddukanya emirimu gyeyafuna mu 2018, ne Master Class Certificate mu Bukulembeze n’Okuddukanya emirimu gyeyafuna mu 2018, nga byombi yabifuna okuva mu Commonwealth University mu London Graduate School. Yalina Dipulooma mu Bikwatagana ne Tekinologiya wa Kompyuuta gyeyafuna okuva mu Uganda Pentecostal University mu 2015, Mature Age Entry Certificate okuva mu Makerere University mu 2013, ne Diguli mu By’okuddukanya emirimu gya gavumenti n’okugirabirira okuva mu Nkumba University mu 2004. Okugatako, yafuna Dipulooma y’Okubala Ebitabo okuva mu Kibiina ekigata Abayizi Abaakuguka mu Kubala Ebitabo mu 1989. [1]
Emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Emirimu gya Owek. Muyanja gyetoloolera ku bintu eby’enjawulo omuli ebya bizineensi, eby’obusuubuzi, okukulaakulanya ebintu, n’eby'obufuzi. Okuva mu 1982 okutuuka mu 1987, yaweereza nga Ssentebe era nga yeeyatandikawo kampuni ya INTREPCO Limited Uganda, nga kikiikirira kampuni ez'ensi eziwerako n’okufuna endagaano ez'emirimu eminene kulwa Gavumenti ya Uganda. Wakati w'Ogwokusatu 1983 ne 1987, yakola nga kawungiirizi wa kampuni ya East Germany (GDR) mu Uganda, ng’alondoola eby’obusuubuzi by’okuwanyisiganya eby'amaguzi wakati wa Gavumenti ya Uganda ne East Germany, n’ayamba okuwanyisiganya eby'amaguzi okw’amaanyi.
Mu Gwokuna mu 1987, yatandikawo eyali kampuni ng'emannyikiddwa 3M Corporation ne MFK Corporation, ng’esira baaliteeka nga kulaakulanya bintu n’okulima okwaali nga ku mutendera omunene. Okuva mu Gwomusanvu 1996 okutuuka mu 2002, yakola ng'Eyali Akulira era nga yeeyatandikawo kampuni ya Southern Investments Limited mu Kampala, kampuni eyali enkugu mu kulaakulanya ebizimbe era ng’ekiikirira kampuni z’ensi yonna nga Impregilo, eyazimba Ebbibiro ly’Amasannyalaze e Jinja, ne Arab Consulting Engineers, abavunaanyizibwa ku kuddaabiriza omukutu gw’amazzi agakulukuta e mu mwaala gw'e Nakivubo mu Kampala.
Wakati w'Ogwokubiri mu 1997 ne 2000, yakubiriza akakiiko wakati wa Uganda ne Rwanda akakola ku by’obusuubuzi n’okusiga ensimbi wansi w’ekibiina ekigatta abasuubuzi n’amakolero mu ggwanga, n’atumbuula eby’obusuubuzi wakati wa Uganda ne Rwanda n’okuwagira okugyawo envumbo ku by’obusuubuzi ku Burundi. Okuva mu 1998 okutuuka mu 2004, yeeyali Akulira era Ssentebe w’eby'ensimbi, okugula n'outambuza ebintu mu Materekero gy'eby'eyambisa mu By'obulamu Ggwanga wansi wa Minisitule y’Eby'obulamu. Mu kiseera kye kimu, era yaweerezaako ng'Eyali Akulira kkampuni ya Crystal Communications Uganda Limited, ng’akiikirira VERTEX RSI Global Communications mu kusooka eyali mannyikiddwa nga COMSAT RSI mu kulinyida n'okwongera ku mutindo gw'eby'empuliziganya za digito n’okuteekebwako eminaala gy'emikutu gya leediyo ne ttivvi za Uganda.
Okuva mu Ogwoluberyeberye mu 2001 okutuuka mu 2003, yakulembera abeebuzibwaako mu kampuni ya BIMA Consulting,kampuni y'omuggwanga eyeebuzibwaako ku by'emirimu gy'okudukanya n'enzirukanya y’ebizimbe. Okuva mu Gwokubiri mu 2007, abadde akiikirira SELEX mu Bitundu Bya Semazinga wa Afrika, kampuni y'e Yitale ekola ebyuma ebirondoola entambula y'ennyonyi mu banga. Era yawerezaako ng'Akulira era Ssentebe w’Eby'ensimbi okugula n'okutambuza eby'Amaguzi mu kampuni ya Uganda Air Cargo okuva mu 2007 okutuuka mu 2011 n’okubeera Omumyuka wa Ssentebe w’akakiiko ka UMEME Ow'ekiseera okukebera emisolo ku masannyalaze okuva mu Gwomusanvu okutuuka mu Gwekumi 2009.
Okuva mu 2002, akulembedde bizineensi eziwerako omuli Travel Hotels, ZAMO Hotels Limited, ZAMO Courts, ne ZAMO Industries. Yawerezaako nga nga Ssentebe wa NRM mu ya Lwengo okuva mu 2010 okutuuka mu 2015 era n’alondebwa okuba Omubaka wa Paalamenti owa Bukoto South Constituency okuva mu 2011 okutuuka mu 2012. Okuva mu 2015 okutuuka mu 2020, yalondebwa okuba Minisita Omubeezi avunaanyizibwa ku by’Okusiga Ensimbi wansi wa Minisitule y’Eby'ensimbi mu Uganda. [2]
Wabula okulondebwa kwe kwasazibwaamu kkooti enkulu, ng’ekibiina ekyamugya ku ntebe kigamba nti teyalina bisaanyizo bya mpapula za kusoma zeetagisibwa okubeera mu kifo ekyo. [3] Era yasunsulwa ku bwa Minisita Omubeezi avunaanyizibwa ku by’Okusiga Ensimbi mu kabineeti ya Uganda kyokka n’agaanibwa akakiiko ka paalamenti akalondoola emirimu oluvannyuma nga bamulumiriza nti empapula zze ez'eby'enjigiriza zaali njingirira.[4] [5]
Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://observer.ug/news/why-mbabaali-remains-favoured-in-bukoto-south/
- ↑ "CIID clears Mbabaali over alleged forgery of academic papers". Daily Monitor (in Lungereza). Archived from the original on 2017-09-24. Retrieved 2017-09-23.
- ↑ "Mixed fortunes as one MP loses seat and another stays". Archived from the original on 2016-03-03. Retrieved 2025-08-26.
- ↑ Masaka court summons Nkumba over Mbabali papers
- ↑ List of cabinet ministers Template:Webarchive