Mwanga I owa Buganda
Template:Infobox monarchMwanga I Kabaka w’Obwakabaka bwa Buganda okuva mu 1740 okutuuka mu 1741. Yali Kabaka wa Buganda ow’amakumiabiri mu abassatu (23).
Okutuuzibwa ku Nnamulondo
[kyusa | kolera mu edit source]Ye yali mutabani omukulu ow'Omulangira Musanje Golooba . Maama we yali Nabulya Naluggwa ow’ekika ky’e Ndiga, mukyala wa kitaawe owookubiri. Yalinnya ku Nnamulondo oluvannyuma lw’okufa kwa kojja we, Kabaka Mawanda Sebanakitta, mu 1740.
Obukulembeze bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Mwanga I ne baganda be be ba Kabaka ba Buganda abaasooka okugenda e Nnagalabi (oluvannyuma eyatuumibwa erinnya Budo) ku mikolo gy'abwe egy’okutuuzibwa ku ntebe. Ba Ssekabaka abaasooka baali bagenda Nankere ku mukolo ogusembayo era ogusinga obukulu ogw’okukakasa.
Abamu ku bakungu b'olubiri mu kiseera ky'obukulembeze bwe mwalimu; [1]
| Erinnya | Ekika | Ekifo | Okuvvuunula |
|---|---|---|---|
| Ssebanaakitta | Mamba (kyenyanja) . | Katikiro | Katikkiro |
| Lubinga | Lugave . | Kasujju | Omukulu w'essaza lya Busujju |
| Matumpaggwa | Nkima | Kangaawo | Omukulu w'essaza lya Bulemezi |
| Mugwanya | Nkima . | Mugema | Omukulu w'essaza lya Busiro |
| Kibaate | Ntalaganya | Kitunzi | Omukulu w'essaza lya Gomba |
| Manganyi | Ndiga . | Katambala | Omukulu w'essaza lya Butambala |
Obulamu bwe obw’obufumbo
[kyusa | kolera mu edit source]Ky'awandiikiba nti yawasa abakyala bataano (5): [2]
- Najjuma muwala wa Natiigo, ow’ekika ky’oLugave
- Nakabugo muwala wa Mugema ow'ekika ky'e Nkima
- Naabakyaala Nakiwala, Omubikka, muwala wa Semwanga, ow’ekika ky’e Ngonge
- Nalubowa muwala wa Segiriinya ow'ekika ky'e Ngo
- Namakula muwala wa Mpinga ow’ekika ky’o Lugave
Ensonga endala
[kyusa | kolera mu edit source]Kyawandiikibwa nti yazaala abaana basatu (3) ab’obulenzi:
- Omulangira Mulage, nga nnyina yali Najjuma. Yafuuka Sabaddu eri abambejja.
- Omulangira Kiwanuka, nga nnyina yali Nakabugo
- Omulangira Nkondoggo, nga nnyina yali Namakula
Emyaka gye egy'oluvannyuma
[kyusa | kolera mu edit source]
Kabaka Mwanga I Sebanakitta yattibwa Nkunnumbi, mu kuwoolera olw’okutta mutabani we, nga mu mwaka gwa 1741. Yasooka kuziikibwa e Meerera. Mu 1860, ebisigalira bye byasimibwa ne biddamu okuziikibwa e Kavumba mu Busiro. [3] Yasikirwa muganda we Omulangira Namuggala Kagali .
Engeri ba Kabaka gye baali beddiringana
[kyusa | kolera mu edit source]Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Kaggwa, Sir Apollo K, Basekabaka be’Buganda
- ↑ Kaggwa, Apollo; Kalibala, Ernest B. (1934). The Customs of the Baganda. p. 34.
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2013-06-15. Retrieved 2025-08-10.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)