Jump to content

Mwine Mpaka Rwamirama

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Mwine Mpaka Rwamirama

Mwine Mpaka Rwamirama Munnayuganda,munnabyabufuzi era omubaka wa Paalamenti akiikirira Mbarara City ey'Obukiikaddyo mu Paalamenti ya Uganda ey’ekkumin’emu.

Emabegako yaliko omukiise w'abavubuka mu kitundu ky'eBuggwanjuba okuva mu 2016-2021 [1] [2] Era ye Dayirekita era Pulezidenti wa kiraabu y'omupiira eya Mbarara City FC mu kibuga Mbarara mu Buggwanjuba bwa Uganda. [3] [4] [5]

Obuto bwe n'emisomo gye

[kyusa | kolera mu edit source]

Mwine Rwamirama yazaalibwa Isingiro Uganda eri Minisita eyazirwanako Bright Rwamirama . Mu 1991, yagenda mu Lohana Academy gye yamalira emisomo gye ku ddaala lya pulayimale mu by’enjigiriza (PLE), oluvannyuma n’ayingira Vienna College, Namugongo okufuna satifikeeti ya siniya ey'okuna eya Uganda Certificate of Education (UCE) mu 2003. Mu 2005, yeegatta ku Green Hill Academy gye yamalira siniys ey'omukaaga ne satifikeeti ya Uganda Advanced Certificate of Education (UACE), oluvannyuma n’agenda mu Uganda Martyrs University, okufuna diguli mu byuma bikalimagezi eya Bachelor’s degree of Science in information Technology, mu 2009. Mu 2018, yeegatta ku ESLSCA University, France okufuna diguli eyookubiri mu by’obusuubuzi by’ensi yonna. [2]

Nga 3 Ogwomunaana 2019, yafumbirwa mu butongole eri omwagalwa we Isabelle Amanda Nankanda. [5] Era ku lunaku lwe lumu yalangiridde okuvuganya ku 2021 ku kifo ky'omubaka mu Paalamenti akiikirira Mbarara City ey'Obukiikaddyo. [6]

Mpaka ye Ssentebe wa kakiiko akavunaanyizibwa ku by’obusuubuzi n’obulambuzi mu Paalamenti ey’ekkumin’emu, era ali ku kakiiko k’embalirira ya Paalamenti ey’ekkumin’emu.

Wabula yaweereza mu Paalamenti ey’ekkumi ku kakiiko ka Sayansi ne Tekinologiya ne ( ekikula ky'abantu, abakozi n'enkulakulana y'abantu ). [2] Era yaleeta ekiteeso ky’okussaawo akakiiko okwekenneenya mu nsawo eno eyatandikibwawo mu Gwokusatu 2017 okwongera okyamba ku kitebe kya Uganda mu Saudi Arabia ekisangibwa e Riyadh . [7] [8]

Okubbira ku layini ze ez'amasimu

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu Gwokubiri 2018, kigambibwa nti layini z’essimu eza Rwamirama zaali zakikitanyizibwa abakozi babiri mu kkampuni ya MTN Uganda, kkampuni ennene ey’ebyempuliziganya. Olwo ababiri bano ne bafera abantu nga bakozesa layini z’essimu ze mu kiseera Rwamirama bwe yali mu Australia ku mirimu emitongole. Ku nsonga eno, Bank of Uganda ne Uganda Communications Commission n'azo zaali kitundu ku kyo. [9] [10]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://www.monitor.co.ug/News/National/Youth-MP-elections-leave-losers-bitter-bullets-rock-west/688334-3099108-yw3g40/index.html
  2. 1 2 3 https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=330
  3. https://kawowo.com/2019/01/18/mp-mpaka-sings-praise-of-mayur-madhvani-for-support-towards-sports-development-in-uganda/
  4. https://kawowo.com/2018/06/01/mbarara-city-football-club-achieved-its-prime-objectives-says-mp-mpaka/
  5. 1 2 https://kampalapost.com/content/wedding-bells-mp-mpaka-finally-singles-shelf
  6. https://chimpreports.com/youth-mp-mwine-mpaka-announces-2021-bid-at-his-wedding/
  7. https://www.independent.co.ug/oulanyah-rejects-select-committee-on-labour-monitoring-fund/
  8. "Archive copy". Archived from the original on 2024-12-14. Retrieved 2025-09-21.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  9. https://ulii.org/ug/judgment/hc-civil-division-uganda/2018/85
  10. https://www.independent.co.ug/court-consolidates-suit-by-mp-mpaka-against-telecoms-ucc/