Naakulabye
Nakulabye, era ekimanyiddwa nga Naankulabye, kitundu ekiri mu kibuga Kampala, ekibuga ekikulu ekisinga obunene mu Uganda .
Ekifo
[kyusa | kolera mu edit source]Nakulabye esangibwa mu Lubaga Divizoni , mu bukiikakkono bw’amaserengeta ga Kampala. Mu bukiikakkono ne Makerere Kikoni, mu bukiikakkono bw’obuvanjuba n’obuvanjuba ne Makerere University Main Campus, mu bukiikaddyo obw’obuvanjuba ne Kampala Mukade, mu bugwanjuba bwo kukasozi Namirembe, mu maserengeta gaLusaze ate mu bukiikakkono bw’amaserengeta ne Kasubi . [1] Ekifo kino kiri nga mile emu (1.6 km), ku luguudo, mu bukiikakkono bw’ekitundu kya Kampala eky’ebyobusuubuzi wakati. [2] Obubonero bw’ekifo kya Nakulaby bebuno: 0°19'30.0"N, 32°33'36.0"E (Latitude:0.3250; Longitude:32.5600). [3]
Nakulabye kitundu ekirimu abantu abakozi, nga kyesudde ku luguudo lwa Kampala–Hoima oludda e Bukiikaddyo, oluguudo lwa Kampala–Hoima oludda e Bukiikakkono, oluguudo lwo kukasozi ke Makerere n’oluguudo lwa Balintuma. Waliwo akatale k’Abalimi , amaduuka, ebbaala n’ewoteli . Okumpi n’enguudo enkulu, waliwo ebizimbe ebirungi, omuli n’ebisulo by’abayizi ebyomulembe . Naye bw’oyingira munda mu kitundu, embeera ekyuka n’ekuuwa ekifaananyi ekitali kirungi nnyo. Obumenyi bw’amateeka nabwo buli waggulu mu kitundu kino, nga bwe kiri mu bitundu ebirala ebilimu omugoteko gwa bantu, abalina ennyingiza entono mu Kampala . [4]
Ebifo eby’omugaso
[kyusa | kolera mu edit source]Ebifo bino wammanga bisangibwa mu Nakulabye oba okumpi nayo:
- Akatale ka Nakulabye Central
- Oluguudo lwa Kampala - Hoima Highway - oluguudo luno luyita wakati mu kitundu kino mu ludda olw’obukiikakkono okudda mu bugwanjuba
- Ettabi lya Equity Bank (Uganda) .
- Amasiro g’e Kasubi, mu kitundu ky’e Kasubi ekiriraanyewo
- Nicodemus awatundirwa ennyama ye mbizzi
- Yunivasite y’e Makerere mu buvanjuba
- Exodus Christian Church - Ekifo eky'okusinzizaamu ekikwatagana n'ekibiina kya Pentecostal Movement
- Total Essundiro ly’amafuta
Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Tumusiime, Abdulaziizi (25 December 2013). "Know Your Hood: Nakulabye, Where The King Saw The Troublemakers". Daily Monitor. Retrieved 20 June 2014.
- ↑ "Map Showing Central Kampala And Nakulabye With Distance Marker". Globefeed.com. Retrieved 20 June 2014.
- ↑ "Location of Nakulabye At Google Maps". Google Maps. Retrieved 20 June 2014.
- ↑ "Comment: Make Village IDs Compulsory". New Vision. 23 August 2007. Retrieved 20 June 2014.