Robinah Nabbanja
Robinah Nabbanja (yazaalibwa 17 Ogw'ekkumin'ogumu 1969) Munnayuganda munnabyanjigiriza era munnabyabufuzi. Ye Katikkiro wa Uganda omukyala asoose era aliko.[1] Yakakasibwa mu butongole Palamenti nga 21 Ogw'omukaaga 2021[2] ng'adda mu bigere bya Ruhakana Rugunda, oluvannyuma eyalondebwa ku kifo ky'Omubaka w'Emirimu egy'enjawulo Mu Ofiisi Ya Pulezidenti wa Uganda . Yazaalibwa omugenzi John kayiira eyali omulimi era omutunzi awamu ne Muky. Nzeremeri Nakato.
Emabegako, yaliko Minisita w’eby'obulamu mu Kabineti ya Uganda, wakati wa 14 Ogw'ekkumi n'ebiri 2019 [3] ne 3 Ogw'okutaano 2021.[4]
Mu kiseera kye kimu akola ng'Omubaka wa Palamenti akiikirira abakyaala aba disituikiti eye Kakumiro mu Palamenti eye 11(2021–2026), obuvunaanyizibwa bw'abaddemu okuva mu Palamenti ey’ekkumi(2016–2021).[5]
Obulamu obwasooka n’okusoma
[kyusa | kolera mu edit source]Nabbanja yazaalibwa nga 17 Ogw'ekkumin'ebiri 1969 mu Disitulikiti y'e Kakumiro. Yasomera mu ssomero lya Nkooko Primary School . Oluvannyuma yasomera mu St. Edward’s Secondary School, Bukuumi, gyeyafunira ebbaluwa ze ez'okusoma ezisooka eza Uganda Certificate of Education ne Uganda Advanced Certificate of Education.[5]
Wakati wa 1990 ne 2000, Nabbanja yafuna satifikeeti ne dipulooma mu by’obukulembeze, enzirukanya y’emirimu n’enkulaakulana okuva mu matendekero ag’enjawulo, omuli Uganda Martyrs University, Uganda Management Institute, Islamic University in Uganda ne National Leadership Institute Kyankwanzi. Diguli esooka mu Democracy and Development Studies ne Master of Arts mu by’enkulaakulana byombi byamuweebwa Uganda Martyrs University.[5]
Mu Ogw'ekkumi 2023, yatikkirwa diguli ey'okubiri mu kulondoola n’okwekenneenya okuva mu yunivasite y’e Nkumba . [6]
Emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Okuva mu 1993 okutuuka mu 1996, Nabbanja yali musomesaku Uganda Martyrs Secondary School Kakumiro . Oluvannyuma yaweereza nga Kansala wa Disitulikiti, ng’akiikirira Nkooko Sub-County, mu kiseera ekyo ekyali Disitulikiti y’e Kibaale, okuva mu 1998 okutuuka mu 2001. Mu kiseera kye kimu yaweereza ng’omuwandiisi w’ebyobulamu, ekikula ky’abantu n’obuweereza bw’abantu mu disitulikiti mu kiseera ekyo.[5]
Eby'obufuzi n’Omulimu gwe
[kyusa | kolera mu edit source]Nabbanja aviira mu maka amakakkamu ag'abaana 11 nayenga ali mu kifo eky’omusanvu eri bazadde be bombi Olwo yamala emyaka kkumi egyaddirira (2001–2010) ng’aweereza ng'Omubaka wa Pulezidenti disitulikiti z’e Pallisa, Busia ne Budaka. Mu 2011, yeegatta ku by'obufuzi bya Uganda mu by’okulonda bwe yavuganya ku kifo ky’omubaka w’abakyala mu Disitulikiti y’e Kibaale mu Palamenti eya 9(2011–2016). Disitulikiti y’e Kakumiro nga bwe yatondebwawo mu 2016, yavuganya ku kifo ky’abakyala mu disitulikiti empya n’addamu okuwangula. Ye mubaka wa Palamenti aliyo.[5]
Mu nkyukakyuka za kabineti nga 14 Ogw'ekkumin'ebiri 2019, Nabbanja yalondebwa okubeera Minisita Omubeezi ow’eby'obulamu (General Duties), ng'addira Sarah Achieng Opendi eyalondebwa okubeera Minisita Omubeezi ow’eby’obugagga eby’omu ttaka.[3][7] Oluvannyuma lw'okukakasibwa Palamenti, yalayizibwa nga 13 Ogusooka 2020.[8]
Mu kabineti empya eyatuumibwa nga 8 Ogw'omukaaga 2021, Nabbanja yalondebwa nga Ssaabaminisita wa kabineti y’abavubi 82 (2021 okutuuka 2026).[9][5]
Obukuubagano
[kyusa | kolera mu edit source]Mu Ogw'ekkumin'ebiri 2021, mu kuddamu okulonda kw’aba LC5 e Kayunga, Robinah Nabbanja yagenda mu kakuyege okumala ennaku 5 era nebamulumiriza okugaba enguzi ya UGX:4,000 okulonda munnakibiina kya NRM Andrew Muwonge.[10]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Uganda Radio Network (9 June 2021). "New Cabinet: Museveni drops Kuteesa, 10 ministers". Retrieved 9 June 2021.
- ↑ "Xinhua world news summary at 1530 GMT, June 14".
- 1 2 Monitor Reporter (14 December 2019). "Museveni Shuffles Cabinet, Drops Muloni, Appoints Magyezi". Kampala. Retrieved 18 December 2019.
- ↑ The Independent (3 May 2021). "President Museveni hosts cabinet farewell luncheon". Kampala. Retrieved 9 June 2021.
- 1 2 3 4 5 6 Parliament of Uganda (2016). "Parliament of Uganda Members of the 10th Parliament: Nabbanja Robinah". Kampala: Parliament of Uganda. Retrieved 30 January 2020.
- ↑ Simon Peter Tumwine (26 October 2023). "PM Nabbanja Graduates From Nkumba University". New Vision. Retrieved 28 October 2023.
- ↑ The Edge (15 December 2019). "Kafuuzi, Nabbanja, Adoa Made Ministers Too". Kampala: The Edge Uganda. Archived from the original on 1 May 2020. Retrieved 30 January 2020.
- ↑ New Vision (13 January 2020). "New ministers take office". Retrieved 30 January 2020.
- ↑ Daily Monitor (8 June 2021). "Full cabinet list: Jessica Alupo New Vice President". Retrieved 9 June 2021.
- ↑ Uganda Radio Network (17 December 2021). "NRM's Muwonge declared winner of Kayunga by-election". The Observer (Uganda). Retrieved 28 October 2023.
Ebijuliziddwa wabweeru wa Wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]Template:S-start Template:S-off Template:S-bef Template:S-ttl Template:S-inc Template:S-end