Jump to content

Nafian Alionzi

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Legasson Nafian Alionzi Alionzi (yazaalibwa 2 Ogwokusatu 1996) Munnayuganda omuzannyi w'omupiira ow'ekikugu azannya ng'omukwasi wa ggoolo mu kiraabu ya Ethiopia eya Premier League Defence Force ne ttiimu y'eggwanga lya Uganda.

Alionzi yazaalibwa mu West Nile, mu Disitulikiti y’e Adjumani mu Uganda.[1][2]

Okuzannyira kiraabu

[kyusa | kolera mu edit source]

Omupiira gwa Alionzi gwatandikira mu West Nile ne Onduparaka FC.[3]

Era yaliko omukwasi wa ggoolo owa ttiimu ya West Nile Province mu mpaka za FUFA Drum Inter-Provinces.[2][4]

Onduparaka FC

[kyusa | kolera mu edit source]

Alionizi yazannyirako Onduparaka FC bwe yasitulwa okuva mu FUFA Big League okudda mu liigi ya Uganda Premier.[4]

Alionzi yeegatta ku URA FC okuva mu Onduparaka FC mu 2016 gye yali amaze emyaka 7.[4] Yava mu URA mu 2023 oluvannyuma lw'okuzannya emipiira 26 ne "clean sheets" 12 mu liigi ya Uganda Premier.[5]

Mekelakeya SC

[kyusa | kolera mu edit source]

Alionzi yagenda mu Ethiopia Higher League club Defence Force mu 2023 ku ndagaano ya mwaka gumu.[6]

Okuzannyira ku ddaala ly’ensi yonna

[kyusa | kolera mu edit source]

Alionzi yasooka kuzannya mu ttiimu ya Uganda mu 2021. Yalondebwa ng’omu ku bakwasi ba ggoolo b’empaka z’okusunsulamu abalizannya ez’ekikopo kya FIFA World Cup 2026.[7]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Isabirye, David (2020-09-11). "Nationality change is a complex decision, admits goalkeeper Alionzi Nafian". Kawowo Sports (in American English). Retrieved 2024-11-21.
  2. 1 2 "ALIONZI NAFIAN LEGASON – THE TAX COLLECTORS" (in American English). Retrieved 2024-11-21.
  3. "ALIONZI NAFIAN LEGASON – THE TAX COLLECTORS" (in American English). Retrieved 2024-11-21.
  4. 1 2 3 Admin, NBS Sport (2023-08-31). "Alionzi Nafian Ends Seven-Year URA FC Journey". NBS Sport (in American English). Retrieved 2024-11-21.
  5. "Goalkeeper Nafian Alionzi confirms URA departure". MTN Sports (in American English). 2023-08-29. Retrieved 2024-11-21.
  6. "Nafian Alionzi leaves URA FC after seven years". Swift Sports Uganda. August 31, 2023. Retrieved November 21, 2024.
  7. Mujuni, Oscar Diego (2024-06-04). "Cranes Goalkeeper Alionzi Upbeat Ahead of World Cup Qualifiers". NBS Sport (in American English). Retrieved 2024-11-21.

Template:Uganda squad 2025 Africa Cup of Nations