Jump to content

Naggalabi Buddo

Bisangiddwa ku Wikipedia

Akasozi Naggalabi (oluusi luwandiikibwa nga Nagalabi) kifo kya byabuwangwa, eddiini n’eby’obusika eyo bakabaka b'Obwakabaka bwa Buganda gye batikkirwa engule.[1]

Kiteeberezebwa nti kye kifo kabaka w’Obwakabaka bwa Buganda eyasooka gye yawangula olutalo lw’okulwanirira engule oluvannyuma lw’okulwana ne muganda we, Omulangira Bemba. Yalangirira nti bakabaka ba Buganda bonna abaddirira bajja kutikkirwa nga engule mu kifo ekyo.[2]

Ekifo ky'e Naggalabi awakolebwa emikolo gy'okutikkira ba kabaka (Naggalabi colanation site) kisangibwa ku kasozi Budo, mu Disitulikiti y’e Wakiso mu ssaza ly’e Busiro.[3] Ekifo kisobola okutuukibwako ku luguudo lw'e Kampala -Masaka , mu Bukiikaddyo bw'obugwanjuba mu Disitulikiti ye Kampala n'obuwanvu bwa kiromita 14 okuva mu kibuga wakati. Kino osobola okukituukako okuva ku kabuga k'eKajjansi ekisangibwa ku oluguudo lw’Entebbe. Mu kitundu ekyo mulimu amatendekero g’ebyenjigiriza agawerako okugeza Kings College Buddo omu ku Bassekabaka ba Buganda,Ssekabaka Daudi Chwa ow'okubiri gye yasomera.

Okusinziira ku muwandiisi Neil Kodesh, erinnya Naggalabi lirimu ekikolwa eky'okuggala, ''okuggalira ebweru,'' n'ekigambo "bi" ekitegeeza obubi oba akabi bwe kityo ne kivaamu ''ky'ekifo ekibi n'emitawana gye biggalirwa ebweru.'[4]

Kikkirizibwa nti ekifo ky'ebyafaayo ewakolebwa emikolo gy'okutikira bakabaka (Naggalabi Coronation Site) kibaddewo okuva mu kyasa eky’ekkumi n’enya.[5] Okusinziira ku kibanja ky'omutimbagano ogwa buganda.com, muganda wa Kintu, Bemba yali abeera mu nnyumba eyitibwa Buganda eyali esangibwa e Naggalabi Buddo. Oluvannyuma lw'okuwangula Bemba mu lutalo, Kintu yasula mu maka ga Bemba ng'akabonero k'obuwanguzi bwatyo n'afuuka "omufuzi" w'ennyumba ya Bemba. Oluvannyuma erinnya lino lyatuuka okutegeeza ebitundu byonna Kintu bye yali afuga. Mu kujjukira obuwanguzi bwa Kintu kuva eri Bemba, bakabaka ba Buganda abapya n’olwekyo batikkirwa engule e Naggalabi.[3]

Bassekabaka ba Buganda bakolebwako emikolo egiwerako mu kifo kino nga tebannatikkirwa ngule. Nga bwegwali mumwaka gwa 2020, bakabaka ba Buganda abatakka wansi wa mukaaga be baakatikkirwa engule mukifo ekyo, okuva ku Kabaka Daudi Chwa ow'okubiri (II) mu mwaka gwa 1897 okutuuka ku Kabaka Muwenda Mutebi ow'okubiri (II) afuga kati, eyatikkirwa engule mu mwak gwa 1993.[6][7][8]

Ebifo eby’enjawulo

[kyusa | kolera mu edit source]

Waliwo ebifo ebiwerako eby'enjawulo ebisangibwa mu kifo ewasangibwa eby'afaayo by'obwakabaka, ng’ekisinga obukulu kye kibira ky’e Nakibuuka (mu kitundu kino ekiyitibwa akabira Nakibuuka ) awakolebwa emikolo gy’okutikkira engule egisembayo era egisinga obukulu.[9]

Waliwo n’ennyumba ya Buganda (mu kitundu emanyiddwa nga akayumba Buganda) okugata kwekyo omuti Mboneredde, wansi we kigambibwa nti ye kkooti ya Kisekwa.[9]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Naggalabi: Buddo Coronation Site". Habari Uganda Tours (in American English). 2016-08-31. Retrieved 2021-04-21.
  2. "Naggalabi Coronation Site | Buganda Tourism" (in American English). Retrieved 2021-04-23.
  3. 1 2 "Buganda's Founding". www.buganda.com. Archived from the original on 2020-11-11. Retrieved 2021-04-23.
  4. "Beyond the Royal Gaze: Clanship and Public Healing in Buganda [Illustrated] 081392927X, 9780813929279". dokumen.pub (in Lungereza). Retrieved 2021-04-23.
  5. "What do you know about Naggalabi; where the Kabaka was coronated?". Nile Post (in American English). 2018-07-20. Retrieved 2021-04-23.
  6. "60 years in the life of a Kabaka". Daily Monitor (in Lungereza). 5 January 2021. Retrieved 2021-04-23.
  7. "1993 Coronation: journey that dates back to 1956". Daily Monitor (in Lungereza). 2 February 2021. Retrieved 2021-04-23.
  8. "Naggalabi Buddo: Buganda's Coronation Site - buganda cultural sites". Uganda Safaris (in American English). 2017-07-09. Retrieved 2021-04-14.
  9. 1 2 "What do you know about Naggalabi; where the Kabaka was coronated?". Nile Post (in American English). 2018-07-20. Retrieved 2021-04-19.

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]