Nakibinge owa Buganda
Template:Infobox monarchNakibinge Kagali yali Kabaka ow’omunaana mu Bwakabaka bwa Buganda, wakati wa 1524 ne 1554 AD. [1]
Okutuuzibwa ku ntebe y’obwakabaka
[kyusa | kolera mu edit source]Ye yali mutabani wa Kabaka Kayima Sendikaddiwa omukulu eyalamula okuva mu 1494 okutuuka mu 1524. Kabaka Nakibinge yasikira ku Nnamulondo oluvanyuma lwa kitaawe okuseerera (afudde) mu 1524. Olubiri lwe y'aluteeka ku lusozi Bumbu. [2]
Mu kiseera kye eky'obukulembeze, Nakibinge yakola obulumbaganyi ku Bulemezi, ekyazuukusa Omukama w’e Bunyoro. Mu myaka egyaddirira, olutalo lwagenda mu maaso, era obulumbaganyi obw’amaanyi obw’Abanyoro bwawaliriza Nakibinge okunoonya obuyambi bw’amagye okuva mu bizinga by’e Ssesse. Wabula amaanyi agakozesebwa bannamaggye galeetera Nakibinge obuwanguzi naye nga bw'ali bw'akaseera katono. [3]
Wadde nga beeyongera okuyingira mu ttaka ly’e Bunyoro, Abanyoro baddamu okwegatta ne bagoba eggye lya Nakibinge okuva e Bunyoro. Abanyoro bagoba amagye ge nga bayita mu Bulemezi, Kyaddondo ne Mawokota. [4]
Obulamu bwe obw’obufumbo
[kyusa | kolera mu edit source]Yawasa abakyala munaana:
- Nabitaba muwala wa Ndugwa ow'ekika ky'e Lugave
- Najjemba muwala wa Semwanga ow’ekika ky’e Ngonge
- Nalunga muwala wa Lusundo, ow’ekika ky’e Nvuma
- Nabakyaala Namulondo, Naabagareka, mwannyina wa Gunju, ow'ekika kya Butiko
- Nasuuna muwala wa Nankere ow’ekika kya Mamba
- Bukirwa, Nanzigu, muwala wa Sekayiba, ow’ekika ky’e Mbogo
- Nannono muwala wa Seggirinya ow'ekika ky'Engo. Nannono yakola ng'omukuuma ddamula oluvannyuma lw’okufa kwa bba okumala ebbanga lya myezi kkumi na munaana
- Kabejja
Ensonga endala
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaala abaana bana ab’obulenzi n’abawala babiri:
- Kabaka Mulondo Sekajja, Kabaka wa Buganda, nga nnyina yali Namulondo
- Kabaka Jemba Busungwe, Kabaka wa Buganda, nga nnyina yali Najjemba
- Kabaka Suuna I Kisolo, Kabaka wa Buganda, nga nnyina yali Nassuuna
- Omulangira Nzigu, nga nnyina yali Bukirwa
- Omumbejja Batenga, nga nnyina yali Namulondo
- Omumbejja Nnono, nga nnyina yali Nannono. Yazaalibwa era n'afiirawo mu 1555. Yafa nga muto.
Emyaka gye egisembayo
[kyusa | kolera mu edit source]Kabaka Nakibinge yattibwa mu lutabaalo lw'eyalimu n'’Abanyoro, e Busajja, mu 1554. Yaterekebwa (yaziikibwa) e Kongojje mu Busiro. [5]
Okusinziira ku mukugu wa Buganda mu byafaayo Semakula Kiwanuka, okufa kwa Nakibinge kulaga enkomerero y'olulyo lwa "Babito" mu Buganda, era lwalangirira omulembe omupya.
Obusika bwa Nnamulondo
[kyusa | kolera mu edit source]Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://www.jstor.org/stable/3172031
- ↑ Kaggwa, Apollo; Kalibala, Ernest B. (1934). The Customs of the Baganda. p. 23.
- ↑ Buliggwanga, E. M. (2006). Ekitabo ky'ekika ky'emmamba. New Era Printers & Stationers, pp.70-76.
- ↑ Winyi, KW‘Tito Gabafusa. "The Kings of Bunyoro-Kitara." UJ 3 (1935): 155-60.
- ↑ https://web.archive.org/web/20130615070042/http://www.buganda.com/kings.htm
Ebijuliziddwa w'aby’ebweru wa Wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Olukalala lwa Bassekabaka ba Buganda Byaterekebwa