Nakongezakikolwa

Bisangiddwa ku Wikipedia

Nakongezakikolwa kye kigambo ekyongera okunnyonnyola ku ekikolwa ekikolebwa/ekyongera amakulu ku kikolwa ekiri mu mboozi oba sentensi. Ekikolwa ekiri mu sentensi kisobola okwongera okunnyonnyolwa mu ngeri zino wammanga:

  1. Engeri gye kikolebwamu
  2. Embeera gye kikoleddwamu
  3. Emirundi gye kikolebwa
  4. Ekifo we kikolerwa n’engeri endala.
  5. Ekiseera mwe kikoleddwa

Mu ngeri ezo waggulu wamu n’endala ezitakooneddwako mwe muva ebika bya nnakongezakikolwa eby’enjawulo era nga mulimu bino wammanga:

Nakongezalinnya Ez’ebiseera (Adverb of time)[kyusa | edit source]

Zino ziraga obudde oba ekiseera ekikolwa we kikoleddwa. Mu biseera eby’enjawulo omuyinza okukolerwamu ekikolwa mulimu bino wammanga:

  • Kawungeezi
  • Ku makya
  • Matumbi
  • Ggulolimu
  • Ttuntu
  • Nnazzikuno n’ebirala.

Okugeza:

  • Nnazzikuno omuwala okwejaajaamya nga tannafumbirwa kyabeeranga kivve.
  • Omusajja yajja mu ttuntu.
  • Taata asambula kawungeezi.
  • Twamuwulira ng’ayita eyo mu ttumbi.

Nakongekikolwa Ez’empisa (Adverb of manner)[kyusa | edit source]

Zino ziraga engeri omuntu gye yeeyisaamu ng’akola ekikolwa. Okugeza:

  • Mpola
  • Kasoobo
  • Lulembe
  • Ssimbo
  • kyejo

Eby’okulabirako;

  • omwana oyo alya mpola.
  • Nalule atambuza ssimbo.
  • Nassiwa emmere agiwaasa lulembe.
  • Omuggalanda abeera n’ekyejo.

Nakongezakikolwa Ez’ebifo (Adverb of place)[kyusa | edit source]

Zino ziraga wa ekikolwa we kikolerwa. Okugeza:

  • Waggulu
  • Wansi
  • Munda
  • Wabweru
  • Wamberi
  • Nkoto n’ebirala.

Eby’okulabirako:

  • Omuyembe guwanike waggulu.
  • Omwana agudde wansi
  • Ebibbo bitwale munda.
  • Amaliba gafulumye wabweru.

Nakongezakikolwa Eziggumiza (Adverbs of degree)[kyusa | edit source]

Zino zibeera ziraga amaanyi, essira oba eddaala ekikolwa kwe kikolerwa. Okugeza:

  • Nnyo
  • Nnyo nnyini
  • Nnyini
  • Nnyo nnyini ddala.

Eby’okulabirako;

  • Bakutumidde nnyo.
  • Akwagala nnyo nnyini.
  • Tusiimye nnyo nnyini ddala.