Namba (Numbers)

Gakuweebwa Charles Muwanga !! Namba kye ki?
Namba kintu ekikozesebwa okubala, okulaga, n’okupima. Ensonjola ya namba etwaliramu namba nga ziro, namba eza kiddannyuma(namba za negatiivu) , namba ez’omugerarenyo(rational number), namba ezitali za mugerageranyo, ne namba enzibuwavu, okunokoolay ezimu .
Omulamwa “namba” ke kataffaali akasookelwako mu kuyiga okwa sayansi n’ekibalangulo kyokka ekibuuzo “namba kye ki?” tekyasobola kuddibwamu okutuuka mu 1884 A.D. Gottlob Fregé [1], eyavumbula okusengeka ensonga z’ekibalangulo(mathematical logic) kyokka ansa ye teyamanyibwa mu nsi okutuuka omungereza omubalanguzi era omukugui w’ensengeka y’ebirowoozo Bertrand Russell, eyagezaako okunnyonyola buli ekigenda mu maaso mu kibalangulo ng’akyesigamya ku mulamwa gw’emigereko(sets), n’atuuka okuttuukiriza omulamwa gwa “namba”.
Omulamwa gwa namba gwekuusiza ku mulamwa gw’omugereko (set).Omugereko taminologiya eringa taminologiya ya “punkuti(akatonnyeze) mu essomampimo kubanga omulamwa guno si musonjole. Mu ngeri y’emu omugereko gunyonyolwa biteeberezo(axioms) bya mugereeso gwa migereko . Mu ngeri etali ntongole omugereko gusonjolwa nga ekikung’anyo ky’ebintu ebigere era ebyeyawudde eby’ekikakkyonna kwe tusobola okusalirawo oba ekintu ekimu oba ekirala memba yagwo.
Kino kitegeeza nti okulaga omugereko. Olina okulaga ebintu byonna ebigirimu, ebiyitibwa bammemba nga nga olaga buli memba mu kikung’anyo oba nga onnyonnyola bamemba ki abalimu.
Njawulo ki eri wakati w’endagamuwendo( digit) ne Namba?
Endagamuwendo(digit) ke “akataffaali akazimba namba” (the building block of a number).
Endagamuwendo 1 2 3 4 5 6 7 8 9
Nga namba bwe buli obutffaali obuzimba sessomo ly’ekibalangulo, obutaffaali obuzimba namba ze digito (digits). Namba ziri buli wamu mu kibalangulo era ziyinza okusengekebwa mu biti oba emitendera egy’enjawulo, ebisonjozo n’ebinnyonnyozo eby’ejawulo.
Omugereeso gwa namba gutandika n’ebintu kkumi era gino gy’emiramwa omuzadde n’omusomesa yenna gy’asookerako mu kutendeka omwana nga muto .Digito ziri kkumi era zino bwe butaffaali obuzimba namba endala zonna, entonno eziri mu nsusuuba n’ennene ennyo eziri mu butabalika.
Endagamuwendo ekkumi ezizimba buli namba: 0,1,2,3,4,5,6,7,8,9.