Nambuluzo za Namba(Factors of Numbers)

Bisangiddwa ku Wikipedia

From IALI NGO with authority from Charles Muwanga !

Nambuluzo za Namba (Factors of numbers)

Okusobola okunnyonnyoka essomo ly’ekibalangulo eky’okulambulula namba obulungi, wetaagisa okumanya egimu ku miramwa egikozesebwa, naddala emiramwa nga:

       Ekitondeko / Omutondeko                       (Product)

• Enkubisa (coefficients)

• Enkubise (multiples)

• Entakyuka (constants)

• entakoma (infinite)

• enkiise/enkyusibwo (variable),

• engabiso (divisor)

• omugabo (dividend)

• Ennyingo (terms),

• Mufunza (exponentiation)

• Kyekubisamufunza (logarithms).

• Namba ennambulukufu (composite numbers)

• Namba ezitali nambulukufu (prime numbers)

• Enfikkizo oba enfissi (remainder)

• Nambuluzo (factors)

• Nambuluzo Eyawamu (Common factor)

• Enkubise Eyawamu (Common Multiples)

• Enkubise Eyamu Esembayo (Lowest Common Multiple)

• Nambuluzo Eyawamu Esingayo (Greatest Common )

• Okulambuluza namba ezitali nambulukufu (prime factorization)


Mu muwendo 5 x 3 = 15, ttaano ne ssatu ze nambuluzo ( factors) oba enkubisa(coefficients) ate kumi na ttaano ye nkubise(multiple.) oba ekitondeko(product).

Okulambulula (Factoring) kiringa kwabuluza mu namba; kitegeeza okulaga namba ng’ekubise (multiple) oba kiyite ekitondeko(product) kya nambuluzo zaayo (its factors). Nambuluzo ziba namba ennambulukufu (composite numbers) oba namba ezitali nambulukufu (prime numbers ) ,okujjako 0 ne 1 ezitagwa mu biti bino ebibiri.

Namba 15 nkubise (multiple) ya 5 ne 3, kubanga eyinza okugabizibwaamu 5 ne 3 . Mu 3 x 5 = 15 , 3 ne 5 zombi nkubisa za 15 ate 15 nkubise( multiple) ya 3 ne 5 .

"Nambuluzo"(factors) ze namba ze wekubisaamu okufuna namba endala. Eky’okulabirako nambuluzo za 6 ziri 2 ne 3 kubanga 2 x 3 = 6 .Kyokka namba ezimu ziyinza okulambululwa mu ngeri ezisukka mu emu .Eky’okulabirako , 12 eyinza okulambululwa nga 1×12, 2×6, oba 3×4.