Nampawengwa(neutron)

Gakuweebwa Charles Muwanga !! Nampa oba mu bujjuvu nampawengwa (neutron) katinniinya ka kaziba akalina enzitoya eya amu 1 kyokka nga tekalina kyaagi ya masannyalaze yonna oba ka tugambe nti kalina kyagi ya masannyalaze ya kibogwe. Nampawengwa wamu n’obukontanyo busabgibwa mu buziizi bw’akaziba(nucleus of the atom). Nampa etera okuba akatoffali akaggumivu(stable particle) kubanga munda mw’obuziizi kayinza okusigala nga tekakyusiddwa okumala ekiseera ekitaliiko kkomo.
Kyokka wayinza okubaawo embeera ezireetera nampawengwa okubumbulukuka embagirawo (spontaneous decay) n’ekutukamu akakontanyo n’akasannyalazo.
Obuziizi bw’akaziba okujjako obwa “vampawengwa eya ayidologyeni-1” (hydrogen-1 isotope) bulimu nampawengwa. Obuziiz bw’obuzibwa obwa endagakintu ey’enkyusabuziba yonna buyinza okubaamu omuwendo gwa nampa gwa njawulo. Eky’okulabirako, endagakintu eya eya kaboni ekolebwa obuziba bwa bika bya vampawengwa ebitakka wansi wa bisatu. Obuziizi obw’’ebika ebisatu eby’akaziba bubaamu obukontanyo 6 naye obuziizi obumu bubaamu nampawengwa 6, endala nampawengwa 7 ate endala nampawengwa 8.
Embeera zino eza endagakintu ezibaamu omuwendo gw’obukontanyo gwe gumu naye nga ogwa nampa gwa njawulo ze ziyitibwa “vampawengwa z’endagakintu” (isotopes of an element).
Nampawengwa (neutron) katiniinya kasirikitu (tiny particle) ng’akakontanyo, akatini okusinga akaziba . Okufaanana n’obukontanyo, nampawengwa ntini nnyo era okuziraba tekisoboka yadde n’enzimbulukusa ey’akasannyalazo (electron microscope), Nampawengwa zonna mu bwengula nfaanagavu ate nga zisangibwa mu kaziba munda.
Okufaanana n’obukontanyo, nampa zasooka kukolebwa okuva mu bbosono (bosons), mu biseera by’obwengula ebyasooka oluvannyuma lw’okubwatuka okunene.
Nampawengwa zikolebwa obutiniinya obutalabika obutini okusingawo obuyitibwa obukwaki(quarks). Okufaanana n’obukontanyo, buli nampawengwa ekolebwa obukwaki busatu naye nampa zikolebwa obukwaki bubiri wansi n’akakwaki kamu waggulu.
Empalirizo ey’obuziizi ey’amaanyi (strong nuclear force) ekuumira obukwaki wamu. Enzitoya ya nampawengwa esinga esibuka mu mpalirizo ya nyukiriya ey’amaanyi, si mu bukwaki. Kubanga nampa erina obukwaki bubiri wansi n’akakwaki kamu waggulu, terina kyagi y’amasannyalaze yonna.
Nampawengwa kitundu kya buziizi oba amakkati ga’akaziba . Obuzibaobusinga obwangu, obuziba bwa ayidologyeni buba n’obuziizi obulimu akakontanyo 1 kokka nga temuli nampa kyokka obuziba obusinga obungi bulina obukontanyo obusukka mu kamu ate nga obukontanyo buno bwetaaga nampawengwa okuyamba empalirizo y’obuziizi ey’amaanyi okukwataganya obukontanyo awamu. Obuziba obusinga buba n’omuwendo gw’obukontanyo nga gwe gumu n’ogwa nampa kyokka ezimu zirina nampawengwa nnyingi okusinga obukontanyo.