Jump to content

Namuggala owa Buganda

Bisangiddwa ku Wikipedia

Template:Infobox royaltyNamuggala yali Kabaka w’Obwakabaka bwa Buganda, wakati wa 1741 ne 1750. Yali Kabaka wa Buganda ow’amakumi abiri mu abana (24). Ajjukirwa ng’omufuzi omwagalwa ennyo era ow’ekisa. [1]

Okutuuzibwa ku ntebe y’obwakabaka

[kyusa | kolera mu edit source]

Ono yali mutabani w'Omulangira Musanje Golooba ow'okubiri . Maama we yali Nabulya Naluggwa ow'ekika ky'e Ndiga ng'ono ye yali owookubiri mu bakyala ba kitaawe . Yalinnya ku Nnamulondo nga mukulu we, Kabaka Mwanga I Sebanakitta, aseeredde (afudde) mu 1741. Yakuba Olubiri lwe e Nansana .

Obumulembe gwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Namugala yalamulira ebbanga ttono. Yali ayagala nnyo okufuna eby’amasanyu mu bulamu okusinga ensonga z’eggwanga. Katikkiro we yali Kagali ow’ekika ky’e Nvuma. [2]

Abamu ku bakulu abaaweereza mu kiseera ky’obukulembeze bwe kuliko; [3]

Erinnya Ekifo Okuvvuunula
Kagali Katikiro Katikkiro
Lubinga Kasujju Gavana wa Busujju
Kambugu Kangaawo Gavana wa Bulemezi
Mugwanya Mugema Gavana wa Busiro
Kabale Kitunzi Gavana wa Gomba
Butekkanya Katambala Gavana wa Butambala

Okugaana kwe n’obukakanyavu bwe okuwuliriza okusaba kwa muganda we Omulangira Kyabaggu okutta Dibbongo kyakuma omuliro mu butakkaanya wakati w’ababiri bano okukkakkana ng’avudde ku Nnamulondo. [4]

Obulamu bwe obw’obufumbo

[kyusa | kolera mu edit source]

Ky'awandiikibwa nti yawasa abakyala mukaaga (6):

  • Naabakyaala Basuuta, Kaddulubaale, muwala Masembe, ow’ekika ky’e Nsenene
  • Najjuka, muwala wa Gunju, ow’ekika kya Butiko
  • Nakangu muwala wa Kagenda, ow'ekika kya Mamba
  • Nalubowa muwala wa Seggiriinya, ow’ekika ky’Engo.
  • Nalunga muwala wa Terwewalwa ow'ekika ky'e Nvuma.
  • Nawaguma muwala wa Kisuule ow'ekika ky'e Njovu

Ensonga endala

[kyusa | kolera mu edit source]

Ky'awandiikibwa nti yazaala abaana basatu ab’obulenzi:

  • Omulangira Kateregga, nga nnyina yali Basuuta
  • Omulangira Ngabo, nga nnyina yali Najjuka
  • Omulangira Kiboli, nga nnyina yali Nawaguma

Emyaka gye egy'oluvannyuma

[kyusa | kolera mu edit source]

  Kabaka Namuggala yalekulira Nnamulondo nga agirekera muto we, Kyabaggu Kabinuli mu mwaka gwa 1750. Yaseerera (yafa) oluvannyuma lw’okugwa mu butanwa ku lusozi Nalubugo, oluvannyuma lw’okulekulira . Yaterekebwa (yaziikibwa) e Muyomba mu Busiro. [5]

Engeri Bakabaka gye bazze b'eddiringana

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:S-start Template:Succession box Template:S-end

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Kaggwa, Apollo; Kalibala, Ernest B. (1934). The Customs of the Baganda. p. 35.
  2. Kagwa, S. A. (1927). Ekitabo kya ba Ssekabaka be Buganda. Columbia University Press.
  3. Kaggwa, Sir Apollo K, Basekabaka be’Buganda [translated by MM Semakula Kiwanuka]. Nairobi: East African Publishing House, 1971.
  4. Kiwanuka, M. S. (1972). A History of Buganda from the Foundation of the Kingdom to 1900. Holmes & Meier Pub.
  5. https://web.archive.org/web/20130615070042/http://www.buganda.com/kings.htm

Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]