Namunigina za Kyesatuza (Cubic units)
Endabika
Namunigina za kyesatuza
(Cubic units)
Mu kibalangulo ky'essomampimo(mathematics of geometry) mulimu emiramwa gino:
(i) Namunigina(Unit of measurement)
(ii)Kyesatuza (Cube)
Namunigina za kyesatuza n'olwekyo , okusinziira ku Muwanga, kivvuunulwa "cubic units". Singa oba obalangula obubangirivu(volume) bwa nkula yonna ey'ekibalo, ansa orina kugiwa mu namunigina z'ekipimo(units of measurement) eziyitibwa namunigina za kyesatuza(cubic units). Namunigina za kyesatuza ziyinza okubaamu:
(a) miita eza kyesatuza (cubic meters)
(b) kiromiita eza kyesatuza (cubic kilometers)
(c) mayiro eza kyesatuza (cubic miles)
(d) sentimiita eza kyesatuza( cubic centimeters)
(e) Yaadi eza kyesatuza (cubic yards)
(f) Yinsi eza kyesatuza (cubic inches)