Jump to content

Namuziga n'Ekikono(Wheel and Axle)

Bisangiddwa ku Wikipedia
Namuziga_n'Ekikono

Gakuwebwa Charles Muwanga !!

Namuziga n' Ekikono (The Wheel, Axle and Gears)

Namuziga (wheels) zisangibwa mu buli kika kya nnyanguyirizi mu by’entambula ebisinga. Namuziga etwalibwa nga ekika ky’ensuubo ekikola omugendo omwetoloovu (circular motion or movement). Ekisinziiro (fulcrum) kya namuziga g’amakkati ga namuziga. Namuziga yetaaga ekikono (axle) kwe yekwata esobole okutambula.

Ekikono (axle) kiba namuziga entono mu makkati ga namuziga ennene. Ekikono bwe kyetoboola nga ne namuziga ennene nayo yetowola era eyinza okutambuza ekizito olugendo oluwanvu. Oyinza okulaba ekikono bw’otunula ku ggaali. Ekikono ye namuziga entono mu makkati ga namuziga ennene.