Jump to content

Nangnang fish

Bisangiddwa ku Wikipedia

Ebyennyanja bya Nangnang era bimanyiddwa nga Brycinus nurse oba Onang nang kika kya byennyanja ebisangibwa mu disitulikiti y'e Pakwach mu kitundu kya West Nile ku mabbali g'omugga Nile . Ebika by’ebyennyanja bino bisangibwa mu Pakwach mwokka. Eby'ennyanja bino bisiikibwa mu butto ayokya era bigulibwa abantu b'omukitundu ekyo n’abatambuze abatambulira ku luguudo oluva e Kampala okudda e Arua. Ebyennyanja bino bitundibwa era abatunzi bafuna sente ezirabira amaka gaabwe. [1] [2] [3]

Okunnyonnyola

[kyusa | kolera mu edit source]

Nangnang kyenyanja kitono mu langi eya grey nga mulimu ne langi ya zaabu nga kiriibwa abantu b'e Alur . [2] Kisangibwa mu mazzi agataliimu munnyo nga White Nile [4] n’emigga egirimu amazzi amapya. [5] Kano kampwakimpwaki nga bakaaliira ku lugendo. Mu kiseera ky’okubiteekateeka, ebyennyanja bino binaazibwa, ne bisunsulwa mu bunene ebw’enjawulo oluvannyuma ne bisiikibwa okuva ku langi eya grey okudda mu kitaka eya zaabui[4]

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/farming/nang-nang-fish-puts-more-money-in-the-pocket-1837150
  2. 1 2 https://observer.ug/business/ugandans-should-borrow-a-leaf-from-dennis-aliga/ Cite error: Invalid <ref> tag; name ":0" defined multiple times with different content
  3. https://www.ugandagorillatour.com/ajai-wildlife-reserve/
  4. 1 2 "African tiger fish - Arca del Gusto". Slow Food Foundation (in American English). Retrieved 2025-02-27.
  5. https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/farming/nang-nang-fish-puts-more-money-in-the-pocket-1837150