Jump to content

Naomi Karungi

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Naomi Karungi (1 Ogwekkumineebiri 1978 – 28 Ogwolubereberye 2020). Yali Munnayuganda omuvuzi wa nnamunkanga mu kiseera we yafiira, yali Muduumizi ku tterekero ly'ebyokulwanyisa n'ennyonyi erya Augusta Bell Helicopters mu ggye ly'omu bbanga erya UPDF . [1] [2] [3]

Obuvo n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa mu Disitulikiti y’e Ntungamo, mu Bugwanjuba bwa Uganda. Yasomera mu masomero ga pulayimale ne siniya ag’omu kitundu ekyo. Yasomera mu yunivasite y'e Makerere, n'afuna diguli esooka eya Bachelor of Arts mu nkwatagana z'abantu n'ebyenfuna . Olwo n’akkirizibwa mu ttendekero ly’ennyonyi erya East African Civil Aviation Academy, n’atikkirwa ne Commercial Pilot License, oluvannyuma lw’okusomesebwa emyaka esatu. [4] Karungi yali alina okugenda mu Amerika oluvannyuma mu 2020, okutendekebwa ng'omusomesa w'abavuzi b'ennyonyi zi nnamunkanga. [5] [6]

Mu biseera bya 2002, Naomi yeegatta ku ggye ly’omu bbanga erya UPDF nga tannafuna layisinsi ye ey’okuvuga ennyonyi. Bwe yafuna ebisaanyizo by’okubeera omuvuzi w’ennyonyi, yasindikibwa ku Entebbe Air Force Base. Yalonda kuvuga nnamunkanga, okwawukanako n’ennyonyi ezirina ebiwaawaatiro ebinywevu, okusinziira ku bujulizi bwe yawa ku katambi mu 2019. Yakubirizibwa okukuguka mu nnyonyi nnamunkanga okuva mu baduumizi b’amagye g’omu bbanga ga UPDF mu kiseera ekyo. [3] [5] [7]

Mu myaka gye gyonna 15 egy'okukola (2005–2020) mu ggye ly’omu bbanga erya UPDF, yavuganga nnamunkanga ezitali nnwanyi. Mu 2015, yavuga Pulezidenti Yoweri Museveni okuva mu maka ge e Rwakitura okutuuka e Entebbe . [4] [8]

Ono ye yali omuvuzi wa nnamunkanga omukyala asinga obumanyirivu mu ggye ly’omu bbanga erya UPDF mu kiseera we yafiira. Ku ddaala lya Major, yaliko Omuduumizi w’ekibinja kya Bell Helicopter Squadron mu ggye ly’omu bbanga erya UPDF. [9]

Ku makya ga 28 Ogwolubereberye 2020, nnamunkanga ya UPDF Air Force Bell Jetranger nnamba AF-302, ng’eva ku Kalama Armored Warfare Training School okutuuka ku kisaawe ky'ennyonyi ennwanyi ekya Entebbe Air Force Base ng’etisse Major Karungi ne Lieutenant Benon Wakalo, omuvuzi wa cadet, yagwa ku lusozi Ndese, okumpi n’e Bulo, mu Disitulikiti y’e Butambala, mu kiseera ky’embuyaga erimu okubwatuka kw'eggulu. Abavuzi b’ennyonyi bombi baafiira mu kifo ekyo. Bano baali bava e Kabamba ku kutendekebwa okw’awamu mu amagye g’ebyokwerinda mu bbanga. Dduyiro eno yali esaziddwamu olw’embeera y’obudde embi. [5] [8] [10]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://web.archive.org/web/20200201102304/https://edge.ug/2020/01/31/muhoozi-eulogises-maj-karungi-flown-home-for-burial/
  2. https://www.independent.co.ug/two-dead-after-updf-helicopter-crashes-in-gomba/
  3. 1 2 https://www.monitor.co.ug/News/National/Two-dead-as-army-jet-crashes/688334-5434868-vcis8wz/index.html
  4. 1 2 https://thetowerpost.com/2020/01/28/fallen-updf-pilot-who-was-maj-naomi-karungi/
  5. 1 2 3 https://www.monitor.co.ug/News/National/More-details-about-two-UPDF-officers-killed-chopper-crash/688334-5436140-12cdltjz/index.html
  6. https://www.monitor.co.ug/News/National/What-you-didn-t-know-about-Maj-Naome-Karungi/688334-5437498-4dssb4z/index.html
  7. https://www.youtube.com/watch?v=t9MTc_PA99Q
  8. 1 2 https://www.pmldaily.com/news/2020/01/updf-jet-ranger-crashes-as-reports-indicate-female-pilot-maj-karungi-is-killed.html
  9. https://kampalapost.com/index.php/content/updf-mourns-crashed-jet-pilots-maj-karungi-cadet-wakalu
  10. https://chimpreports.com/update-female-pilot-maj-naome-karungi-dies-in-updf-chopper-crash/