Jump to content

Nation Media Group

Bisangiddwa ku Wikipedia

Nation Media Group ( NMG ), eyali emanyiddwa nga East African Newspapers (Nation Series) Ltd, kibiina kya mawulire mu Buvanjuba bw'amawanga ga Afrika ekisangibwa mu Kenya era nga kiwandiikiddwa ku katale k’emigabo e Nairobi. Nnanyinyi kyo ye Aga Khan IV .

NMG yatandikibwawo Aga Khan IV mu 1959 ng'emannyikiddwa nga East African Newspapers (Nation Series) Ltd, [1] wansi wa Aga Khan Fund for Economic Development. Mu 1999, NMG yatongoza NTV, omukutu gw’amawulire mu Kenya, ne Easy FM (kati emanyiddwa nga Nation FM). [2]

Emikutu gy’amawulire

[kyusa | kolera mu edit source]

Webwatukira mu 2007 ekibiina kino kye kyali kisinga obunene mu bitongole by'amawulire eby'obwannannyini mu Buvanjuba n’Amasekkati ga Afrika, nga kirina ofiisi mu Kenya, Uganda, ne Tanzania. [2] [ yeetaaga okulongoosa ]

Ebifulumizibwa awamu kuliko:

Daily Nation n'empapula zaayo ezifulumizibwa buli Ssande, Olupapula lwa Sunday Nation, lwajaguza emyaka 50 bukya lutandikibwaawo nga kino kyaliwo mu 2010, nebakibatiza n'erinya empya erya 50 Golden Years, nga kyakolebwa aba Nation Media Group". [3] [ <span title="This claim needs references to reliable sources. (January 2024)">okujuliza kwetaagisa</span> ]

Okubeerawo mu bitundu

Wetwatukira mu 2016, NMG yali edukanya ebitundu 76.5 ku buli 100 mu mpapula za Monitor Publications Limited, ng'ate ku mukutu gwa leediyo ya 93.3 KFM, leediyo esinganibwa mu Kampala mu Uganda. Kidukanya n'emikutu gya ttivi gyamirundi ebbiri mu ggwanga, okuli NTV Uganda ne Spark TV.[4] NMG era erina emigabo gya bitundu 60 ku buli 100 kampuni ya Mwananchi Communications Limited' e Tanzania. Ekibiina kya kampuni z'amawanga g'Omubuvanjuba, nadala mu bizineensi z'e Tanzanian, kiyambirako ddala ku kulakulana kw'ekibiina kino okukula.[4]

Mu Gwokusatu 2016, NMG yalagira ekyuma eky'omulembe ekikuba ebitabo n'okufulumya empapula ekyali kisingaanibwa ku luguudo lw'e Mombasa mu kibuga Nairobi. Ekifo kino ekipya ky'alina obusobozi bw'okukuba empapula z’amawulire 86,000 buli ssaawa. Kyamalawo obuwumbi bwa ssente za Kenya bubiri ( nga mu ssente za Amerika bwebukadde bwa ddoola 20) ng'era kikuba empapula za buli lunaku Daily Nation, Business Daily, Taifa Leo ne The East African eza buli wiiki. [5]

Okubeera n’emigabo

[kyusa | kolera mu edit source]

Emigabo gy'eby'amaguzi mu kibiina gyawandikibwa mu katale k'emigabo e Nairobi [6] era nga giwandiikiddwa mu katale ka Uganda Securities Exchange wamu ne Rwanda Stock Exchange, nga gisuubulirwa mu katale k'ebyamaguzi akasingaanibwa mu mawanga gamirundi esatu agatayogera luzungu, wansi w'akabonero "NMG". [7] Webwatukira mu Gwekumineebiri 2014 mu kampuni eno mwalimu abalina emigabo 10,436. Ku bano, 4,135, baalina emigabo 1 ku 500 buli emu, nga omugatte gwa migabo 782,157, nga gifuga ebitundu 0.41 ku 100 ebya kampuni. Abalina emigabo omusanvu abasinga obunene be baali bafuga ebitundu 62.57 ku 100 ku migabo gyonna omugate. Mu bino mwalimu:

  • Aga Khan Fund for Economic Development nga erina ebitundu 44.66 ku 100.
  • Kampuni ya Alpine Investments Limited ng’erina ebitundu 10.15 ku 100.
  • National Social Security Fundng’erina ebitundu 3.44 ku 100.
  • John Kibunga Kimani eyalina emigabo 1.54 ku buli 100.
  • Kkampuni ya yinsuwa ya Jubilee ey'e Kenya Limited ng’erina ebitundu 1.07 ku 100.
  • Standard Chartered Nominees A/c KE17984, eyafuga ebitundu 0.91 ku 100
  • CfC Stanbic Nominee Limited ng’erina emigabo 0.81 ku 100. [8]
  • 2021 IF Design Awards olw'omukutu gwa digito ogw'enjawulo [9]
  • Engule z'emikutu gy'amawulire mu nsi yonna eza 2021 (ezikoleddwa ekibiina ekigatta emikutu gy'amawulire mu nsi yonna (INMA)) [10]
  • Engule z'emikutu gy'amawulire mu nsi yonna eza 2022 [11]

Ebijjuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Breaking News, Kenya, Africa, Politics, Business, Sports". Bizna Kenya. 15 March 2021. Retrieved 6 January 2024.
  2. 1 2 "Aga Khan Fund for Economic Development: Media Services". Aga Khan Fund for Economic Development. 2007. Archived from the original on 8 April 2016. Retrieved 31 March 2015.
  3. "Partial Listing of Nation Media Group Publications". 2014. Archived from the original on 11 August 2010. Retrieved 31 March 2015.
  4. 1 2 Ngigi, George (22 March 2016). "Nation Media Group keeps full-year dividend level but profits lag". Retrieved 26 October 2016.
  5. Ngirachu, John (17 March 2016). "Aga Khan commissions new 'Nation' press". Archived from the original on 17 March 2016. Retrieved 17 March 2016.
  6. "Nairobi Stock Exchange: Listed Companies". Nairobi Stock Exchange. 31 March 2015. Archived from the original on 28 September 2020. Retrieved 31 March 2015.
  7. "Uganda Securities Exchange: Listed Securities". Uganda Securities Exchange (USE). 26 October 2016. Archived from the original on 25 April 2015. Retrieved 26 October 2016.
  8. Dhahabu (10 September 2016). "Top ten Nation Media Group shareholders". Dhahabu.co.ke. Archived from the original on 27 October 2016. Retrieved 26 October 2016.
  9. "Nation Media Group bags two awards at the 'Oscars of Design' – The Nation Media Group" (in Lungereza). Retrieved 2022-08-05.
  10. "Nation Media Group Brands Win Six Global Awards – The Nation Media Group" (in Lungereza). Retrieved 2022-08-05.
  11. "NMG wins top award in 2022 Global Media Awards – The Nation Media Group" (in Lungereza). Retrieved 2022-08-05.

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | kolera mu edit source]