Jump to content

National Resistance Movement

Bisangiddwa ku Wikipedia

Template:Infobox political party   Ekibiina ki National Resistance Movement ( mu Luswayiri: Harakati za Upinzani za Kitaifa; mu bumpimpi. NRM) ky'ekibiina ky'ebyobufuzi ekibadde mu buyinza mu Uganda okuva mu 1986.

Bendeera ya NRM

Ebyafaayo

[kyusa | edit source]

Ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) kyatandikibwawo nga omugendo omununuzi ekyatambuza olutalo lw'omu nsiko olwa guerrilla war nga kiyitibwa National Resistance Army (NRA) ekyasuula Gavumenti eyaliko mu 1986. National Resistance Movement egamba nti yakomyawo obutebenkevu mu by'obufuzi, obutebenkevu ggwanga, n'okugoberera amateeka, enfuga ya Ssemateeka n'entambuza y'amateeka mu Uganda.[1]

Obukulembeze

[kyusa | edit source]

Omukulembeze w'ekibiina, Yoweri Museveni yeenyigira mu lutalo olwaggyako Idi Amin, olwakomya obukulembeze bwe mu 1979, era yali ne mu bwegugungo obwavaako okugobwa kw'omulembe gwa Milton Obote mu 1985; wabula, wazze walabikawo ebifaanagana wakati wa NRM ne Gavumenti ezaagisookawo. Okugeza, ebbago erifuga enkung'aana erya Public Order Management Bill lifaananako n'eryaleetebwa mu mulembe gwa Obote erya Public Order and Security Act, 1967."[2] Museveni by'azze ayogera nabyo byagala okwefaanaanyirizaako n'ebyo ebyayogerwa bannakyemalira abaasooka: "Oyo yenna agezaako okuleeta obuzibu, tujja kumumaliriza. Besigye [ omukulembeze w'oludda oluvuganya Gavumenti] yagezaako okucankalanya Kampala era ne tumuwaamu ku mukka ogubalagala n'akkakkana. Yali teyeetaaga kyasi, wabula omukka ogubalagala."[3] Ekirala, lumu yagamba nti "ekizibu kya Afirika kye kimu wanna, kyokka ekya Uganda si bantu wabula abakulembeze abaagala okwekuumira mu buyinza okumala ebbanga eggwanvu ennyo," bangi eky'okuggyawo ekkomo ku bisanja Pulezidenti by'alina okufuga baakiraba nga kya bukuusa.[4][5] Mu biseera ebiyise, NRM etenderezeddwa olw'okuleetawo obutebenkevu n'enkulaakulana mu byenfuna by'eggwanga eryali liyise mu biseera ebya Gavumenti ez'enfuga embi, enkola ez'ekiyeekera n'entalo ez'omunda; wabula, wakati mu bbula ly'emirimu eriri ku bitundu 62% mu bavubuka, okufuba kwayo mu byenfuna kuleeta ekibuuzo.[6] Obukulembeze buno bukoze nnyo mu kulwanyisa akawuka ka mukenenya mu Afirika.[7]

Wakati mu myaka gya 1990 n'egyasembayo, Museveni yatenderezebwa Amawanga ga Bulaaya ng'omu ku mujiji omupya ogw'abakulembeze ba Afirika. Obukulembezebwe bwe bwalimu okulumba n'okweddiza ebim ku bitundu bya Congo mu biseera by'olutalo lwe Congo olwookubiri (olutalo olwali mu Democratic Republic of the Congo oluteeerezebwa okufiiramu abantu obukadde 5400,000 mu 1998) n'obukuubagano obulala obubadde mu bitundu bya Great Lakes. Mu birala ebikyasembyeyo omuli: okuggyawo ekkomo ku bisanja bya Pulezidenti ng'okulonda kwa 2006 tekunnabaawo, okuwagira ebbago ly'etteeka erifuga enkung'aana erya Public Order Management Bill, NRM okutyoboola eddembe lya bannamawulire n'ab'oludda oluvuganya Gavumenti (okugeza, okutiisatiisa abalonzi nga bakozesa abakuumaddembe, okukwata abawakanya Gavumenti n'okutta okw'obumenyi bw'amateeka) kirese abakkiririza mu nfuga eya demokulasiya n'amateeka bangi nga bagyewuunya. Ennaku zino, ebiyiting'ana nti mutabani wa Pulezidenti, Muhoozi Kainerugaba, yandisikira kitaawe byongedde okwogeza abangi ebisongovu.[8][9][10][11]

Ebigambibwa nti Gavumenti ya NRM ekudde ejjembe mu kulya enguzi kigiviiriddeko abantu bangi okugivumirira. Okusinzira ku lipoota ya 2012 ey'eddembe ly'obuntu eya U.S. State Department ku Uganda egamba nti, "okunoonyereza kwa Bbanka y'ensi yonna okukyasembye kwalaga nti enguzi kikyali kizibu kya manyi nnyo" era nti "eggwanga buli mwaka lifiirwa obuwumbi 768.9 (ze Doola obukadde 286) mu enguzi."[12] Mu ngeri eyo Uganda ekwata kifo kya 140 ku nsi 176 ezikudde ejjembe mu kulya enguzi.[13] Embeera eyayania Uganda nti efumbekeddemu enguzi ne kituuka n'kumanyika amawanga ag'ebweru kwe kubba ssente obukadde 12.6 obwa Doola ezaali zireereddwayo aba mil in donor funds nga zabbibwa mu ofiisi ya Ssaabaminisita mu 2012. Ssente zino zaali ziweereddwayo okuzza engulu ebitundu by'omu Bukiikakkono bwa Uganda oluvannyuma lw'okutaagulwataagulwa olutalo olwamalayo emyaka 20 ne Karamoja, ettundutundu lya Uganda erisinga okubeera mu bwavu." Embeera eno yavaako ebibiina n'amawanga mangi okuyimiriza okuwa Uganda obuyambi, omuli; Omukago gw'amawanga ga Bulaaya (E.U), Obwakabaka bwa Bungereza, Bugirimaani, Denmark, Ireland ne Norway.[14]

Etteeka ly'amafuta eryayisibwa Paalamenti ya Uganda mu 2012 nga lyakulemberwamu aba NRM okwagala okuleetawo obwerufu mu kwata y'amafuta abantu bangi ab'omu Uganda teryabasanyusa kye kimu ne u b'e bweru. Okugeza, Angelo Izama, Munnayuganda omugoberezi w'ebyamasannyalaze n'ebyobugagga eby'omuttaka mu kibiina kya U.S.-based Open Society Foundation yagamba nti etteeka lino lyakwasa Museveni ne banne amafuta ga Uganda mu ngalo ng'oli bw'anaakukwasa ka kkaadi ka ATM akaggyayo ssente mu bbanka.[15] Okusinziira ku kibiina ky'obwannakyewa ekya Global Witness, Uganda erimu amafuta agayina okugisobozesa okufuna ssente zikubisaamu enfuna yaayo emirundi 2 mu myaka 6 ku 10, nga gabalirirwamu Obuwumbi bwa Doola za Amerika 240 buli mwaka."[16]

Amabago g'amateeka amalala agaleeteddwa , ne gavujjirirwa, okuyisibwa n'okukakasibwa ekibiina kya NRM mu kiseera w'efugidde mulimu: ennongoosereza mu tteeka erifuga ebibiina by'obwannakyewa eya Non Governmental Organizations (Amendment) Act, eyakolebwa mu 2006, egootaanyizza enkola y'ebibiina bino okuviira ddala ku mpandiisa yaabyo, enkola y'emirimu, obuvujjirizi n'okukugirwa okukolera awamu mu kitongole ekyo. Okuwandiisa ebibiina bino kujjudde okusumbuyibwa n'okumala okuwa abakngu ba Gavumenti enguzi ( kubanga kyetaagisa abakungu mu Gavumenti okumala okukisemba; buli mwaka), okukugirwa okukola emirimu gyabwe awatali nsonga, n'okuba nti ssente zonna eziva mu bibiina by'obwannakyewa okuva ebweru zirina kuyita mu Bbanka Enkulu eya Uganda, n'ebirala bingi ebifuuka emizizko eri enkola zaabyo. N'ekirala eddembe ly'ebibiina bino ery'okwogera nalyo ligenze lituulwako nga Gavumenti eyita mu kubatiisatiisa n'okukulembeza etteeka lya Public Order Management eribakugira okukung'aana.[17]

Obyokulonda

[kyusa | edit source]

Okutuuka mu 2005 lwe waaliwo akalulu ak'ekikungo, yali etambuzibwa ku mugendo agutaalimu bibiina birala. Mu kiseera kino NRM y'erina omuwendo gw'ababaka abasinga mu Paalamenti ya Uganda. Mu kulonda kwa Pulezidenti okwaliwo nga 12 Ogwokusatu, 2001 kwawangulwa Yoweri Museveni owa NRM n'ebitundu 69.3%.

Nga 17 Ogwekkuminoogumu, 2005 Museveni yalondebwa nga tavuganyiziddwa akiikirire NRM ku ky'Obwapulezidenti mu kulonda kwa 2006.

Mu kulonda kwa bonna okwa nga 23 Ogwokubiri, 2006, ekibiina kino kyawangula ebifo 205 ku 289 mu Paalamenti. Mu kulonda kwe kumu, Museveni yawangula ekisanja ekirala ku Bwapulezidenti n'ebitundu 59.3%.

Mu kulonda kwa bonna okwa 2016, w'ekibiina kino kyawangula ebifo 293 ku 426 mu Paalament era Museveni n'addamu okuwangula Obwapulezidenti n'ebitundu 56.62%.

Mbabazi ava mu NRM

[kyusa | edit source]

Eyali Ssaabawandiisi wa National Resistance Movement, Amama Mbabazi yafuna obutakkaanya ne ssentebe Yoweri Museveni ng'okulonda kwa 2016 tekunnatuuka. Museveni yagoba Mbabazi olw'okulaga obwagazi obw'okumwesimbako ku kifo ky'obwassentebe bw'ekibiina. Mbabazi yava mu kibiina n'akola ekisinde kye eky'ebyobufuzi kye yatuuma GO FORWARD.

Ebyafaayo by'okulonda

[kyusa | edit source]

Okulondebwa kwa Pulezidenti

[kyusa | edit source]
Okulonda Kandideeti w'ekibiina Obululu % Ebyavaamu
1996 Yoweri Museveni 4,428,119 74.2% Yawangula
2001 5,123,360 69.33% Yawangula
2006 4,109,449 59.26% Yawangula
2011 5,428,369 68.38% Yawangula
2016 5,971,872 60.62% Yawangula
2021 5,851,037 58.64% Yawangula

Okulondebwa kwa Paalamenti y'a Uganda

[kyusa | edit source]
Okulonda Ssentebe w'ekibiina Obululu % Obululu % Ebifo +/– Ekifo Ebyavaamu
Consityuwensi Ababaka abakazi
1996 Yoweri Museveni Template:Composition bar156 ku 276 156 Luberyeberye Template:Yes2
2001 Template:Composition bar214 ku 295 58 Luberyeberye Template:Yes2
2006 213 ku 295Template:Composition bar 1 Luberyeberye Template:Yes2
2011 3,883,209 49.22% 3,803,608 51.56% 263 ku 375Template:Composition bar 50 Luberyeberye Template:Yes2
2016 3,945,000 48.88% 3,566,617 48.95% 293 ku 423 30 Luberyeberye Template:Yes2
2021 4,158,934 41.60% 4,532,117 44.62% 336 ku 529 43 Luberyeberye Template:Yes2

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]

 

Ebijuliziddwamu eby'ebweru

[kyusa | edit source]
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2020-09-29. Retrieved 2021-08-22.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. Boniface, Ngaruye. (2013).
  3. New Vision.(2013).
  4. The Economist. (2013).
  5. Lumu, David Tash. (2013).
  6. Ashaba, Anita. (2013).
  7. "Declining HIV Prevalence, Behavior Change, and the National Response", Janice A. Hogle, US Agency for International Development, September 2002
  8. Article 19. (2013).
  9. Masereka, Alex. (2013).
  10. United States Department of State (Bureau of Democracy, Human Rights and Labor).(2012).
  11. Natabaalo, Grace. (2013).
  12. United States Department of State (Bureau of Democracy, Human Rights and Labor).(2012).
  13. Transparency International. (2012).
  14. Human Rights Watch. (2013).
  15. Biryabarema, Elias. (2012).
  16. Global Witness. (2012).
  17. The International Center for Not-For-Profit Law. (2012).