Jump to content

National Unity Platform

Bisangiddwa ku Wikipedia

Template:Infobox political party   Ekibiina kya National Unity Platform ( NUP, Swahili :Jukwaa la Umoja wa Kitaifa [1] ekyali National Unity, Reconciliation and Development Party (NURP), [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Political_party kibiina kya byabufuzi] mu Uganda ekikulemberwa Robert Kyagulanyi Ssentamu (era amanyikiddwa nga Bobi Wine). Ekibiina kya NURP kyali kikulemberwa Moses Nkonge Kibalama okuva Gwekkumineebiri 2004 okutuuka Gwomusanvu 2020. Nga 14 Ogwomusanvu 2020, Kyagulanyi yafuna obukulembeze bw'ekibiina era n'alangirirwa ng'omukwasi wa bendera y'ekibiina mu [./Https://en.wikipedia.org/wiki/2021_Ugandan_general_election kulonda kw'Obwapulezidenti mu Gatonnya wa 2021].[2]

National Unity Platform logo.png


Ebyafaayo

[kyusa | edit source]

Ekibiina kya NURP kyatandikibwawo mu Gwekkumi n'ebiri, 2004 nga kyakuemberwa Moses Kibalama okumala emyaka 16.

Mu Gwomusanvu 2017, Robert Kyagulanyi Ssentamu yalayizibwa ng’omubaka akiikirira Konsitituwensi ya Kyadondo East [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Parliament_of_Uganda Paalamenti] ey’ekkumi (2016-2021). Okuwangula ekitundu ekyo, yawangula bannabyabufuzi babiri abakugu okwali: Sitenda Sebalu ow’ekibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement (NRM) ne Apollo Kantinti ow’ekibiina ekikulu ekivuganya gavumenti ekya Forum for Democratic Change (FDC). [3]

Bwe yali yeesimbyewo ku kifo ky'e Kyaddondo East, Kyagulanyi yagaanibwa ebibiina byombi okwali DP ne FDC, kwe kwesimbawo ku lulwe nga tayise mu kiibina kyonna.[4] Yakozesa eŋŋombo ya "People Power" ng’omulanga gwe ogw’okukunga abantu, ekyaviirako ekiyitibwa [./Https://en.wikipedia.org/wiki/People_Power,_Our_Power People Power Movement] mu Uganda.[5][6]

Okuva People Power Movement lwe kyatandikibwawo mu 2017, ababaka abawerako omuli n’ababaka b’ekibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement ne Forum for Democratic Change, bakwatagana ne People Power. [7]

[./Https://en.wikipedia.org/wiki/Uganda_Electoral_Commission Ekisinde kya People Power kyasalawo okufuna ekibiina ekyawandiisibwa mu mateeka ekya NURP ne kikyusa erinnya ne bakifuula National Unity Platform era nga 22 Ogwomusanvu 2020, abatandisi ba NUP, [8] nga bali wamu n’abantu abakulu okuva mu kisinde kya People Power, baalangirira nti Kyagulanyi yalondeddwa Pulezidenti wa NUP era nga ye yakwata bendera y’ekibiina ku Bwapulezidenti mu kw’eggwanga okwa 2021.[9][10]

Ekibiina kino kiwandiike mu [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Uganda_Electoral_Commission kakiiko k'ebyokulonda mu Uganda. Akabonero k’ekibiina kino ye manvuuli mu langi emmyufu, enjeru ne bbulu, nga yeetooloddwa langi emmyufu, enjeru ne bbulu omukwafu. Akabonero ka NUP kaatongozebwa mu bujjuvu akakiiko k’ebyokulonda mu Uganda[11]

Nga 28 Ogwomusanvu 2020, ekibiina kyatongoza kaadi z’obwammemba ezaali zigula siringi za Uganda 1,000 zokka (nga [./Https://en.wikipedia.org/wiki/United_States_dollar USD] 0.27 oba GBP 0.2), ssente ze baagamba ezitasosola nti mbeera z’abantu era nga buli Munnayuganda yali azisobola.[12]

Nga 3 Ogwomunaana 2020, Pulezidenti w’ekibiina yalangirira abakiise ba paalamenti bataano abaasala ne badda mu National Unity Platform. Mu bano mwalimu [./Https://en.wikipedia.org/wiki/John_Nambeshe John Baptist Nambeshe] (NRM), Patrick Nsamba (NRM), Francis Zaake (eyali talina kibiina) n’omubaka wa Busujju David Kalwanga (eyali talina kibiina).[13] Nga 13 Ogwomunaana 2020, ababaka ba paalamenti abalala kkumi na mukaaga, beegatta ku kibiina kya NUP, okuva mu kibiina kya Democratic Party (DP). Kino kyaletera omuwendo gw’ababaka abeegasse ku Kyagulanyi mu NUP, mu wiiki bbiri ezasooka mu Gwomunaana gwa 2020 okutuuka ku makumi abiri mu emu (21). [14]

Nga 14 Ogusooka 2021, okulonda kwa bonna kwaliwo. Okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa ekitongole kya Market Intelligence Group, Bobi Wine yalina obuwagizi bwa Bannayuganda nga ebitundu 59 ku 100.[15][16] Nga 16 Ogusooka, akakiiko k’ebyokulonda kaalangirira, nga n'obululu bwali tebunabalibwa, nti Bobi Wine yafuna obululu 35.08 ku 100. Okulangirira kuno kwavumirirwa nnyo okusinzira nti waaliwo ebifo 409 eby’okulondebwamu mwe yali afunye obululu 100 ku kinnaayokyo.[17] Obutambi bungi obw’okusonseka obululu mu bubookisi bw'okulonda bwazuuka.[18] [19] [20] Abakulembeze abalala ab’oludda oluvuganya nabo baategeeza nti Bobi Wine yali awangudde era Museveni yalayizibwa mu bukyamu.[21] Ekitongole Factchecker organization Pesacheck kyafulumya ebiwandiiko nti Uganda tennabaako na kulonda kwa bwesimbu mu myaka egisukka 30. [22] Nga 9 Ogwokubiri, paalamenti ya Bulaaya yayisa ekiteeso ekigamba nti okulonda kwali kwa fujjo era tekwali kwa mirembe na bwenkanya. [23]

Nga 3 Ogwomunaana 2021 omukolokosi wa gavumenti omumanyifu, omuwandiisi w'ebyobufuzi, era omuwagizi w’ekibiina kino , Fred Lumbuye yabulawo okuva mu mumaka ge e Turkey.

Ebyafaayo by'ebyokulonda

[kyusa | edit source]

Okulonda kwa Pulezidenti

[kyusa | edit source]
Okulonda Yeesimbyewo mu kibiina Obululu % . Alizaati
[./Https://en.wikipedia.org/wiki/Ugandan_general_election,_2021 2021] Bobi Wine 3,631,437 35.08% [24] Yawangulwa



(ebyava mu kwesimbawo) [25][26][27][28]

Okulonda kwa Paalamenti ya Uganda

[kyusa | edit source]
Okulonda Omukulembeze w'ekibiina Obululu % . Ebifo +/– Ekifo Gavumenti
[./Https://en.wikipedia.org/wiki/Ugandan_general_election,_2021 2021] Bobi Wine Ekitundu kino 1,347,929 13.48% 58 / 529 ebipya ekyokubiri oludda oluvuganya
Abakazi 1,697,425 16.71%

Laba ne

[kyusa | edit source]

Ebiwandiiko ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. "Je chama kipya cha Bobi Wine kitaleta ushindani Uganda? - 22.07.2020". DW.COM (in Swahili). Retrieved 2021-01-18.
  2. Nixon Segawa (22 July 2020).
  3. Job Bwire (11 July 2017).
  4. Sulaiman Kakaire (29 August 2018).
  5. Dickens Olewe (6 September 2018).
  6. Patience Akumu (4 October 2018).
  7. "Uganda's People Power Movement Registers a Political Wing Ahead of 2021 General Elections | Voice of America - English". www.voanews.com (in Lungereza). 22 July 2020. Retrieved 2020-12-17.
  8. "Home". people power, our power (in American English). Retrieved 2020-12-17.
  9. Jason Burke (22 July 2020).
  10. Derrick Wandera (22 July 2020).
  11. the fast observer (22 July 2020).
  12. Edge Uganda (28 July 2020).
  13. SoftPower News (3 August 2020).
  14. Derrick Wandera and Shabiba Nakirigya (14 August 2020). "21 MPs join Bobi Wine". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 15 August 2020.
  15. "Rigged" (PDF).{{cite web}}: CS1 maint: url-status (link)
  16. "Kyagulanyi will win elections with over 60% of the votes".{{cite web}}: CS1 maint: url-status (link)
  17. "409 polling stations with 100% turnout".{{cite web}}: CS1 maint: url-status (link)
  18. "Youtube". YouTube.{{cite web}}: CS1 maint: url-status (link)
  19. "Pre-ticking ballots". Facebook.{{cite web}}: CS1 maint: url-status (link)
  20. "Ballot box stuffing". Facebook.{{cite web}}: CS1 maint: url-status (link)
  21. "Gen Muntu admits that Bobi Wine won 2021 polls". Ekyooto Uganda (in American English). Archived from the original on 2022-11-23. Retrieved 2021-08-27.
  22. "Pesacheck". 22 June 2021.{{cite web}}: CS1 maint: url-status (link)
  23. "EU Parliament resolution".{{cite web}}: CS1 maint: url-status (link)
  24. "2021 General Elections". 27 January 2021.
  25. "Uganda's Bobi Wine Urges Protest Against Disputed Vote Results". Bloomberg.com. 22 January 2021.
  26. "Uganda election: Bobi Wine challenges result in court | DW | 01.02.2021". Deutsche Welle.
  27. "Bobi Wine to legally contest Uganda vote, urges non-violence".
  28. "Uganda's opposition leader Bobi Wine files election challenge in court". February 2021.

Ebiwandiiko ebirala ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]