Jump to content

Nayiga Patricia

Bisangiddwa ku Wikipedia

 Nayiga Patricia (yazaalibwa 27 Ogwolubereberye 2008) Munnayuganda muzannyi wa mupiira azannyira mu makkati era nga yaliko kapiteeni wa Wakiso Hills Women Football Club, mu kiseera kino azannyira St Noa Girls SS Zzana.[1]

Nayiga yatandika okusoma pulayimale mu 2012 ku Sendrax Primary School, Kagoma. Oluvannyuma yakyuka n’agenda ku Pearl Primary School, gye yamalira okusoma pulayimale mu 2017. Nayiga Patricia yamaliriza ebbaluwa ye eyaUganda Certificate of Education (UCE) mu 2024 ku Wakiso Hills Secondary School ate mu 2025 yeegatta ku St Noa Girls Secondary School Zzana okusoma eddaala ery’oku ntikko.[2]

Olugendo mu mupiira

[kyusa | kolera mu edit source]

Nayiga yafuna obwagazi bw’omupiira mu 2013, ng’asikirizibwa muliraanwa we Ashiraf, olw'obukugu bwe obw’enjawulo obwamukubiriza okwenyigira mu muzannyo guno. Yatandika okuzannya omupiira mu mwaka gwe gumu, ng’atendekebwa nga talina ngatto n’emikwano gye mu kyalo kye. Mu 2017, yeegatta ku Highness Soccer Academy e Kanyange, gye yafunira okutendekebwa okutegekeddwa wansi w’omutendesi Mawejje. Ekitone kye n’okwewaayo kwe byalabika mangu, ekyamufuula ow’enjawulo ng’omuzannyi w’omupiira omuto asuubiza. Mu 2019, oluvannyuma lw’okusoma pulayimale ey’omusanvu, Nayiga yaweebwa bbasale okwegatta ku Wakiso Hills Secondary School, olw’okufuba kw’omutendesi Kasajjage Umar, eyali ategedde obusobozi bwe. Ku Wakiso Hills, Nayiga yagenda mu maaso n’okukulaakulanya obukugu bwe mu mupiira ng’agenda mu maaso n’okusoma. 2024 weyatukiira, endagaano ya bbasale n’essomero lya Wakiso Hills Secondary School eneetera okuggwa, ekimulekera okusalawo okuzza obuggya okusula kwe oba okunoonya emikisa emipya mu by’ensoma n’omupiira.[2]

Okuzannyira ku ddaala ly’ensi yonna

[kyusa | kolera mu edit source]

Nayiga yeetaba mu mpaka za regional Championship ezaaliwo okuva nga 25 Ogwomusanvu okutuuka nga 3 Ogwomunaana 2023 mu kibuga e Dar es Salaam, Tanzania.[3][4][5] alondebwa okwetaba mu mpaka za FIFA-20 Women's World Cup Qualifier e Dakar mu Senegal.[6]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. ↑ "Wakiso Hill appoint new captains for 2024/25 Women Super League season". Swift Sports Uganda. 2 October 2024. Retrieved 20 November 2024.
  2. 1 2 "Star Profile: "Mum who Used to Beat me for Playing Football, Now She is the one buying me boots - Nayiga Patricia's Interesting Story, | Voice of Bugerere" (in American English). 2024-11-20. Retrieved 2024-11-23.
  3. ↑ Marsha, Ahmed (2023-07-22). "CECAFA U18 Women's Championship: Uganda U18 Women's National Team final squad named CECAFA U18 Women's Championship: Uganda U18 Women's National Team final squad named". FUFA: Federation of Uganda Football Associations (in American English). Retrieved 2024-11-23.
  4. ↑ Sports, Pulse (2023-07-17). "Uganda Crested Cranes trio to boost Women's Under-18 team for CECAFA duty". Pulse Sports Uganda (in Lungereza). Archived from the original on 2024-09-11. Retrieved 2024-11-23.
  5. ↑ "U18s resume preps for CECAFA women's championship". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2025-03-26.
  6. ↑ Abdusalam, Kigozi (2023-10-28). "FIFA U-20: Queen Cranes Summoned for Preps Ahead of Senegal ties". ChimpReports (in American English). Retrieved 2025-03-26.