Jump to content

Nayitogyeni(Nitrogen)

Bisangiddwa ku Wikipedia
Nitrogen Atom

Gakuweebwa Charles Muwanga !! "Atomu ya Nayitogyeni" oba "akaziba ka nayitogyeni"(Nitrogen atom)

Munda mw’omulangaatira gw’enjuba emmyufu (red giant star), enjuba ekwasawaza wamu obuziba obuwewufu(atomu empewufu) okusingawo n’efulumya amasoboza agatondekawo obuziba obuzito( atomu enzito) okusingawo.

Nayitogyeni y’emu ku atomu zino enzito okusingawo ezisigalira ng’enjuba ekwasiwazza atomu za kaboni.

Omulangaatira gw’enjuba omumyufu bwe gutandika okufuuka semufu (supernova), naitogyeni munda mwayo awaguza n’ayingira mu bwengula n’afuuka ekitundu ku nabire (nebula) oba ekire obwaguuga ekikwafu mu bwengula. Nayitogyeni yenna mu bwengula ava munda mu njuba.

Nayitogyeni asinga mu bwengula abeera mu nabire zino okusinga ng’akwatagana n'obuziba bwa nayitogyeni( atomu za naitogyeni) endala okukola molekyo ez'obuziba bwa nayitogyeni ( atomu za nayitogyeni) bubiri.

Obuziba bwa nayitogyeni (Atomu za nayitogyeni) buba n’obusannyalazo butaano mu kire kyabwo ekyo ku ngulu kyokka bulina ekifo ekigyamu obusannyalazo munaana.

AminoAcidball

Butera okukwatagana n'obuziba( atomu) bwa nayitogyeni obulala , buli kamu ne kagabana obusannyalazo okujjuza ebire kubanga molekyo za nayitogyeni ziba nzigumivu nnyo (are very stable), tezitera nnyo kwegatta na buziba(atomu) bwa bika birala. Kyetaagisa amasoboza mayitirivu okukutula mu molekyo ya nayitogyeni. Kyokka omu ku nayitogyeni mu bwengula yafuuka kitundu ku molekyo za “kaboni owa nakazzi” (hydrocarbon) eziyitibwa “amino asidi” (amino acids).

Ensi bwe yatondekebwawo emyaka nga obukadde busatu n’ekitundu, omu ku naitogyeni n’agwa mu nsika y’ensi (earth’s gravity), nafuuka ekirungo ekisingayo mu mpewo y’ensi. Mu butuufu ebitundu ebisiki mu ¾ eby’empewo y’ensi bya molekyo za naitogyeni.

Protein Structure

Obulamu bwe bwali bwakabaawo ku nsi emyaka nga obukadde 3.5 egiyise, obutaffaali bwakozesa nayitogyeni okukola molekyo z’ebizimbamubiri (protein molecules), kino nga kitundu kw’ekyo ekikola obutaffaali, n’okukola molekyu y’endagabutonde (DNA), matiiriyo y’obuzaale esobozesa obutaffaali okwezaala.

Bakitiriya ezakozesa nayitogyeni ono bwe zaafa, nayitogyeni n’avunda mu mibiri gyazo era amangu ddala ebimera ebizibuwavu (complex plants) okusingawo ne bijjawo nabyo nga bikozesa nayitogyeni ono.

Ebimera bikozesa nayitogyeni nga bakitiriya bwe zimukozesa okukola aminasidi n’ebizimbamubiri. Ensolo, omuli n’abantu zetaaga nayitogyeni lwa nsonga ze zimu. Tufuna naitogyeni waffe okuyita mu kulya ebimera nga kaloti oba lettoosi oba nga tulya ensolo endala.