Ndamira Atwakire

Bisangiddwa ku Wikipedia

Ndamira Catherine Atwikiire (yazaalibwa nga 13 Ogwomunaana / August 1977) Munnayuganda omubazi w'ebitabo, mubaka mu Paalamenti era munnabizinensi.. Yaddamu okulondebwa ng'omubaka omukazi mu Paalamenti ey'e 11 owa Disitulikiti y'e Kabale ng'esangibwa mu ttundutundu lya Kigezi Sub-Region era nga munnakibiina ky'ebyobufuzi ekiri mu buyinza ki National Resistance Movement.[1][2] Yali ku kakiiko ka Paalamenti akabuuliriza ku nsimbi z'omuwiw'omusolo ne ku kakiiko akalondoola ku byobulamu mu Paalamenti ya Uganda ey'e 10.[1] Era mmemba mu The Uganda Parliamentary Forum on Social Protection.[3]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Okuva mu 2010 - 2015, yali akola ng'ewebyenfuna mu kkampuni ya VIDAS Engineering Services Co. Ltd. Oluvannyuma yalondebwa ng'omubaka Omukazi akiikirira Disitulikiti y'e Kabale mu Paalamenti mu 2016. Atwikiire era yalondebwa okutuula ku kakiiko akagoberera ensonga z'omukago gwa Afrika ey'Obuvanjuba aka East African Community.[2] Erammemba wa The Uganda Parliamentary Forum on Social Protection .[3]

Ebimu ku by'akoze[kyusa | edit source]

Ndamira Atwakire yawa aabantu b'e Kabale ebintu ng'ebizzi, ebijanjaalo, kasooli n'emboga. Yayongera amaanyi mu butale bw'omubitundu eby'enjawulo, n'abakolera amazzi ga ttaapu, yatwalayo z'abavubuka ng'okuggulawo SACCO z'abavubuka,[4] Yagula ambyulensi okuyambako ku byobulamu mu kitundu kye ate era yatuukiriza n'ekiragiro eky'okuwanika amataala mu kibuga Kabale.[2] Erayayambako ne mu kusitula ebyemizannyo mu Disitulikiti ye.[5] Yawagira era n'akulaakulanya ebyenjigiriza mu Kabale[6] bwe yeetaba mu kusonda ssente ezaazimba ettendekero lya Kagunga Technical School.[7] Yawaayo eri eggwanga Uganda mu kusonda obuyambi mu kiseera kya COVID-19 nga yawaayo amafuta.[8]

Laba na bino[kyusa | edit source]

  1. Parliament of Uganda
  2. Kabale District
  3. National Resistance Movement

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-29. Retrieved 2021-04-05.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. 2.0 2.1 2.2 "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2022-12-07. Retrieved 2021-04-05.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. 3.0 3.1 "Archive copy". Archived from the original on 2022-10-15. Retrieved 2021-04-05.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. https://mknewslink.com/dont-misuse-loans-from-saccos-kabale-mp-catherine-ndamira/
  5. https://apearlnews.com/s2018/2019/10/23/ntc-kabale-wins-inter-institution-games/
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2022-10-15. Retrieved 2021-04-05.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. "Archive copy". Archived from the original on 2022-10-15. Retrieved 2021-04-05.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  8. https://apearlnews.com/s2018/2020/04/11/kabale-support-fight-against-covid-19/