Jump to content

Nelson Sewankambo

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Nelson Kaulukusi Sewankambo musawo, musomesa, omunoonyereza ku by'obujjanjabi, era omuddukanya eby'obujjanjabi mu Uganda . Ye pulofeesa w'obusawo era eyaliko omukulu w'esomero lya Makerere University College of Health Sciences, [1] etendekero eririna akakwate Makerere University .

Yazaalibwa mu ddwaliro ly'e Mulago, mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda, mu 1951.

Obuyigirize bwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Sewankambo yasomera mu Namilyango College, esomero eririna emitendera gya wakati wamu n'egyawagulu ng'era ly'abalenzi bokka, gyeyafunira obubonero munaana ku 13, nga lisinganibwa mu Disitulikiti y’e Mukono, okuva mu 1965 okutuuka mu 1970. Mu 1971, yayingira esomero ly’Obusawo erya Makerere University School of Medicine, gye yafunira Diguli mu By'eddagala wamu ne Diguli mu By'okulongoosa, n’atikkirwa mu 1976. Yeeyongerayo mu maaso n'afuna Diguli Ey'okubiri mu By'eddagala, nga akuguse mu By'eddagala Ly'omunda, nga nayo yagifuna kuva e Makerere ku ntandikwa y’emyaka gya 1980. Oluvannyuma yafuna Diguli Ey'okubiri mu Sayaansi W'okulabirira n'Okujanjaba abalwa, nga yagifuna kuva ku McMaster University e Hamilton, Ontario e Canada . Y'omu ku bali Fellow Royal College of Physicians . Oluvannyuma yaweebwa diguli esinga okubeera eya wagulu mu By'Amateeka, nga yeebazibwa olw'ekyo kyeyali abakoledde, nga yagigya ku McMaster University. [2] [3][4]

Obumanyirivu mu mirimu

[kyusa | kolera mu edit source]

Ku ntandikwa y'emyaka gya 1980, Sewankambo y'omu ku basawo abaasooka mu Uganda okutegeera obulwadde obupya obwaleetera ng'abalwadde okusala omubiri ne bakoga okutuuka ku sayizi nga ne bw'oba omuwadde ekiriisa kyonna taddamu kugejja. Obulwadde buno obupya, mu kusooka baali babuyita ''Slim Disease,'' oluvannyuma ne bumannyibwa nga siriimu / mukenenya . Abadde ku mwanjo mu kunoonyereza ku bulwadde buno, ng’esira yaliteeka mu kugezesa eddagala liyiza kubujjanjaba. [5] Afulumizza nnyo ebizuuliddwa mu kunoonyereza kwe mu butabo by’obusawo n’ebitabo ebirala ebifulumizibwa ebiyigiriza nga byakakasibwa abakugu. Ku nkomerero y’emyaka gya 1990, yalondebwa okubeera nga y'Akulira Abayizi kusomero lya Makerere University erisomera ku By'obusawo . Yawereza mu kifo kino okutuusa mu 2007 lwe yakuzibwa n’ateekebwa mu kifo ky’Omukulu w’esomero, Makerere University College of Health Sciences, eriyigiriza ebikwatagana ku By'obusawo, ekifo kya ky’akyalimu n'okutuuka kati. Abadde akola ku bukiiko obw'enjawulo kumutendera gw'ensi yonna, akamu ku Bukiiko buno k'e Norway akamannyikiddwa nga Global Health and Vaccination Research okuva mu 2011 okutuuka mu 2014. [6] [7]

Ebirala by’atekako esira

[kyusa | kolera mu edit source]

Sewankambo y'omu ku bali mutendekero lya Fellow of the Uganda National Academy of Sciences. [8]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Accordia Foundation. "Accordia Global Health Foundation's Academic Alliance: Nelson Sewankambo MBChB, MMed, MSc, FRCP". Accordia Foundation. Retrieved 27 December 2014.
  2. "Nelson Sewankambo, Principal, Makerere University College of Health Sciences". The Africa Portal. 30 September 2010. Retrieved 27 December 2014.
  3. "McMaster Announces Honorary Degree Recipients: May 2007". McMaster University (McMU). 3 May 2007.
  4. "McMaster Announces Honorary Degree Recipients: May 2007". McMaster University (McMU). 3 May 2007.
  5. Kapp, Clare (5 July 2008). "Nelson Sewankambo: Building HIV/AIDS Research In Uganda". Lancet. The Lancet Volume 372, No. 9632, p21, 5 July 2008. 372 (9632): 21. doi:10.1016/S0140-6736(08)60977-0. PMID 18603146. S2CID 36660815. Retrieved 27 December 2014.
  6. "Programme Board for Global Health and Vaccination Research". Programme for Global Health And Vaccination Research. 2011. Archived from the original on 7 April 2017. Retrieved 27 December 2014.
  7. "Speaker Biographical Sketches". Global Forum on Innovation in Health Professional Education; Board on Global Health; Institute of Medicine. Assessing Health Professional Education: Workshop Summary. Washington (DC): National Academies Press (US); 19 September 2014 - Appendix E, Speaker Biographical Sketches. National Institutes of Health (NIH). 19 September 2014. Retrieved 27 December 2014.
  8. "UNAS: Fellow Profile". Uganda National Academy of Science. Archived from the original on 2 March 2015. Retrieved 27 December 2014.

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | kolera mu edit source]